Florence Kabugho

Bisangiddwa ku Wikipedia

 

Florence Kabugho munabyabufuzi Omunayuganda era eyaliko munamawulire ku mukutu gwa leediyo, eyalondebwa mu Paalamenti ya Uganda eyekumineemu mu kulonda kwa bonna okwa 2021, nga omukyala eyali agenda okukiikirira Disitulikiti y'e Kasese.[1][2][3]

Obulamu bwe[kyusa | edit source]

Nga tanaba kuyingira mu byabufuzi, Florence yali munamawulire wa leediyo. Yalekulira omulimu gwe ku ogw'okukola ku mukutu gwa Radio Uganda okugenda okukola ku Messiah FM esinganibwa mu bitundu bya in the Rwenzori sub-region.Yakolera Omusinga Charles Mumbere owa Rwenzururu, mu bifo ebiwerako nga kuno kwaliko nga okubeera omumyuka w'omwogezi wa omumyuka wa Rwenzururu, Minisita w'ekikula ky'abantu n'entambula y'amateeka. Olubiri bwerwalumbibwa Omumbere n'akwatibwa mu 2016, Kabugho katono afiibwe obulamu bwe .[4]

Mu Gwomusanvu mu 2010 Winnie Kiiza yalangirira nga bweyali agenda okuwumula okuva mu by'obufuzi oluvannyuma lw'emyaka 15 ng'akola nga Omubaka wa Paalamenti owa Disitulikiti y'e Kasese. Florence Kabugho yali omu kubana abaalina okudira Kiiza mu bigere mu kusunsula kwa FDC.[5] Yafuna okukakasibwa kwa FDC mu Gwomunaana mu 2020, n'afuna obululu 259 mu kamyuufu ka bweyali awangula Catherine Muhindo eyalina obululu 111, Ruth Kabguho yafuna 54 ate Annet Night ng'alina 39.[6]

Mu Gwokuminoogumu mu 2020, Kabugho yali omu ku ba FDC abaali beesimbyewo, poliisi beyalemesa okutongoza byeyaali bagenda okukolera abantu nga bano baali ku kisaawe kye gombolola lya Karambi.[7] Yagamba esira yali agenda kusinga kuliteeka ku byanjigiriza nadala abawala wamu n'eby'obulamu ebitandikibwako.[8] Oluvannyuma lwa Kizza Besigye okusalawo nga bweyali tagenda kwesimbawo ku bwa Pulezidenti mu kulonda ka 202, Kabugho yatebereza nti FDC yali yakusigala ng'erina obuwagizi bwayo mu Kasese.[9]

Florence yalondebwa ku ky'obwa Paalamenti mu kulonda kwa boona mu 2021, nga omukyala eyali agenda okukiikirira Disitulikiti ye Kasese. FDC yafiirwa ebifo bisatu mu Kasese nga bino byatwalibwa NRM, ebibiina ebivuganya gavumenti ebirala byegata okulaba nga biwangula ebifo bya LC ssaako n'ebyama meeya.[10]

Ebijuliziddwaamu[kyusa | edit source]