Jump to content

Hannah Karema Tumukunde

Bisangiddwa ku Wikipedia

Hannah Karema Tumukunde Munnayuganda modo era nga y'esimbawo ku bwa Nnalulungi era nga yalina engule y'obwannalulungi wa Uganda (Miss Uganda) 2023–2024.[1] Yakiikirira Uganda mu mpaka z'obwannalulungi w'ensi yonna eza Miss World ezayindira mu India okuva mu Gwokubiri nga 18 okutuusa mu Gwokusatu nga 9, 2023.[2][3] Yalabikira mu ba Nnalulungi yakwata kya kubiri mpaka za Miss World Africa[4] ku mikolo gy'omulundi ogwa 71[5] era yali ku lusegere nnyo ne Quiin Abenakyo kubanga naye yalondebwa ku Nnalulungi 10 abasinga mu nsi yonna n'okusinga "obulungi obulina omulamwa".[6]

Obuto bwe n'emisomo gye[kyusa | edit source]

Hannah Karema Tumukunde yazaalibwa mu 1998 mu Disitulikiti y'e Nakaseke, mu Masekkati ga Uganda. Yasomera ku Seroma Christian High School ne Hana International School nga tannaba kwegatta ku Ssettendekero wa Makerere. Mu kaseera kano abeera Kisasi, Kampala[7] era nga ye Ambasada w'omukutu gwa StarTimes mu Uganda.[8]

Empaka z'obwa Nnalulungi ba Uganda 2023[kyusa | edit source]

Mu mpaka z'obwannalulungi ba Uganda mu 2023, Karema yawangula abakontanyi abalala 20 okusobola okuwangula engule y'obwannalulungi wa Uganda ezayindira ku UMA multipurpose hall Kampala.[9] Yaweebwa emmotoka ekika kya Toyota Wish era n'okyitawo buterevu okukiikirira Uganda mu mpaka z'obwannalulungi w'ensi yonna.[10]

Empaka z'obwannalulungi w'ensi yonna 2024[kyusa | edit source]

Karema yakiikirira Uganda mu mpaka z'obwannalulungi w'ensi yonna ez'omulundi ogwa 71 nga mu Pulojekiti ye eya Obulungi obw'omulamwa yakwata ekifo kya 7 nga pulojekiti eno egenderera okukuumira omuwala mu ssomero saako n'okubatuusako eby'ettago ebikozesebwa saako n'engeri y'okweyonja mu kaseera k'ensonga z'ekikyala. Yakwata kya kubiri mu mpaka za Miss World Africa[11][12] oluvanyuma lw'okuwangulwa Miss Botswana, Lesego Chombo.[13]

Ebijuliziddwamu[kyusa | edit source]