Jump to content

Gertrude Nakabira

Bisangiddwa ku Wikipedia

Gertrude Nakabira Lubega (1962 – 19 Ogusooka 2020) yali munnayuganda ow'ebyobufuzi eyawereza nga omubaka wa Paalamenti omukyala owa Disitulikiti ya Lwengo okuva ku mwaka gwa 2011 okutuusa 2016. Nga tanalondebwa, yamala ebanga eliwelako mu busomesa, ekyamulobera okufuuka Offiisa w'emisomo mu Disitulikitti ye Sembabule.

Ebimukwatako

[kyusa | edit source]

Gertrude Nakabira Lubega yazaalibwa mu mwaka gwa 1962.[1] Yakolako nga omusomesa ne consultant mubyemisomo, namala emyaka asattu mu entaano mu mirimu ejyasooka.[2] Mu mwaka gwa 2005, yafuuka Offiisa w'ebyemisomo owa Disitulikiti ye Sembabule, naweereza okutuusa omwaka gwa 2010.[2]

Mu kulonda kw'abonna okwa 2011 Ugandan general election, ylondebwa ku lwa National Resistance Movement ku ntebe y'omubaka omukyala akyikirira Lwengo.[3] Mu mwaka gwa 2013, mu kiseera kya anniversary y'obufumbo bwe ey'emyaka abiri mu etaano ku Kinoni Town Council, mu Disitulikitti ye Rwampara, Pulezidenti Yoweri Museveni yatendereza "obumalirivu bwe ku nkulaakulana n'okujjawo obwaavu mu constituency ye".[4]

Mu kulonda kwa bonna okwa 2016 Ugandan general election, yasalawo okulekulira entebbe y'omubaka omukyala okusobola okunoonya akalulu k'entebbe y'omubaka wa Bukoto County South.[5][1] Naye, yafuna okunenyezebwa olwokugyingirira empapula z'emisomo gye mu biseera by'okunoonya akalulu, omwali obutakwatagana wakati w'olunaku lwe y'amaliriza emisomo gye ejy'obuto n'olunaku lwe yazaalibwa.[1] Ku nkomerelo, yawangulwa Muyanja Mbabaali era naava mu Paalamenti.[6]

Oluvannyuma lw'emyaka nga mulwadde nnyo, yamala n'aweebwa ekitanda mu Ddwaliro lye Nsambya, eyo jy'eyafiira n'ekilwadde kya kookolo nga 19 Ogusooka 2020, ku myaka 57.[7] Oluvannyuma yaziikibwa mu Kibengo, Disitulikitti ye Sembabule nga 22 Ogusooka.[7]

Yabeera mu Lwengo. Yalina mukulu we omuwala Irene Nakabira. Eyafumbirwa Emmanuel Lubega mu mwaka gwa 1988.

Ebijulizidwamu

[kyusa | edit source]