Jump to content

Iryn Namubiru

Bisangiddwa ku Wikipedia
Iryn Namubiru at Record Fm

Irene Gladys Namubiru, era amanyikiddwa nga Iryn Namubiru,[1] (yazaalibwa nga 13 Ogwekkuminebiri 1981) Munnayuganda, omuyimbi w'ennyimba z'amaloboozi. Muyimbi w'amaloboozi ag'enjawulo omuli alto , Afro-pop.

Obuto bwe

[kyusa | edit source]

Namubiru yazaalibwa mu Massekkati ga Uganda era yasomera mu masomero gano wammanga:

Emirimu gye egy'okuyimba

[kyusa | edit source]

Okusinzira ku Namubiru, yalina okwagala eri okuyimba okuva mu buto bwe era yafuba nnyo okifuula eky'amaanyi mu bulamu bwe. Okugezaako kwe okw'avaamu obuwanguzi mu kisaawe ky'okuyimba kwatandikira mu 1995, bwe yasisinkagana n'omuyimbi DJs Ragga Dee ne Molar-Messe, ng'ekibiina ky'ebatuuma Da Hommies, ne "Joss Jjew" Mawejje ngs yskubs amapeesa,[2] nga yali ayambako mu kufulumya alubaamu omwali "Bamusakata", "Mukwano", ne "Mukyala tokaba" mu myaka gya 1995.[3] Oluyimba lwe olw'asooka "Learn to say good bye" n'alwo lw'alabikira ku alubaamu y'ekibiina. Oluvanyuma lw'ebyo, yalabikirako ku siteegi omulundi ogwasooka mu Gwomwenda 1995.[4]

Mu 1999, yegatta ku Kanyomozi, gwe yali yasomako naye ku Namasagali College, okukola ekibiina ky'abawala bokka ekiyimba enyimba ekika kya R&B nga kyatuumibwa I-Jay.[5] Okusinzira ku bya fulumizibwa aba Bryan Morel, Mu 2000, bafulumya alubaamu yaabwe eyasooka ng'eliko ennyimba 7 nga bagituuma "WAIT" nga yalimu ennyimba nga "Wait RMX (Ft Steve Jean)", "Not Good Enough", "Mwana", "Wait", "Emirimu", "Vivi LA Vi" and "Two To Make It True...", nga yazanyibwa ku mpewo za ladiyo ez'enjawulo mu Uganda.

Oluvanyuma nga bakafulumya alubaamu y'abwe, Namubiru yagenda mu Bufaransa era ekibiina n'ekisaanawo. Okwawukana kwabwe kwaleetawo ebigambo mbu bali bafunye obutakkaanya wabula bombi ba byegaana. Ngali mu Bufaransa, yakola ekibiina kyeyatuuma Afro-Soul nga kyalimu Nujeli ne Julien Grout era nebafulumya ENSI LP.

Mu 2006, Namubiru collaborated with singer Bebe Cool in the songs "Simbalala" and "Lwaki Onzannyilako?".

Iryn Namubiru.jpg

Kyokka Namubiru teyafuna ttutumu lya maanyi okutuusa mu 2006 lwe yafulumya olutambi olwa Nkuweeki?.[6] Okuva mu 2006, Namubiru yafulumya enyimba omwali "Y'ono", "Lwaki", "Bonna Obasinga", "Begombeko", "Birowoozo", nga ku zimu kwezo yazifunamu Awaadi okuva mu kisaawe ky'okuyimba mu Uganda.[7] Mu 2011, Namubiru yawangula mu biti bina mu mpaka za 2011 Pearl of Africa Music Awards (PAM). Yawangula eky'omuyimbi w'omwaka, omuyimbi omukyala ow'omwaka, alubaamu y'omwaka n'omuyimbi w'omwaka asinze mu nyimba ekika kya RnB.[8][9][10]

Obukuubagano

[kyusa | edit source]

