Jump to content

Ibrahim Sekagya

Bisangiddwa ku Wikipedia
ibrahim Sekagya 2.jpg

  Ibrahim Sekagya yazalibwa nga 19 mu Gwekumineebiri mu 1980, nga munayuganda eyaliko omusambi w'omupiira ng'era yali azannya ng'omuzibizi ayimirira mu maaso g'entabwe ya ggoolo. Esaawa eno ye mutendesi omukulu owa New York Red Bulls II ey'ekibinja kya Amerika ekya MLS Next Pro.

Kiraabu z'azze azannyiramu

[kyusa | edit source]

Yazaalibwa mu Kawempe e Kampala, ng'omulenzi, Sekagya yatandika okuzannya omupiira ku kisaawe ekitaaliko yadde obusubu e Kawempe gyebatera okuyita ku kataka nga tanaba kwegata ku kiraabu ya State House ne kiraabu y'ewaka enene emannyikidwa nga Kampala City Council FC (KCC FC). Sekagya yatandika okuzannya omupiira gw'ekikulu oguliko ekigendererwa ne Kampala City Council mu 1992, nga tanaba kugenda mu Argentina mu 1998, okusobola okutandika obulamu bw'okusamba omupiira ng'agutwala ng'omulimu. Kiraabu ye eyasooka mu Argentine yali Atlético de Rafaela mu kibinja kya Primera B Nacional. Mu 2002, yagenda okwegata ku Ferro Carril Oeste mu kibinja kya Primera B Metropolitana, oluvannyuma n'abayamba ttiimu eyo okuwangula liigi n'okusumusibwa okugenda mu kibinja ekiddako ekya Primera B Nacional. Mu 2005, yaweebwa endagaano abakiraabu ya Arsenal de Sarandí ey'ekibinja kya Argentine ekya Primera División, gyeyamala sizoni bbiri.

Mu 2007 Ogwomukaaga, Sekagya yateeka omukono kundagaano ey'emyaka esatu ne kiraabu ya Red Bull Salzburg, abaali ba kyampiyoni bw'ekibinja kya Austria ekyababinywera.[1] Yazannya omupiira gwe ogwali gusooka mu kibnja kino ekya Bundesliga nga 11 Ogwomusanvu mu 2007 mu kuwangula kwa Salzburg okwa 4–1 ng'ekuba SC Rheindorf Altach, n'ateeba ggoolo ya liigi eyasooka nga 22 Ogwomusanvu mu 2007 okuyamba Salzburg okukola amaliri ga 2–2 ng'egenze ku bugenyi ewa FK Austria Wien. Mubwangu yeekwata ekifo ky'okubeera ng'atandika ng'omuzannyi mu kiraabu eno nga yamalako sizoni eyasooka ng'azannya emipiira 34 mu kibinja kya Bundesliga, ng'ateebye ggoolo satu mu liigi.[2] Mu sizoni omukaaga zeyamala mu kiraabu eno, Sekagya yazannya emipiira 165 egya liigi, n'ateeba ggoolo mukaaga.Mukaseera ako, yabayamba okuwangula ebikopo bya liigi y'eggwanga lya Austria eyababinywera bisatu n'ekikopo ky'empaka za Austrian Cup.

Fayinolo ya 2011–12 ey'empaka za Austrian Cup

Nga 11 Ogwomusanvu mu 2013, Sekagya yeegata ku liigi ya Amerika eyababinywera mu kiraabu ya New York Red Bulls ku bweereere, oluvannyuma lw'okuva mu Red Bull Salzburg ng'eni mwanyina wa kiraabu gyeyali agenzeemu.[3] Nga 4 Ogwomunaana mu 2013 Sekagya yazannya omupiira gwe ogwali gusooka mu New York nga yatandika ng'omuwuwuttanyi eyali azibira mu mupiira gwebaawangula 3–2 nga bakuba Sporting Kansas City. Nga 27 Ogwekumi mu 2013, Sekagya yateeba ggoolo eyali ebatwala mu maaso mu mupiira ogwali gusembayo mu sizoni nga bazannya Chicago Fire ku kisaawe kya Red Bull Arena , ekyayamba ttiimu ye okuwangula 5–2 nekibafuula ba kyampiyoni mu sizoni eyali entegeke. Kyekyali ekikopo kya kiraabu eky'amannyi ekyali kisooka mu byafaayo byabwe eby'emyaka 17.[4][5] Wabula, Sekagya yasuula omupiira ogwavaamu Houston okufuna ggoolo ey'ekyenkanyi era nebabakuba ggoolo 2–1, nekiwandula New York okuva mu kikopo kya 2013 ekisalawo agenda ku luzannya oluddako.[6] Mu sizoni ya 2014, Sekagya yafuuka omuzannyi eyali atandika emipiira gya New York, n'abayamba okutuusa kiraabu eno mu mpaka ezisalawo agenda kuluzannya oluddako (MLS Cup playoffs). Sekagya yawumula okuva mu mupiira gw'ensiimbu muntandikwa ya 2015.

