Jump to content

Hilda Tadria

Bisangiddwa ku Wikipedia
Hilda Tadria
omuntu
Ekikulamukyala Kyusa
Ensi y’obutuuzeYuganda Kyusa
Erinnya eriweereddwaHilda Kyusa
Yazaalibwa nga1945 Kyusa
Ennimi z'amanyiLungereza Kyusa
Omulimuwomen's rights activist Kyusa
OmukozesaSsettendekero wa Makerere Kyusa
GyeyasomeraUniversity of Minnesota, Ssettendekero wa Makerere, Newham College of Further Education, Newnham College Kyusa

Hilda M. Tadria mulwanirizi w’eddembe ly’abakyala,Munnayuganda mukugu mu nkulaakulana y’’embeera z’abantu, era nga ye dayirekita w'enkola ya Monitoring and Empowerment Programme for Young Women In Uganda (MEMPROW). Awabudde ebitongole by’obwannakyewa mu nsi yonna ku kikula ky’abantu, enzirukanya y’ebitongole n’enkulaakulana y’embeera z’abantu, era abadde ku ddaala lya wakati wa pulofeesa omuyambi ne pulofeesa omujjuvu ( An associate professor) mu yunivasite y’e Makerere .

Tadria alina ddiguli esooka mu ngeri abantu gyebawangaalira awamu mu bitundu n'engeri ebitundu gyebikosaamu endowooza yaabwe n'eneeyisa yaabwe (A bachelor's degree in sociology ) okuva mu yunivasite y’e Makerere, ddiguli eyokubiri mu butya abantu bwebabeeramu , bwebeeyisa n'engeri gye bategekamu obulamu bwabwe mu buwangwa obw'enjawulo n'ebitundu ( master's degree in social anthropology ) okuva mu Ttendekero lya Newnham College Cambridge , Bungereza, ne Ddiguli eyokusatu ( PhD) mu butya abantu bwebabeeramu, bwebeeyisa n'engeri gye bategekamu obulamu bwabwe mu buwangwa obw'enjawulo n'ebitundu okuva mu Yunivasite y'e Minesota , Amerika. [1] [2]

Tadria akozeeko ng'eyeebuuzibwako ku nsonga z'ekikula ky’abantu, enzirukanya y’ebitongole n’enkulaakulana y’embeera z’abantu owa Bbanka y'ensi yonna ,UNDP, UNIFEM, gavumenti ya Uganda, N'ekitongole kya Canadian International Development Agency (CIDA) ne NOVIB . [1]

Tadria yaliko omusomesa, ku ddaala lya wakati wa pulofeesa ne pulofeesa omujjuvu ( Associate professor ) mu kitongole ekisomesa ku ngeri abantu gyebawangaalira awamu mu bitundu n'engeri ebitundu gyebikosaamu endowooza yaabwe n'eneeyisa yaabwe (Sociology Department ) ku yunivasite y'e Makerere . Ng’ali eyo, yatandikawo ekitongole ky'obwannakyewa (NGO), ki Action for Development (ACFODE). [1]

Mu Gw'omwenda 2017, yakulembera omusomo gw'ekibinja ky'Abafirika abakulembeddemu okulwanirira obwenkanya bwabanyu ab'ekikula kyonna awatali kusosola (Feminists) ku kitongole kya South Africa ekya Masimanyane Women Rights International , ng'ali wamu ne Dorcas Coker Appiah , ssenkulu w'ekitongole kya Ghana ki Gender Studies and Human Rights Documentation Centre, era n'awa "omusomo ogw'amaanyi ku nkola y'okusukkulumya abasajja . [3] [4]

Ebijuliziddwa

[kyusa | kolera mu edit source]
  1. "Hilda Tadria, Uganda". africawln.org. Retrieved 10 November 2017.
  2. Shetty, Priya (October 2006). "Hilda Tadria: proponent of gender equality and maternal health" (PDF). The Lancet. 368 (9546): 1487. doi:10.1016/S0140-6736(06)69623-2. PMID 17071271. S2CID 33082590. Retrieved 10 November 2017.
  3. "Hilda Tadria » African Feminist Forum". African Feminist Forum (in American English). 2016-03-25. Retrieved 2026-03-21.
  4. "Masimanyane Women's Rights International". Masimanyane Women's Rights International. Archived from the original on 2 May 2019. Retrieved 10 November 2017.

Lua error: Invalid configuration file.

  1. 1 2 3 "Hilda Tadria, Uganda". africawln.org. Retrieved 10 November 2017. Cite error: Invalid <ref> tag; name "africawln.org" defined multiple times with different content.
  2. Shetty, Priya (October 2006). "Hilda Tadria: proponent of gender equality and maternal health" (PDF). The Lancet. 368 (9546): 1487. doi:10.1016/S0140-6736(06)69623-2. PMID 17071271. S2CID 33082590. Retrieved 10 November 2017.
  3. "Hilda Tadria » African Feminist Forum". African Feminist Forum (in American English). 2016-03-25. Retrieved 2026-03-21.
  4. "Masimanyane Women's Rights International". Masimanyane Women's Rights International. Archived from the original on 2 May 2019. Retrieved 10 November 2017.