James Wapakhabulo
James Francis Wambogo Wapakhabulo (yazaalibwa nga nga 23, Ogwokusatu 1945 n'afa nga 27 Ogwokusatu, 2004) Yali Munnayuganda era Munnabyabufuzi eyaweerezaako nga Minisita wa Uganda ow'ensonga z'ebweru okuva mu 2001 okutuuka mu 2004.
Obuvo bwe
[kyusa | edit source]Wapakhabulo amateeka yatandika okugasomera muUniversity of East Africa kati eyafuuka (University of Dar es Salaam). Okuva mu myaka gya 1960 okutuusa mu 1977, yakolako nga kiraaka era aomubazi w'amateeka mu kubangawo omukago gwa East African Community. Oluvannyuma mu mwaka gwe gumu, yagenda mu Papua New Guinea, mu kusooka nga munnamateeka omugundiivu mu kubaga amateeka ate oluvannyuma n'afuuka akulira abannamateeka. Yeeyongera okuweereza mu kifo ekyo okutuuka mu 1986.
Olugendo lw'ebyobufuzi
[kyusa | edit source]Wapakhabulo yeegatta u kibiina ekiri mu buyinza ekya National Resistance Movement. Mu kiseera ekyo yeesimbawo ku kifo ky'omubaka mu Paalamenti, wakati wa 1994 ne 1995 ye yali ssentebe wa Constituent Assembly. Mu 1996, yalondebwa okufuuka Sipiika wa Paalamenti, ekifo kye yalimu okutuusa mu 1998. Mu 1998, yalondebwa nga National Political Commissar in Uganda mu kiseera nga Uganda teriimu bibiina byabyabufuzi okutuusa mu 2001 we yafuukira omumyuka Owookubiri owa Ssaabaminisita wa Uganda era Minisita w'ensonga ez'ebweru. Yaweereza mu bifo bino byombi okutuusa mu ku kufa kwe.
Mu kiseera we yabeerera Minisita w'ensonga ez'ebweru, yayambako okukkakkanya akakuubagano wakati wa Uganda ne Rwanda n'okuzza obujja enkolagana n'amawanga nga Democratic Republic of the Congo, Burundi, ne Sudan.
Emirundi mingi nga tannafa, Wapakhabulo yawandiikira Pulezidenti (mukwano gwe okumala ebbanga) Yoweri Museveni, ng'awakanya eky'okuggyawo ekkomo ku bisanja. Yafiira mu maka ge e Bugolobi mu Kampala nga 27 Ogwokusatu, 2004. Yaziikibwa ku kyalo Mafudu, ekisangibwa mu Disitulikiti y'e Sironko ku Lwokutaano nga 2 Ogwokuna, 2004.[1][2]
Wapakhabulo yayagalwanga abantu bangi ku njuyi zombi ez'ebyobufuzi. Oluvannyuma lw'amawulire g'okufa kwe okusaasaana, eyali akulira ababaka bo'loludda oluvuganya Gavumenti mu Paalamenti, Aggrey Awori yagamba nti " omugenzi ye Sipiika asinga be yali alabye bukya abaawo". Bwe yafa, eyali Omumyuka wa Pulezidenti mu kiseera ekyo Gilbert Bukenya yateesa nti ekitundu kya Parliament Avenue ekiri mu Kampala kituumibwe Wapa Avenue olw'okujjukiranga Wapakhabulo.
Mu Gwoluberyeberye nga 2005, Pulezidenti Museveni yalonda Sam Kutesa, eyali Minisita omubeezi owa bamusigansimbi okusikira Wapakhabulo nga Minisita w'ensonga z'ebweru.[3]
Laba na Bino
[kyusa | edit source]Ebijuliziddwamu
[kyusa | edit source]- ↑ https://web.archive.org/web/20150402163501/http://business.highbeam.com/3548/article-1G1-114709075/wapa-burial-set-friday
- ↑ https://web.archive.org/web/20150402112904/http://www.newvision.co.ug/D/8/12/666948
- ↑ https://www.bbc.com/news/world-us-canada-27789108
Ebijulizo ebirala
[kyusa | edit source]Template:S-start Template:S-par Template:S-bef Template:S-ttl Template:S-aft Template:S-end