Imelda Namutebi

Bisangiddwa ku Wikipedia

Imelda Namutebi yazaalibwa mu 1970. Munayuganda omusumba era ye musumba omukulu owa Liberty Worship Centre, Lugala.

Ebyafaayo n'okusoma[kyusa | edit source]

Yazaalibwa kitaawe abagenzi omw. n'omuky. Rosemary Nakakawa mu Busujju Mawanda, Butambala mu masekkati ga Uganda mu kitundu kya Buganda era mwana wa kubiri ku baana babiri. Oluvannyuma lw'okuva mu ssomero mu kibiina eky'okutaano yagenda mu ssomero lya Bayibuli mu Kayanja Ministries.[1]

Emirimu gye[kyusa | edit source]

Nga 3 Ogwokutaano 2014, Pastor Imelda yaggulawo ekkanisa ey'obukadde bwa doola esangibwa mayiro 5 okuva mu Kampala, ekibuga ekikulu ekya Uganda. Ekkanisa erina ebifo ebisukka mu 15,000 ebituulwamu era yamalawo kumpi obuwumbi 7 nga yagizimba ku etudde ku yiika 17 era erina engeri gy'alabikamu mu bifo bingi, gamba ng'ebimuli ebirabika obulungi mu langi ez'enjawulo ez'ebimyufu, ebibumbe eby'ebika eby'enjawulo n'ebibajje ebirabika bulungi okuzaama.

Ebijuliziddwa[kyusa | edit source]

  1. Cite error: Invalid <ref> tag; no text was provided for refs named :0