Humphrey Nabimanya
Humphrey Nabimanya
Yazaalibwa 14 November 1988 (emyaka 35)
Eggwanga lya Uganda
Ebyenjigiriza Kiira College Butiki(2004-2007), Namirembe Hillside High School(2008 – 2009)
Alma mater Makerere University
Ekitongole Reach A Hand, Uganda
Amanyiiddwa Nga eyatandika era y'akulira ekitongole kya Reach A Hand, Uganda, Uganda
Omulimu ogweyoleka Executive producer, Kyaddala
Humphrey Nabimanya Munnayuganda muyiiya, muzirakisa, musomesa banne, omutandisi era omukulembeze wa kitongole ekimanyiiddwa nga Reach A Hand, Uganda . [1][2] Yatandikawo ekibiina kya Ikon Awards .[3][4]
Obulamu bwe obuto n’okusoma
[kyusa | edit source]Nabimanya yazaalibwa nga 14 November 1988 era alina baganda be musanvu.
Nabimanya yasomera mu Rubaga Primary school (Queen of Peace) mu 2003, Kiira College Butiki okuva mu 2004 okutuuka mu 2007 mu 0'level, ne Namirembe Hillside High School wakati wa 2008 ne 2009. Mu 2013, yatikkirwa diguli mu community psychology oba giyite by’empisa mu bantu kuyunivasite y’e Makerere . [5]
Omulimu
[kyusa | edit source]Eyafuna engule ya Young Achievers Award for Film and Photography mu 2011, [6]Nabimanya mulwanirizi wa bavubuka mu by’obulamu n’eddembe ly’okuzaala mu by’okwegatta, omukulembeze, agenti w’enkyukakyuka era omuweereza w’okunyweza abavubuka ku NBS Television mu Uganda. [7]
Mu 2011, bwe yali mu mwaka gwe ogwasooka ku yunivasite, Nabimanya yatandikawo Reach A Hand, Uganda ekitongole ekitali kya magoba ekikulemberwa abavubuka nga essira liteekeddwa ku nteekateeka z’okutumbula abavubuka nga essira liteekebwa ku bulamu n’eddembe ly’okuzaala mu by’okwegatta, [8]okumanyisa n’okuziyiza akawuka akaleta siriimu . [9]
Okuyita mu Reach A Hand Uganda, Nabimanya yatondawo ekibiina ky’abavubuka abawagizi [10]nga kirimu ttiimu ya bammemba 46 n’abazirakisa 1,755 wansi w’ettendekero lya Peer Educators Academy nga, omwaka 2020 we gwaggweerako, baali bayambye okutuuka ku bantu abasoba mu 6,618,171 nga bayita mu nkola za pulojekiti ez’enjawulo ne 18,205,652 nga bayita ku mikutu gya yintaneeti. Reach A Hand Uganda erina ebiyingizibwamu [11] mu masomero 66 ebituuka ku bavubuka nga 20,100 n’abavubuka 67,193 abatali mu masomero. [12][13]
Nabimanya asomesa abavubuka ku bulamu bw’okuzaala mu by’okwegatta n’eddembe. [14] Awagira banne okufuga obulamu bwabwe ne beeyanjula mu ngeri ezisikiriza, [15] ezisikiriza n’okusitula obwesige mu bo bennyini ne bannaabwe wansi w’omukutu mwe balina emikisa emijjuvu okwetaba mu nkola y’okumenya ebiziyiza ebibalemesa okukola okusalawo okumanyiddwa mu bulamu ku bikwata ku SRHR yaabwe. [16]
Okusiimibwa n’okuweebwa engule
[kyusa | edit source]- 2018 Abavubuka Abafirika abasinga amaanyi mu mpaka za Africa Youth Awards [17]
- Omuwanguzi w'engule y'obukulembeze mu mpaka za ASFAS 2016 [18]
- Omuntu w'okuweereza ku mpewo z'abantu nga RTV Academy 2014 [19]
- Segal Family Foundation eyafuna emmunyeenye ya Rising Star eya buli mwaka 2014 [20]
- Omuwanguzi, Omuwolereza w'abavubuka nga Public Health Awards 2014
- Omuzannyi eyalondebwa ku ngule y'obukulembeze bwa MTV Base Africa mu mpaka za MTV Africa Music Awards 2014 Yakwatibwa nga 15 June 2020 .
