Ibrahim Ssemujju Nganda
Ibrahim Ssemujju Nganda, okusinga amanyikiddwa nga Ibrahim Ssemujju, munnamawulire Ounnayuganda era Munnabyabufuzi. Ye mubaka wa munisipaali y'e Kira mu Paalamenti eye 10 (2016 to 2021).
Obuvo n'okusoma
[kyusa | edit source]Ssemujju yazaalibwa ku kyalo Bijaaba, mu munisipaali y'e Kyazanga , Lwengo disitulikiti, nga 23 Ogwomwenda 1973. Mu biseera ebyo yali disitulikiti y'e Lwengo era nga kyali kikyali kitundu ku disitulikiti y'e Masaka. Mutabani wa Hajji Ali Nganda Nkwanga ne Hajati Sophia Nalwooga, omu ku baaba be ana mu omunaana era nga nnyina yabazaala abaana kkumi na mukaaga.[1]
Yasomera ku Bijaaba Islamic Institute, "mmita ntono okuva ku kitundu we yazaalibwa", gye yafunira satifikeeti y'ekyomusanvu. Oluvannyuma yatandika okusoma kwa ssekendule, wabula mu seniya 2, abamu ku banne abawala be yali asoma nabo baafuna abasajja ne bawanduka ate nga bo banne abalenzi baafuna emirimu mu tawuni y'e Masaka eyabali okumpi. Wabula, yafunayo obusente obutono era n'amatiza kitaawe okumuwandiisa ku Masaka Secondary School
okusoma seniya 3. Mu kiseera eyo, yali tamanyi wadde okwogera Olungererza wabula n'aweebwa ekifo.
Yakola bulungi mu bibuuzo bya siniya eyookuna mu 1992.Yeeyongerayo era okusoma A-Level education ku Masaka Secondary School.Yeeyasinga mu kibiina mu 1995. Yaweebwa ekifo ku Makerere Yunivasite ku gavumenti okusoma eby'amawulire.. Yatikkirwa mu diguli mu mawulire mu 1998.[2]
Emirimu
[kyusa | edit source]Nga yaakava e Makerere, yaweebwa omulimi ng'omusasi mu Daily Monitor, olumu ku mpapula eziwandiika mu Lungereza mu Uganda, n'akolayo okutuuka mu 2004. Yali akola mawulire Paalamenti.Okuva 2000 okutuuka mu 2001, ysomesaako ebyamawulire ku Islamic University in Uganda. Mu 2004, yava mu Daily Monitor okwegatta ku The Observer, ng'omusasi era nga nnannyini. Yaweebwa omulimu gw'okuwandiika ku byobufuzi mu Weekly Observer, n'akola omulimu guno okutuuka mu 2011. Mu 2009, yaweebwa omulimu omulala okuwandiikanga ku mawulire g'ebyenjigiriza. Mu 2011, yalekulira emirimu gye egy'amawulire okwesimbawo ku kifo ky'omubaka wa Kyaddondo County East. Yali ku kkaadi ya Forum for Democratic Change (FDC). Yawangula era ne mu kiseera kino akayaliko. Bwe twali tugenda mu kalulu k'omu Gwokubiri gwa 2016 aka Pulezidenti, obubaka bwa Paalamenti n'obululu bw'ebitundu, Munisipaali y'e Kira yaweebwa ekifo mu Paalamenti, ekyawukana ku Kyaddondo East. Ssemujju avuganya ku kifo ekyo ku kaadi ya FDC.[3]
Emirimu emirala
[kyusa | edit source]Mu Paalamenti, y'akulira akakiiko akakola ku bisuubizo bya gavumemti. Era mmemba ku kakiiko k'ebyokwerinda, ez'onga z'omunda mu ggwanga n'aka bizinensi.[4] Mufumbo ne Faridah Ssemujju, era wamu bazadde nga balina abaana abalenzi basatu n'abawala basatu.[5]
Ebijuliziddwa
[kyusa | edit source]- ↑ "Archive copy". Archived from the original on 2021-08-26. Retrieved 2021-08-26.
{{cite web}}
: CS1 maint: archived copy as title (link) - ↑ "Archive copy". Archived from the original on 2016-03-04. Retrieved 2021-08-26.
{{cite web}}
: CS1 maint: archived copy as title (link) - ↑ "Archive copy". Archived from the original on 2017-01-22. Retrieved 2021-08-26.
{{cite web}}
: CS1 maint: archived copy as title (link) - ↑ "Archive copy". Archived from the original on 2016-03-04. Retrieved 2021-08-26.
{{cite web}}
: CS1 maint: archived copy as title (link) - ↑ "Archive copy". Archived from the original on 2021-08-26. Retrieved 2021-08-26.
{{cite web}}
: CS1 maint: archived copy as title (link)