Jump to content

GNL Zamba

Bisangiddwa ku Wikipedia
GNL Zamba

   GNL Zamba, yazaalibwa nga ye Ernest Nsimbi, (29 ogusooka 1986) munnayuganda omuyimbi wa hip hop amanyiddwa nnyo olw'okuleeta omuziki gwa Rap ne Lugaflow ku leediyo entongole n'emikutu emirala mu Uganda. [1]

Erinnya lye erya siteegi, GNL, liggwaayo nti "Greatness with No Limits". [2] Ye mutandisi era akulira kkampuni ya Hip hop eyetongodde eya Baboon Forest Entertainment, [3] ekuza ebitone ebipya mu Kampala, Uganda. Era munnakatemba, omukozi wa firimu, era omubaka wa Uganda mu bintu eby'enjawulo . [4] [5]

Obuto bwe n’okusoma

[kyusa | edit source]

GNL yazaalibwa nga 29 ogusooka 1986 mu Mukono. Kitaawe yali mukugu mu by’amasannyalaze ate nnyina yali akolera mu Uganda Transport Company. Oluvannyuma famire eno yasengukira e Kawempe, mu Kampala [3] oluvannyuma lw'olutalo lw'omunda mu Uganda . [6] mu ssomero lye erya siniya, yali ssentebe wa kiraabu y’ebiwandiiko by’abato, mmemba wa ttiimu eyali ekubaganya ebirowoozo era nga ye muwandiisi omukulu owa Kiira Mirror [6] .

Oluvannyuma yeegatta ku yunivasite y’e Makerere gye yatikkirwa diguli esooka mu by’okuddukanya obutonde bw’ensi. [6]

Emirimu gye

[kyusa | edit source]

2005 - 2010

[kyusa | edit source]

Mu 2005, GNL yatandika olugendo lwe mu by'amasanyu mu Uganda [7] bwe yali mu kibiina kya Hip Hop Canvas nga kino kyali pulojekiti eyategekebwa Shadrak Kuteesa owa Platinum Entertainment, [6] nga egenderera okuwa abavubuka amaanyi okweyoleka. [8] Mu pulojekiti eno ye ng’ali wamu n’abayimbi abalala baakwata oluyimba olwawangula engule, Maama Afrika. [6]

Mu 2007, mwe yasooka okulabikirako ku lutimbe mu Uganda n'oluyimba, Soda Jinjale [9] .

Mu February 2009, yayimba mu kibiina kya WAPI British Council Initiative ate ku nkomerero y’omwezi ogwo mu Sauti Za Busara e Zanzibar . Mu April, yayimba mu kivvulu ky’ennyimba ekya Selam International Music Festival mu Ethiopia . Mu June, GNL yayimba mu Kwita Izina Gorilla Naming Ceremony e Rwanda [6] ate mu August, yayimba ekivvulu kye ekyasooka ng’afulumya olutambi lwe, Koyi Koyi, nga olutambi luno lwalimu ennyimba munaana nnamba nga yaziyimba yekka [6] ezaatenderezebwa olw’okusaawo omukutu wakati w’amaloboozi ag’ennono n’ag’omulembe. [10] Mu September, GNL yayimba mu bivvulu e Dubai mu United Arab Emirates ate mu gw'ekkumi, yayimba mu Stratford Rex, East London mu Bungereza . [6]

Mu September wa 2010, yayimba mu kivvulu kya ‘We Love Africa Music Festival’ e Denmark .

2011 - 2020

[kyusa | edit source]

Mu November 2011, GNL yaddayo mu United Arab Emirates mu bivvulu by’e Dubai [6] era nayimba mu ttaabamiruka wa UNAA ow’omulundi ogwa 23. [11]

Mu September wa 2012, yayimba mu kivvulu kya Selam African Music Festival e Sweden ne mu GNL Zamba Live mu Norway .