- Ewereddwa pulezidenti ne First Lady wa Uganda ng’ayolekera obuwagizi bwe eri abavubuka ng’ayita mu kitongole kye ekya Reach A Hand foundation
- Enteekateeka y'abaana e Nambi mu 2012
- Yaweebwa engule ng’omuwolereza ow’amaanyi era n’avaayo nga Young Achiever 2011
- Yafuna engule ya Young Achievers Award mu 2011 mu firimu n’okukuba ebifaananyi
- Teeniez TV Personality Buzz Engule z'abavubuka 2011 [21]
- Engule y'omubuulirizi w'abavubuka mu mwaka KIBO Foundation mu 2010
- Yafuna ekitiibwa okuva mu DSW olw’okuwangula ekibuuzo kya SRH/R ekyakolebwa nga 14 December 2009.
- ↑ http://120under40.org/nominee/humphrey-nabimanya
- ↑ https://www.newvision.co.ug/new_vision/news/1426138/youth-community-service-promote-peer-education
- ↑ "Archive copy". Archived from the original on 2024-04-21. Retrieved 2024-09-06.
{{cite web}}
: CS1 maint: archived copy as title (link) - ↑ https://redpepper.co.ug/moments-you-missed-from-the-launch-of-the-sautiplus-medias-ikon-awards-film-and-television-awards-last-night-at-serena-hotel-pictures/118759/
- ↑ https://redpepper.co.ug/interview-nbs-humphrey-nabimanya-started-his-hivaids-activism-at-13/
- ↑ "Archive copy". Archived from the original on 2022-10-04. Retrieved 2024-09-06.
{{cite web}}
: CS1 maint: archived copy as title (link) - ↑ https://www.monitor.co.ug/OpEd/Commentary/500-girls-infected-HIV-Uganda-paying-attention/689364-3806804-fec1ol/index.html
- ↑ https://www.globalcitizen.org/en/content/pioneering-sex-ed-in-uganda-for-youth-by-youth/
- ↑ https://www.globalcitizen.org/en/content/pioneering-sex-ed-in-uganda-for-youth-by-youth/
- ↑ https://www.newvision.co.ug/new_vision/news/1341606/musicians-csos-kick-sexual-reproductive-health-campaign-institutions
- ↑ https://issuu.com/reachahanduganda/docs/rahu_annual_report_2019__1_
- ↑ https://www.newvision.co.ug/new_vision/news/1429248/investing-girls-key-harness-uganda-demographic-dividend
- ↑ https://campusbee.ug/featured/mcm-humphrey-nabimanya-preaches-the-gospel-of-safe-sex-to-youths/
- ↑ https://edition.cnn.com/videos/world/2022/06/02/african-voices-angeline-murimirwa-camfed-humphrey-nabimanya-reach-a-hand-uganda-spc.cnn
- ↑ https://www.hugedomains.com/domain_profile.cfm?d=africaelevation.com
- ↑ https://www.huffpost.com/entry/breaking-down-barriers-in_b_9702392
- ↑ "Archive copy". Archived from the original on 2022-01-25. Retrieved 2024-09-06.
{{cite web}}
: CS1 maint: archived copy as title (link) - ↑ "Archive copy". Archived from the original on 2017-05-17. Retrieved 2024-09-06.
{{cite web}}
: CS1 maint: archived copy as title (link) - ↑ https://www.newvision.co.ug/new_vision/news/1330517/ugandan-activist-wins-international-award
- ↑ https://www.segalfamilyfoundation.org/our-partners/award-winners/
- ↑ https://www.monitor.co.ug/artsculture/Entertainment/Young-mulo-tops-buzz-awards-nominees--list/812796-1754578-122k1uhz/index.html