Namubiru yayogerwako bangi olw'enyambala ye "etasaanidde" mu butambi bw'enyimba ze n'oluusi mu bivulu bye. Okusinzira ku bamuvumirira, bagamba enyambala ye ewakanya ennyambala ya Uganda ey'ennono era eleetawo eky'okulabirako ekitali kirungi eri a abo abasuubira okuyingira ekisaawe ky'okuyimba. Mu 2009, vidiyo ye eya "Bonna Obasinga" yayogelerwa bangi olw'akambalo akuwugirwamu k'eyayambala. Oluvanyuma Namubiru yakwata vidiyo endala ey'oluyimba okugezaako okukkakanya abogezi. Wabula bangi ku bawagizi be bamuwolereza "olw'obuyiiya" bwe mu nyambala era nga batwala abamuvimirira abatalina kumanya eri misono mippya.[11]

Ebimukwatako eby'omunda

[kyusa | edit source]

Namubiru yali mufumbo eri Frank Galusy Morel, omusajja Omufaransa era nga balina abaana babiri ab'obulenzi.[12] Ennimi omuli Olufaransa, Olungereza, n'Oluganda nga lwe lulimi lwe oluzaliranwa zonna azikuba budinda.[7] Abeera ne famire ye mu Bufaransa era nga abawagizi be abasinga bawangalira mu Uganda.

Iryn Namubiru i ye mutandiisi era akulira ekitongole ky'obwannanyini ekiyitibwa GATHER FOR CHILDREN ekisangibwa e Mityana, kye yatandiikwo mu 2006 okututumula n'okuwagira abakyalato/ bannakazadde b'eggwanga saako n'abawala abafuna embuto nga tebannetuuka saako n'okusomesa abaana abatesobola.[13][14] Ekitongole kino kiddukanyibwa ku yiika z'ettaka musanvu eza Namubiru.

Nga 24 Ogwekkuminogumu 2018 yasimatttuka akabenje ku Nnyanja Nnalubaale, eryato eryaliko abadigize bwe lyabbira ne litta abantu 33.[15]

Okukwatibwa kwe mu Japan

Nga 3 Ogwokutaano 2013,[16][17] Namubiru yakwatibwa mu kibuga Tokyo, ekya Japan nga avunanibwa ogw'okusangibwa n'ebiragalaragala ebitakkirizibwa.[18] Yali agenze mu Japan okuyimba ku kivvulu ekimu [19] naye n'akwatibwa ku kisaawe kya Tokyo ekya Narita International Airport nga tannaba kuyimba.[20] Sabiiti emu emabega nga tannakwatibwa, Namubiru yawanika ekiwandiko ku mukutu gwe nga bw'eyesunga okuyimbirako mu Japan.[21] Ekivulu kyali kyakubeerawo mu kifo ky'ebyobuwangwa ekya Yotsukaido Cultural Hall[22] mu kibuga kya Japan ekikulu, Tokyo.[20] Namubiru yasangibwa yetisse enjaga ekika kya ecstasy (3,4-methylenedioxy-N-methylamphetamine),[23] eyali okusikiddwa mu mugugu gwe.[24] Yagibwa mu kifo wakuumirwa abantu ku kisaawe n'atwalibwa ku poliii enkulu ey'omu Tokyo, ng'eno gye yaweera sitaatimenti ekwata ku kusangibwa n'enjaga MDMA, emanyikiddwa ennyo nga "ekintu ekireeta essanyu"; nga bino byonna yabyegaana.[25] Nga 24 Ogwokutaano 2013, mu kuwulira kwa Kkooti ya Japan, kyazuulibwa nti Namubiru teyalina musango.[26] Poliisi ya Japan yamugyako emisango gyonna egy'okukukusa enjaga era n'ateebwa.[27]

Awaadi z'eyafuna n'empaka z'eyetabamu

[kyusa | edit source]

Awaadi zeyafuna[28]