Mu April 2014, GNL yalina ebivvulu bya bantu ab'obuvunaanyizibwa abakulu mu Durban, Port Elizabeth ne Cape Town mu South Africa . [6]

Olwo GNL n’asengukira mu Amerika [12]

Mu April 2016, GNL yafuna omulimu gwe ogwasooka ogw'okuzannya katemba ng'ali wamu ne Darren Lee Campbell [13] [14]

GNL yafuuka omu ku bakozi ba leediyo abakola ku leediyo ya Coke Studio Radio Hour, nga eno yali pulogulaamu eyali ekitundu ku Coke Studio Africa mu gw'omunaana 2017. [15]

Mu gw'omukaaga 2019, emirimu gye gyalondebwa mu mpaka za Independent Music Awards ez’omulundi ogwa 17 mu kibuga New York . Zino zaali Album ezisooka ezisinga ( Nsimbi ), Oluyimba lw’ensi yonna olusinga obulungi ( Leo Ni Leo ), Vidiyo y’omuziki esinga okunyumya ( Dunia Ni Matenbezi ) n’ekigambo ekisinga okwogera ( Acholi Boy ). [16] Leo Ni Leo ye yawangula oluyimba lwa Best World Beat. [17]

Mu gw'okubiri 2020, yawa omusomo ku byafaayo bya Hip Hop eri abayizi b’okuyimba mu yunivasite y’e Kyambogo . [18] Mu gw'omusanvu gw'omwaka gwe gumu, GNL ng'ayita mu kkampuni ye ekola ennyimba, Baboon Forest Entertainment, yategeka empaka ze yatuuma "Dear Hip Hop" ng'ekigendererwa kyayo kyali kya kuzzaamu abavubuka amaanyi nga bayita mu buyiiya. Eyawangula ye Ivan Kaweesa. [19]

2021 - kati

[kyusa | edit source]

Mu gw'okubiri 2021, GNL yakomawo mu Uganda okuva mu USA [20] era mu December, yayimba mu Tusker Malt Conversessions ez’omulundi ogw’okusatu ku yintaneeti. [21]

Omusono gw'okuyimba

[kyusa | edit source]

GNL ayimba ebigambo nga biri mu Luganda ne mu Lungereza . Ayimba akozesa omusono gw'okulukuta ebigambo oguyitibwa Lugaflow.[22][2] Lugaflow kuba kukulukuta bigambo mu Luganda,nga luno lulimi olusinga okweyambisibwa mu massekkati ga Uganda . Okuva mu 2000 ng'aggwaako , Lugaflow yasikiriza omugigi omuggya ogw'abayimbi abakulukuta ebigambo okusoola okutondawo enyimba ezikwata abantu omubabiro nga bayimbira mu lulimi lwabwe olunnansi .

Omusono gwe ogw’okuyimba gwakwatibwako abatonntomi Gil Scott-Heron ne Mbuli, abayimbi b’ennyimba aba Afrocentric nga Eddy Grant ne Fela Kuti n’abayimbi aba hiphop abaamanyi nga Jay-Z, Nas ne Ice Cube . [23]

Kampeyini z’embeera z’abantu

[kyusa | edit source]

GNL yeetabye mu kampeyini ya Friend A Gorilla, eyavujjirirwa Oxfam ku kusomesa abantu ku butonde bw’ensi n’ekitongole ekivunaanyizibwa ku bisolo by’omu nsiko ekya Uganda Wildlife Authority . [24] Oluyimba lwe "Story ya Luka" lwalondeddwa minisitule y'ebyobulamu mu Uganda okubeera omutwe gw'okusomesa abavubuka abalina akawuka ka mukenenya mu mwaka gwa 2010. [25]

Enkolagana ye okukola vidiyo ne "True Manhood" ne Young Empowered And Healthy (YEAH) [26] Uganda yakubiriza abavubuka ba Uganda okukozesa obupiira , era lwawangula engule ya People's Choice Digital Media Award mu lukungaana lw'ensi yonna olw'ebyenjigiriza mu by'amasanyu mu 2011. [1][27]

Mu myaka esatu, GNL yakola ne Buzz Teenies okulambula amasomero ga Uganda, okubuulirira abavubuka, okukubiriza obumu mu bantu n’okusigala mu masomero. [28]

Okuva mu mwaka gwa 2013, GNL ekwataganye ne Reach A Hand Foundation Uganda okwetaba mu kampeyini ez’enjawulo ez’okusomesa abavubuka. [29]

Mu 2014, ekitongole kya Twaweza Initiative kyawa GNL ekirabo olw'engeri oluyimba lwe "We Cry" gye lwakwata ku bantu, olwogera ku butabanguko ku nguudo n'okwegatta . [2][30] Ayitiddwa okusomesa ku Makerere University 's College of Humanities ku biwandiiko by'omu kamwa n'eby'obuwangwa. [31]

