Jim Muhwezi

Meeja Genero (eyawummula)Jim Muhwezi Katugugu (yazaalibwa nga 23 Ogwomunaana 1950) Munnayuganda, nga munnamateeka, munnabyabufuzi, era munnamagye eyawummula. Yakola nga Minisita w'ebyokwerinda mu Kabineeti ya Uganda okuva nga 8 Ogwomusanvu, 2021.[1][2]
Okuva mu Gwokusatu 2015 okutuuka mu Gwokutaano 2016, yaweerazaako nga Minista w'ebyamawulire n'okulungamya eggwanga. Yalondebwa mu kifo ekyo mu nkyukakyuka ezaakolebwa nga 1 Ogwokusatu 2015,[3] ng'adda mu bigere bya Rose Namayanja, eyaggyibwa mu Kabineeti.[4]
Era ye Mubaka mu Paalamenti akiikirira Essaza ly'e Rujumbura , Rukungiri Disitulikiti. Yafuna ekifo kino mu 2021, oluvannyuma lw'okuva mu kifo kino okumala emyaka etaano, wakati wa 2016 ne 2021.[5] Mu Gwokutaano 2026, yalondebwa ku bwa Minisita mu Ofiisi ya Pulezidenti ku nsonga z'ebyokwerinda.[6]
Obuvo n'okusoma
[kyusa | kolera mu edit source]Yazaalibwa mu Disitulikiti y'e Rukungiri nga 23 Ogwomunaana 1950. Jim Muhwezi alina Diguli mu mateeka, okuva ku ssettendekero wa Makerere , Ssettendekero ya gavumenti esinga obukulu mu Uganda. Era yafuna okutendekebwa okuva ku Senior Military Police and Security Intelligence Training mu Tanzania n'eyali mu kibiina kya Soviet Union. Mu Gwomusanvu 2009, Law Development Center mu Kampala yamuwa Dipuloma okuteekesa amateeka mu nkola, ekisaanyizo ekyamuwa layisinsi okukwasaganya eby'amateeka mu ggwanga.[7]
Obumanyirivu
[kyusa | kolera mu edit source]Mu myaka gya 1970 Jim Muhwezi yakolako ng'omupoliisi mu kitongole kya Uganda Police Force. Y'omu ku beetaba mu lutalo lwa (1981–1986) olwaleeta National Resistance Movement mu buyinza. Oluvannyuma lw'olutalo, yaweerezaako nga mmemba ku National Resistance Council (NRC) okuva mu 1986 okutuuka mu 1996. Mu kiseera kya kimu, yali akola nga ssenkulu wa Internal Security Organisation (ISO). Ng'akulira ISO, Muhwezi agambibwa okulongoosa ekifaananyi kya Poliisi. Mu kisanja kye eky'emyaka ekkumi ku kitongole, tewaali kwemulugunya kwavaayo ku kutulugunya mu kitongole.[8] Wakati wa 1994 ne 1995, yaweereza nga Mmemba mu kakiiko abaabaga Ssemateeka wa Uganda owa 1995. Okuva mu 1996 okutuuka mu 1998, Jim Muhwezi yaweerezaako nga minisita w/ebyenjigiriza ebyawansi. Yalondebwa nga minisita w'ebyobulamu mu 2001, n'aweereza mu kifo ekyo okutuuka mu 2006.[9]
Ebimukwatako ng'omuntu
[kyusa | kolera mu edit source]Jim Muhwezi Katugugu mufumbo ne Susan Muhwezi, muto wa nnaggagga Bob Kabonero ne ambasada Richard Kabonero. Alina abaana musanvu. agambibwa okwagala okusoma n'okuzannya ggoofu.
Emirimu gya Paalamenti
[kyusa | kolera mu edit source]Yali Mmemba ku kakiiko ka Paalamenti akakola ku by'okuzimba.
Laba ne
[kyusa | kolera mu edit source]Emirimu
[kyusa | kolera mu edit source]Mu myaka gya 1970, Jim Muhwezi yakolako ng'owamaggye mu Uganda Police Force . Yali omu ku balwanyi mu lutalo (okuva1981–1986) olwaleeta ekibiina kya National Resistance Movement mu buyinza. Oluvannyuma lw’olutalo, yaweerezaako nga mmemba w’olukiiko lwa National Resistance Council (NRC) okuva mu mwaka gwa 1986 okutuuka mu gwa 1996. Mu kiseera kye kimu, yaweerezaako nga Dayirekita Omukulu eyasooka ow’ekitongole ky’ebyokwerinda eby’omunda (ISO). Ng’akulira ISO, Muhwezi amanyiddwa nnyo olw’okuyonja erinnya n’ekifaananyi ky’ekitongole kya poliisi y’ebyokwerinda. Mu myaka kkumi gy’amaze mu kitongole kino, tewali bigambibwa nti waliwookutulugunyizibwa mu kitongole kino. [10] Wakati w'omwaka gwa 1994 nogwa 1995, yaweereza nga mmemba mu lukiiko lwa Ssemateeka olwakola owa Uganda mu mwaka gwa1995. Okuva mu mwaka gwa 1996 okutuuka mu gwa 1998, Jim Muhwezi yaweereza nga Minisita w’eggwanga avunaanyizibwa ku by’enjigiriza ebya pulayimale. Yalondebwa okuba Minisita w’ebyobulamu mu mwaka gwa 2001, n’aweereza mu kifo ekyo okutuusa mu 2006. [11]
Ebijuliziddwa
[kyusa | kolera mu edit source]- ↑ https://www.newvision.co.ug/articledetails/105796
- ↑ Daily Monitor (8 June 2021). "Full cabinet list: Jessica Alupo New Vice President". Daily Monitor. Kampala. Retrieved 20 July 2021.
- ↑ "Archive copy" (PDF). Archived from the original (PDF) on 2017-07-09. Retrieved 2021-08-23.
{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link) - ↑ https://www.monitor.co.ug/News/National/-regions--shared---Cabinet--positions/-/688334/2640626/-/ma61sqz/-/index.html
- ↑ Parliament of Uganda (2011). "Profile of Major General Muhwezi Jim Katugugu - Member of Parliament for Rujumbura County, Rukungiri District". Parliament of Uganda. Archived from the original on 27 May 2016. Retrieved 5 February 2015.
- ↑ "Museveni unveils new Cabinet, retains Nabbanja, Alupo and Janet in key reshuffle". Monitor. 2026-05-26. Retrieved 2026-06-10.
- ↑ https://web.archive.org/web/20160527141255/http://www.parliament.go.ug/new/index.php/members-of-parliament/members-of-parliament
- ↑ https://en.wikipedia.org/wiki/Jim_Muhwezi#cite_note-Survivor-7
- ↑ https://web.archive.org/web/20160527141255/http://www.parliament.go.ug/new/index.php/members-of-parliament/members-of-parliament
- ↑ "Jim Muhwezi, The Survivor". 21 September 2005. Archived from the original on 6 February 2015. Retrieved 5 February 2015.
- ↑ Parliament of Uganda (2011). "Profile of Major General Muhwezi Jim Katugugu - Member of Parliament for Rujumbura County, Rukungiri District". Parliament of Uganda. Archived from the original on 27 May 2016. Retrieved 5 February 2015.