[kyusa | edit source]
  • Best Female Artist and Best R&B song at the PAM Awards 2006 .
  • Best Female artist Buzz magazine 2007.
  • Best Collaboration Diva Awards 2009.
  • Best Female Artist PAM AWARDS 2010.
  • Best Afro Single Diva Awards 2010.
  • Artist of the Year Diva Awards 2010.
  • Artist of the Year PAM AWARDS 2011.
  • Best female Artist PAM AWARDS 2011.
  • Best RnB Song PAM AWARDS 2011
  • Best Album PAM AWARDS 2011
  • Collaboration with “Happy Science” Japan on two songs. 2012

Empaka zeyavuganyamu

[kyusa | edit source]
  • 2013 HiPipo Music Awards - Best Band Song Ndeyreya[29]

Ebijuliziddwamu

[kyusa | edit source]
  1. https://kapopii.com/kapro.php?a=480
  2. "Archive copy". Archived from the original on 2013-10-17. Retrieved 2022-12-05.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  3. https://www.musicinafrica.net/directory/iryn-namubiru
  4. http://www.ugpulse.com/articles/daily/Entertainment.asp?about=Iryn+Namubiru%3A+Wants+to+be+Known+for+her+Humanitarian+Efforts&ID=668
  5. https://web.archive.org/web/20160304031754/http://www.musicuganda.com/iryne%20Namubiru.html
  6. http://www.newvision.co.ug/D/9/507/501820
  7. 7.0 7.1 https://flashugnews.com/irene-gladys-namubiru-biography-age-family-children-husband-music/ Cite error: Invalid <ref> tag; name "Uganda" defined multiple times with different content
  8. https://www.monitor.co.ug/uganda/news/national/iryn-namubiru-2011-pam-artiste-of-the-year--1502956
  9. "Archive copy". Archived from the original on 2021-05-21. Retrieved 2022-12-05.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  10. "Archive copy". Archived from the original on 2022-12-05. Retrieved 2022-12-05.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  11. http://www.newvision.co.ug/D/9/577/695636/Iryn%20Namubiru
  12. http://www.ugmuziki.com/artists/iryn-namubiru
  13. "Archive copy". Archived from the original on 2023-04-24. Retrieved 2023-06-24.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  14. https://www.showbizuganda.com/irene-celebrates-birthday-with-gather-for-children/
  15. https://web.archive.org/web/20181126145958/https://af.reuters.com/article/commoditiesNews/idAFL8N1Y11RY
  16. "Archive copy". Archived from the original on 2022-12-05. Retrieved 2022-12-05.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  17. http://ugandaonline.net/news/view/13967
  18. http://www.monitor.co.ug/News/National/Singer-Namubiru-s-managers-struggle-to-get-her-out-of-jail/-/688334/1851508/-/o0mggd/-/index.html
  19. http://www.redpepper.co.ug/iryn-namubiru-arrested-in-japan-over-drugs/
  20. 20.0 20.1 "Archive copy". Archived from the original on 2017-07-27. Retrieved 2022-12-05.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  21. "Archive copy". Archived from the original on 2017-07-27. Retrieved 2022-12-05.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  22. http://www.redpepper.co.ug/iryn-namubiru-arrested-in-japan-over-drugs/
  23. "Archive copy". Archived from the original on 2013-06-07. Retrieved 2022-12-05.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  24. http://www.newvision.co.ug/news/642755-iryn-namubiru-carried-ecstacy-police.html
  25. https://archive.today/20130706190433/http://investigator.co.ug/details.php?option=acat&a=561
  26. http://allafrica.com/stories/201305250230.html
  27. http://ugandaradionetwork.com/a/story.php?s=52797&PHPSESSID=13c9e1438eac23d673202329a1b41d83
  28. https://web.archive.org/web/20160329034114/http://www.aboutuganda.com/wpa_artist/irene-namubiru-iryn
  29. https://web.archive.org/web/20150626104220/http://www.hipipo.com/hma/news/481/List-Of-Nominees-For-The-1st-Hipipo-Music-Awards--hma--Released-


Lua error: Invalid configuration file.