Mu gw'omukaaga 2020, GNL ng’ali wamu ne mukyala we Miriam Tamar, beegatta ku kwekalakaasa kwa George Floyd mu USA. [32]

Obulamu bubwe

[kyusa | edit source]

Okuyita mu buwanguzi bw’okuyimba, GNL yasobola okuggulawo ebbaala y’ebyemizannyo era yagula ettaka okwetoloola Uganda. [3][33]

GNL Zamba yawasa mukyala we, nga 29 April 2018 mu Cielo Farms Vineyard, Malibu, California . [34] Nga bali wamu ne mukyala we nga naye muyimbi, baakola ekibiina ky’abayimbi ekyatuumiddwa Nsimbi. [35]

Mu 2020, Zamba ne mukyala we baasalawo okuddayo mu Uganda basenge omwo. [34] alina omwana eyaakazaalibwa

Engule n’okulondebwa

[kyusa | edit source]
Award/organization Year Nominee/work Category Result Ref.
Pearl of Africa Music Awards 2005 Best Hip Hop Single Template:Won
Uganda Buzz Music Awards 2009 GNL Zamba Best Male Artist Template:Nominated
Pearl of Africa Music Awards 2009 Best Single Template:Nominated
Press Association Awards 2009 GNL Zamba Artist of the year Template:Won
Pearl of Africa Music Awards 2009 Best Hip hop single Template:Won
Kisima Awards, Kenya 2010 GNL Zamba Best Hip Hop Artist Template:Nominated
Kisima Awards, Kenya 2010 Best single Template:Nominated
Uganda Buzz Music Awards 2010 Song of the year Template:Nominated
Pearl of Africa Music Awards 2010 Best single Template:Nominated
Pearl of Africa Music Awards 2010 Best Group Template:Nominated
Uganda Buzz Music Awards 2010 GNL Zamba Best male artist Template:Nominated
Uganda Buzz Music Awards 2010 GNL Zamba Artist of the year Template:Nominated
Uganda Buzz Music Awards 2010 GNL Zamba Best hood rapper Template:Won
Pearl of Africa Music Awards 2010 Best Hip Hop single Template:Won
Uganda Buzz Music Awards 2011 GNL Zamba Artist of the year Template:Nominated
Pearl of Africa Music Awards 2011 GNL Zamba Best male artist Template:Nominated
Pearl of Africa Music Awards 2011 Best single Template:Nominated
Pearl of Africa Music Awards 2011 Best Hip Hop single Template:Won
International Education Conference 2011 GNL Zamba People's choice digital media Template:Won
Uganda Buzz Music Awards 2011 Baboon Forest Hottest group Template:Won
Kandanke Awards 2012 GNL Zamba Artist of the year Template:Nominated
Uganda Buzz Music Awards 2012 Best Hip Hop single Template:Nominated
Uganda Buzz Music Awards 2012 GNL Zamba Best male artist Template:Won
Kandanke Awards 2013 Best Hip Hop single Template:Nominated
Kandanke Awards 2013 GNL Zamba Best male artist Template:Nominated
Kandanke Awards 2013 GNL Zamba Artist of the year Template:Nominated
Kadanke Awards 2013 Best Hip Hop single Template:Won
Kadanke Awards 2013 Best group Template:Won
Club Music Video Awards 2013 Best male video of the year Template:Won
Club Music Video Awards 2013 Video of the year Template:Won
Uganda Buzz Music Awards 2013 Best group Template:Won
Rising Star Awards 2014 GNL Zamba Best Hip Hop artist Template:Nominated
Hipipo Awards 2014 GNL Zamba Best Hip Hop artist Template:Nominated
Zina Awards 2014 Best Hip Hop single Template:Nominated
Twaweza 2014 GNL Zmba Best Social Impact Through The Arts Award Template:Won
256 Hip-Hop Awards 2019 African rapper of the year Template:Won
Independent Music Awards 2019 Nsimbi Best Debut Album Template:Nominated
Independent Music Awards 2019 Leo Ni Leo Best World Beat Song Template:Won
Independent Music Awards 2019 Dunia Ni Matembezi Best Narrative Music Video Template:Nominated
Independent Music Awards 2019 Acholi Boy Best Spoken Word Template:Nominated

