Flora Natumanya

Bisangiddwa ku Wikipedia

Flora Natumanya munnabyabufuzi munnayuganda, omubaka wa palamenti akiikirira abakyala mu Disitulikiti y'e Kikuube mu Palamenti ya Uganda ey'ekkumi n'emu . Mmemba mu kibiina kya National Resistance Movement (NRM). [1] [2]

Emirimu gy’eby'obufuzi[kyusa | edit source]

Natumanya yawangula Tophas Kahwa mu kamyuufu aka NRM n'abeera ku tiketi ya NRM mu kulonda kw'eggwanga okwa 2021, okulonda kwe yawangula okufuuka omubaka w'abakyala mu Disitulikiti y'e Kikuube mu Palamenti ya Uganda ey'ekkumi n'emu . Atuula ku kakiiko ka palamenti akavunaanyizibwa ku butonde bw'ensi n'ebyobugagga eby'omu ttaka mu Palamenti ya Uganda ey'ekkumi n'emu . Natumanya yabuuza ku kiki ekinakolebwa gavumenti okukendeeza ku musenyu ogukozesebwa mu ntuula z’akakiiko akavunaanyizibwa ku butonde bw’ensi n’eby'obugagga eby’omu ttaka.

Emirimu emirala[kyusa | edit source]

Natumanya yawaddeyo mmotoka za saluuni ttaano eri abantu okukola nga kabangali z’abasawo mu Disitulikiti y’e Kikuube. Ono era ategeezezza abantu b’omu Disitulikiti y’e Kikuube nti emmotoka zino wakuzisaamu amafuta era y'omu agenda okusasula baddereeva baazo.

Ebijuliziddwa[kyusa | edit source]

  1. Cite error: Invalid <ref> tag; no text was provided for refs named :1
  2. Cite error: Invalid <ref> tag; no text was provided for refs named :0