Jump to content

Jeninah Karungi

Bisangiddwa ku Wikipedia

 

Jeninah Karungi-Tumutegyereize Munnayuganda omukugu mu by'ensoma ye ttaka ne enkula y'ebimera( agronomist) asinga okukola ku biwuka ebireeta endwadde mu by'obulimi (agricultural entomology) n'enkugira y’ebiwuka ebireeta obulwadde (integrated pest management). Mukenkufu mu Yunivasitte y'eMakerere era mmemba wa Uganda National Academy of Sciences.

Ebimukwatako

[kyusa | edit source]

Jeninah Karungi-Tumutegyereize yamala omwaka mu pulogulaamu y'ebweru mu Wye College (1997-1998) nga akola satifikeeti ye mu misomo jye ttaka ne enkula y'ebimera (agronomy),[1] era n'afuna diguli ye eya BSc mu by'obulimi mu mwaka gwa 1997 ne diguli ye eya MSc mu sayansi w'ebimera me mwaka gwa 1999 ku Yunivasitte y'eMakerere, nga tanafuna PhD mu by'obulimi mu mwaka gwa 2007 nga ekitundu kya joint programme ne Makerere ne Yunivasitte ya Swedish University of Agricultural Sciences.[2][1] Oluvanyuma, yatandika okusomesa ku Makerere University School of Agricultural Sciences' Crop Science Unit nga Lecturer okuva 2007 okutuusa lwe yayambusibwa ku ddaala ly'omukenkufu (Associate Professor) mu 2014, nayingira ku tendekero ly'ebyobulimi ne Sayansi w'Obuwangaaliro.[1] Yakola okukyaala kwe okwa 2012 TWAS-DFG Cooperation Visit mu Yunivasitte ye Giessen.[3]

Nga omusomi, asinga kukola ku biwuka ebireeta endwadde mu by'obulimi n'enkugira y’ebiwuka ebireeta obulwadde.[4][3] Yawangula engule ya 2009 International Integrated Pest Management Excellence Award.[3]

Yali mmemba wa TWAS Sub-Saharan Africa Regional Partner Young Affiliate Alumnus okuva mu mwaka gwa 2010 okutuusa 2014.[5] Yalondebwa nga mmemba wa Uganda National Academy of Sciences mu mwaka gwa 2014.[2] Mmemba omujuvu w'ekitongole kya Organization for Women in Science for the Developing World,[3] era yali mmemba omutandisi owa Uganda National Young Academy.[4]

Karungi n'omwami we balina abaana bana.[4]

Ebijuliziddwa

[kyusa | edit source]
  1. 1.0 1.1 1.2 https://ug.linkedin.com/in/jeninah-karungi-46b73119
  2. 2.0 2.1 https://unas.org.ug/unas-fellows/ Cite error: Invalid <ref> tag; name "UNAS" defined multiple times with different content
  3. 3.0 3.1 3.2 3.3 https://owsd.net/member/karungi-tumutegyereize-jeninah-7 Cite error: Invalid <ref> tag; name "owsd" defined multiple times with different content
  4. 4.0 4.1 4.2 https://africanscientists.africa/business-directory/karungi/ Cite error: Invalid <ref> tag; name "africanscientists" defined multiple times with different content
  5. https://twas.org/directory/karungi-tumutegyereize-jeninah