Discography

[kyusa | edit source]
  • Koyi Koyi (Ebisoko by'Obulamu), 2009
  • Okwogera Olulimi Oluganda, 2011 [2]
  • Omukolo gw'okuzzaawo eddiini / Uganda Yaffe, 2013 [2]
  • Nze Zamba / Ceazar, 2014 [2]
  • Okuloota mu Langi (mu kufulumizibwa 2016) [2]
  • Effumu (2020) [2]

Ebiwandiiko

[kyusa | edit source]
  • GNL Zamba on Facebook

Ebiwandiiko ebikozesebwa

[kyusa | edit source]
  1. https://www.reverbnation.com/gnlzamba/bio
  2. 2.0 2.1 2.2 2.3 2.4 2.5 2.6 https://www.independent.co.ug/the-spear-tells-the-story-of-chaos-and-peace-love-and-activism-past-and-present/
  3. 3.0 3.1 https://hardrockmedia.org/2022/01/7-things-you-didnt-know-about-gnl-zamba/
  4. https://hardrockmedia.org/2022/01/7-things-you-didnt-know-about-gnl-zamba/
  5. https://hardrockmedia.org/2022/01/7-things-you-didnt-know-about-gnl-zamba/
  6. 6.00 6.01 6.02 6.03 6.04 6.05 6.06 6.07 6.08 6.09 https://ugamusic.ug/bio/GNL-Zamba
  7. "Archive copy". Archived from the original on 2023-02-09. Retrieved 2023-11-18.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  8. https://www.musicinafrica.net/magazine/leading-ugandan-hip-hop-artists-inspire-youth-two-week-workshop
  9. https://www.newvision.co.ug/category/news/ugandan-producers-killing-gnls-inspiration-147770
  10. https://ugamusic.ug/bio/GNL-Zamba
  11. "Archive copy". Archived from the original on 2023-02-09. Retrieved 2023-11-18.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  12. https://mdundo.com/news/22088
  13. https://www.newvision.co.ug/articledetails/1422175
  14. https://www.watchdoguganda.com/entertainment/showbiz/20170227/14318/gnl-zambafrom-music-to-poetry.html
  15. https://newslexpoint.com/gnl-coke-studio/
  16. https://observer.ug/lifestyle/61050-gnl-zamba-making-waves-in-usa
  17. https://observer.ug/lifestyle/61050-gnl-zamba-making-waves-in-usa
  18. https://campusbee.ug/news/rapper-gnl-zamba-lecturing-at-kyambogo-university/
  19. https://chimpreports.com/ivan-kaweesa-emerges-winner-of-gnl-dear-hip-hop-challenge/
  20. https://www.pmldaily.com/features/2021/03/gnls-return-only-makes-hiphop-stronger-navio.html
  21. https://www.pmldaily.com/features/2021/03/gnls-return-only-makes-hiphop-stronger-navio.html
  22. "Archive copy". Archived from the original on 2016-08-16. Retrieved 2022-11-28.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  23. "Archive copy". Archived from the original on 2023-11-18. Retrieved 2023-11-18.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  24. https://www.facebook.com/YouthHiphopUganda/posts/927914583940387:0
  25. http://www.newvision.co.ug/news/662285-kisenyi-dances-to-safer-sex-20-000-condoms-given-out.html
  26. http://www.newvision.co.ug/news/662285-kisenyi-dances-to-safer-sex-20-000-condoms-given-out.html
  27. "Archive copy". Archived from the original on 2016-03-05. Retrieved 2022-11-28.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  28. http://www.buzzgroupafrica.com/
  29. http://www.newvision.co.ug/news/659751-calls-for-youth-friendly-services-in-health-facilities.html
  30. "Archive copy". Archived from the original on 2022-11-28. Retrieved 2022-11-28.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  31. http://www.newvision.co.ug/D/9/38/691862
  32. "Archive copy". Archived from the original on 2023-02-09. Retrieved 2023-11-18.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  33. http://www.newvision.co.ug/D/9/40/763774
  34. 34.0 34.1 https://www.routineblast.com/gnl-zamba-wife-tamar-shows-off-multi-billion-investment-photos/
  35. https://www.routineblast.com/gnl-zamba-wife-tamar-shows-off-multi-billion-investment-photos/