Ku mutendera gw'ensi

[kyusa | edit source]

Sekagya yasambirako ne ttiimu ya Uganda ey'eggwanga, gyeyali nga kapiteeni wa ttiimu. Yabazannyira emipiira munaana, mweyateebera ggoolo emu mu z'okusunsula abaali bagenda okwetaba mu z'ekikopo ky'ensi yonna ekya 2006, wamu n'emirundi esatu ne ggoolo emu, mu z'okusunsula abaali bagenda okwetaba mu kikopo ky'ensi yonna ekya 2010.[7]

Ggoolo z'ateebye kumuntera gw'ensi

[kyusa | edit source]
# Enaku z'omwezi Ekifo Gwebaali bazannya Ggoolo ezaalimu Engeri gyegwagwamu Empaka
1 Nga 6 Ogwomukaaga mu 2004 Nelson Mandela National Stadium, Kampala, Uganda  DR Congo 1 – 0 1–0 Ez'okusunsula abaali bagenda okwetaba mu kikopo ky'ensi yonna ekya 2006.
2 31 Ogwokutaano mu 2008 Nelson Mandela National Stadium, Kampala, Uganda  Niger 1 – 0 1–0 Ez'okusunsula abaali bagenda okwetaba mu kikopo ky'ensi yonna ekya 2010.

Ogw'obutendesi

[kyusa | edit source]

Oluavnnyuma lw'okuwumula, Sekagya yeetaga ku batandeka kiraabu ya New York Red Bulls.[8] Nga 2 Ogwomusanvu mu 2022, Sekagya yaweebwa eky'omutendesi omukulu ow'ekiseera ku Red Bulls'ey'ekibinja kya USL Championship ne New York Red Bulls II.[9]

Awaadi

[kyusa | edit source]

By'akozi ku kiraabu

[kyusa | edit source]
Bwakozi ku kiraabu Liigi Cup League Cup Ku semazinga Omugatte
Sizoni Kiraabu Liigi Emipiira gy'abasambidde Goals Emirundi gy'abazannyidde Ggoolo Emirundi gy'abazannyidde Ggoolo Emirundi gy'abazannyidde Ggoolo Emirundi gy'abazannyidde Ggoolo
Argentina Liigi Copa Argentina Copa de Liga Empaka ezetabibwamu kiraabu z'omubukiika kkono bwa Amerika Omugatte
2001–02 Atlético Rafaela Primera B Nacional 38 2 - - - - - - 38 2
2002–03 Ferro Carril Oeste Primera B Metropolitana 30 2 - - - - - - 30 2
2003–04 34 2 - - - - - - 34 2
2004–05 32 0 - - - - - - 32 0
2005–06 Arsenal Primera División 29 1 - - - - - - 29 1
2006–07 33 1 - - - - - - 33 1
Austria Austrian Bundesliga ÖFB-Cup Ebiralala Mu bulaaya Omugatte
2007–08 Kiraabu ya Red Bull Salzburg Ekibinja kyababinywera 34 3 - - - - 5 0 39 3
2008–09 34 1 2 1 - - 6 1 42 3
2009–10 24 0 2 1 - - 11 0 37 1
2010–11 30 0 1 0 - - 12 0 43 0
2011–12 26 1 4 1 - - 11 1 41 3
2012–13 17 1 3 1 - - 1 0 21 2
Amerika Liigi US Open Cup MLS Cup Playoffs Mu bukiika ddyo bwa Amerika Omugatte
2013 Kiraabu ya New York Red Bulls Ekibinja kyababunywera 8 2 - - 2 0 - - 10 2
2014 25 0 1 0 5 0 - - 31 0
Eggwanga Argentina 196 8 - - - - - - 196 8
Austria 165 6 12 4 - - 46 2 223 12
Amerika 33 2 1 0 7 0 - - 41 2
Omugatte 394 16 13 4 7 0 46 2 460 22

Ebijuliziddwamu

[kyusa | edit source]

Ewalala w'oyinza okubigya

[kyusa | edit source]

 

  • Ibrahim Sekagya – likodi y'empaka ezitegekebwa ekibiina ekidukanya emipiira munsi yonna ekya FIF (byaterekebwa)
  • Ibrahim Sekagya – likodi y'empaka ezitegekebwa ekibiina ekidukanya emipiira munsi yonna ekya FIFA (byaterekebwa)
  • Ibrahim Sekagya at National-Football-Teams.com
  • Ibrahim Sekagya at Football Lineups
  • Ibrahim Sekagya at WorldFootball.net
  • Guardian Football Stats byaterekebwa nga 2 Ogwekumi mu 2012 ku byuma bya Wayback.