Grace Nakimera
Grace Nakimera munnayuganda ayimba ennyimba z'eddiini, muzinyi, muwandiisi ate era nga muwandiisi wa nnyimba.
Okuyimba
[kyusa | edit source]Grace yatandika okuyimba ng'alina myaka musanvu. Yasobolanga okuyimbira mu myoleso gy'ebitone mu Kampala. Bwe yaweza emyaka 18, yagenda e Rwanda era okumala emyaka ebiri era n'ayimba n'ekibiina ky'abayimbi eky'omunda mu ggwanga eryo ku Mille collin hotel mu Kigali, wooteeri eyo yafulumira mu firimu ya "Hotel Rwanda" ekwata ku kittabantu ekyaliwo mu ggwanga Rwanda. Mu mwaka gwa 2000, yakomawo e Kampala n'e yeegatta ku kibiina ky'abayimbi b'ekkanisa ya Christ the King Church. Mu 2004, eby'okuyimba yasooka n'abiyimirizaamu okumala ebbanga ggwanvu. Yakolagana n'abayimbi ababiri, Gatimo ne Paragon okukwata oluyimba olwacaaka ennyo mu Uganda. Abayimbi abo abasatu baawangula engule ya Pearl of Africa Music Awards 2004/5. Yatandika okuyimba yekka ng'ekibiina kisasise. Okuva ku olwo afulumizza ennyimba ez'enjawulo gamba nga, “Anfuukula,” “Kiva Kuki”, “Sukuma”, “Nvawo Nawe”, “Kawoonawo" n'oluyimba lw'eddiini olumanyiddwa nga, "Onyambanga." Nakimera era alina bizineesi ye era alina omwana ow'obuwala.
Ennyimba ze
[kyusa | edit source]Ezeetengeredde
[kyusa | edit source]- Katika
- Ani Akumanyi
- Kawonawo
- Nvawo Nawe
- Mpola Mpola
- Nkwagala Kufa
- Sexy
- Onyambanga mukama
- Anfukuula
- Kiva Kuki
- Sukuma
- Welaga Ki
- Some More
- Ntandika
- Bumper ku Bumper
- Nalo
- Seesa
- Baagala Kiki
- Riziki Yo
- Twala Byange
- Tuseyeya
Entambi
[kyusa | edit source]- Kawonawo