Jump to content

Guaranty Trust Bank (Uganda)

Bisangiddwa ku Wikipedia
GT Bbanka

Guaranty Trust Bank (Uganda), emanyiddwa ennyo nga GT Bank Uganda, kkampuni ekola ku by'okuwola n'okutereka ssente mu Uganda . Eno yaweebwa olukusa okuweereza nga bbanka y’ebyobusuubuzi okuva mu Bank of Uganda, banka enkulu era evunaanyizibwa ku bbanka endala zonna mu Uganda[1] Kyokka Bank of Uganda oluvannyuma yakkanya ku buyinza bwa GTBank Uganda bweyajjijja mu ttuluba lya bbanka z'ebyobusuuzi ennene(Tier I commercial bank) nejizza mu makampuni agawola n'okutereka ensimbi (Tier II credit company) era nga kino kyalina okukolebwa wakati wa 1 Ogwokuna2024 okutuuka nga 30 Ogwomukaaga 2024 era nga bbanka ya Uganda enkulu yesigama ku bunji bwensimbi GT Bank zeyali ekozesa mu mirimu gyayo oluusi eziyitibwa capital. [2]

Ebikwata ku GT Bank

[kyusa | edit source]

Omwaka 2019 wegwatuukira nga GT Bank Uganda eyina ebyobugagga ebibaliriwamu obuwumbi bwa Uganda 225 era abaalinamu emigabo baali basize mu bbanka eno ssente za Uganda obuwumbi 38. Mu mwaka ogwo gwegumu ogwa 2019 GT Bank yakola amagoba ga siringi za Uganda obuwumbi 2 nga tonnajjako misolo era n'esigaza akawumbi 1 mu magoba oluvanyuma lw'okusasula emisoso gyonna. Guno gwegwali omulundi gwa GT Bank ogusooka okukola amagoba amanji bwegatyo mu bbanga lya myaka 12. GT Bank Uganda ttabi lya Guaranty Trust Bank (GTB), kampuni y'ebyensimbi esibuka mu ggwanga lya Nigeria era nga yewali ekitebe kyayo. Bbanka eno era elina amatabi amalala mu mawanga agasangibwa mu bugwanjuba, amasekkati wamu nobugwanjuba bwa Afirika.[3]

Ebyafaayo

[kyusa | edit source]

GT Bank (Uganda) yatandika mu mwaka 2008 ng yali eyitibwa Fina Bank (Uganda), olwa kkampuni ya Fina Bank Group esibuka mu Kenya eyajiggulawo. Oluvannyuma mu mwaka 2013, Fina (eya Kenya)yaguza GTB (eya Nigeria) emigabo 70 ku buli 100 ku bukadde bwa doola za Amerika 100. [4] [5] Ku ntandikwa ya 2014, bbanka eno yakyusa erinnya olw'okuba nga obwannanyini bwali bukyuuse [6]

Amatabi

[kyusa | edit source]

Omwezi ogwokuna 2024 wegwatuukira nga GT Bank Uganda erina amatabi mu bifo bino wammanga:[7]

  • Ettabi Enkulu : 56 Kira Road, Kamwokya, Kampala
  • Ettabi lya Buganda Road: 7 Buganda Road, Kampala
  • Ettabi e Nakivubo: 34-38 Nakivubo Road, Kampala
  • Ettabi mu Industrial Area: 13 Mulwana Road, Kampala [8]
  • Ettabi ly’e Mbarara: 52-54 High Street, Mbarara
  • Ettabi e Kyaliwajjala: 31 Namugongo Road, Kyaliwajjala, Kira Town
  • Ettabi ku Colville Street: 5-6 Colville Street, Kampala
  • Ettabi le Makerere: Makerere .

Laba ne;

[kyusa | edit source]

Ebiwandiiko ebijuliziddwa

[kyusa | edit source]
  1. Bank of Uganda (31 March 2023). "List of Licensed Commercial Banks As At March 2023" (PDF). Bank of Uganda. Kampala, Uganda. Archived from the original on 20 February 2024. Retrieved 2 April 2024.
  2. Adonijah Ndege (27 March 2024). "GTBank loses commercial bank status after Bank of Uganda reclassification". TechCabal. Lagos, Nigeria. Retrieved 2 April 2024.
  3. GTBank Group (April 2020). "GTBank Uganda Declares UGX2 Billion Profit After 12 Years of Operation". Guaranty Trust Bank. Lagos, Nigeria. Retrieved 2 April 2024.
  4. BDA Reporter (November 2013). "Nigerian lender to buy 70 pc stake in Kenya's Fina bank". Business Daily Africa. Nairobi. Retrieved 3 November 2016.
  5. http://www.newvision.co.ug/new_vision/news/1336857/fina-bank-uganda-sold-nigerian-bank
  6. Kay, Chris (4 February 2014). "Nigeria's Guaranty Trust Completes Purchase of Kenya's Fina Bank". Bloomberg News. Retrieved 3 November 2016.
  7. GT Bank Uganda (2 April 2024). "List of GT Bank Uganda Branches". Linkedin.com. Retrieved 2 April 2024.
  8. Vision Reporter (1 December 2009). "Fina Bank Targets Industrial Area". New Vision. Retrieved 3 November 2016.