Janet Grace Akech Okori-Moe
Janet Grace Akech Okori-Moe (eyazaalibwa nga 3 Ogwomenda1966) munnayuganda, musomesa ate era munnamateeka.[1] Mu Gwokutaano 2020, Okori-Moe yafuuka omubaka omukyala akiikirira ddisitulikiti ya Abim mu lukiiko lw'eggwanga (Uganda) olw'ekkumi. Ku ludda lw'ebyobufuzi, Okori-Moe munnakibiina kya National Resistance Movement era nga kye yajjiramu mu kalulu ka 2016. [2]
Okusoma kwe
[kyusa | edit source]Okori-Moe yatuula ebibuuzo by'ekibiina eky'omusanvu (PLE) mu 1979 ku Abim Primary School. Yasomera ku Kangole Girls Senior Secondary School n'afuna Uganda Certificate of Education (UCE) mu 1983 n'oluvannyuma n'agenda ku Moroto High School gye yafunira Uganda Advanced Certificate of Education (UACE) mu 1986. Okori-Moe era alina ddipulooma mu busomesa gye yafunira ku Makerere University (mu1989) ne Advanced Diploma in Educational Planning and Management gye yafunira ku Kyambogo University (mu 1999).Mu 2000 yafuna ddiguli mu Social Sciences ku Makerere University n'oluvannyuma n'afuna Master of Science in Social Sector Planning and Management mu 2006.
Emirimu gy'akoze
[kyusa | edit source]Okori-Moe yasomesaako ku Moroto Teachers College (1992–1994) nga tannalondebwa kubeera mukiise ku kakiiko akaateekateeka ssemateeka wa Uganda (1994–1995). Yaweerezaako ng'omubaka mu lukiiko lw'eggwanga, 1996–2001 ne 2006–2011. Nga tannalondebwa mu kifo ky'aweerezaamu kaakano, yali muwabuzi wa ppulezidenti ku nsonga z'ebyenjigiriza (2013–2015).
Mu lukiiko lw'eggwanga olw'ekkumi, Okori-Moe ye ssentebe w'akakiiko akakwasaganya ensonga z'ebyobulimi, [3] ssentebe omubeezi w'akakiiko k'ensonga z'ebweru w'eggwanga mu lukiiko lw'eggwanga (Uganda) [4] ate era nga mmemba ku Appointments Committee.[5]
Laba ne
[kyusa | edit source]Emikutu emirala
[kyusa | edit source]Ebijulizo
[kyusa | edit source]- ↑ "Archive copy". Archived from the original on 2021-04-29. Retrieved 2021-04-04.
{{cite web}}
: CS1 maint: archived copy as title (link) - ↑ https://www.ec.or.ug/sites/default/files/docs/Gazette%20List%20Elected%20MPs%202016.pdf
- ↑ https://www.parliament.go.ug/news/3753/agriculture-committee-granted-time-handle-coffee-bill
- ↑ https://www.monitor.co.ug/News/National/Bobi-Wine-appointed-to-Presidential-Affairs-Committee-/688334-4011142-dy7q8z/index.html
- ↑ https://ugandaradionetwork.com/story/nrm-cec-approves-20-names-for-parliaments-appointments-committee