Joel Ssenyonyi
Joel Besekezi Ssenyonyi, yazaalibwa 20 Ogwekumineebiri mu 1986 nga munamawulire omunayuganda era mu nabyabufuzi. Ye mubaka wa Paalamenti owa konsitituweensi y'e Nakawa ey'Oubugwanjuba mu Kampala Kampala[1][2][3] era akulira abavuganya gavumenti mu Paalamenti ya Uganda,ekifo ekyalimu mubaka mune Mathias Mpuga Nsamba.[4] Awereza ng'omwogezi w'ekibiina ky'eby'obufuzi ekya National Unity Platform.[3]
Ebyobufuzi
[kyusa | edit source]Ssenyonyi yalondebwa ng'omubaka wa Paalamenti eyali agenda okukiikirira NUP ku kifo kya Nakawa Eyobugwanjuba mu kalulu ka bonna aka Uganda mu 2021 .[5] Yawangula ekifo kino oluvannyuma lw'okusinga eyali agidde mu kibiina kya National Resistance Movement Margret Zziwa Nantongo.[1][2]
Yalondebwa okubeera omukulembezze w'abavuganya gavumenti mu Paalamenti nga 22 Ogwekuineebiri 2023,[6] n'akwasibwa ofiisi nga 9 Ogusooka mu 2024.[7]
Obulamu bwe
[kyusa | edit source]Joel Ssenyonyi mufumbo nga mukyala we ye Febress Nagawa. Ababiri bano baagatibwa mu 2020, nga balina abaana babbiri okuli omuwala n'omulenzi.[8][9]
Ebijuliriziddwamu
[kyusa | edit source]- ↑ 1.0 1.1 https://www.tuko.co.ke/399970-uganda-elections-journalists-joel-ssenyonyi-agnes-nandutu-3-elected-parliament.html
- ↑ 2.0 2.1 https://www.theafricareport.com/59593/uganda-elections-museveni-wins-bobi-wine-the-new-power-in-parliament/
- ↑ 3.0 3.1 https://www.monitor.co.ug/uganda/news/national/nup-begins-search-for-leader-of-opposition-in-parliament-3271030
- ↑ https://www.independent.co.ug/bobi-wine-drops-mpuuga-names-joel-ssenyonyi-as-lop/
- ↑ https://www.independent.co.ug/ssenyonyi-zziwa-nominated-for-nakawa-west-mp-seat/
- ↑ https://www.independent.co.ug/bobi-wine-drops-mpuuga-names-joel-ssenyonyi-as-lop/
- ↑ https://www.monitor.co.ug/uganda/news/national/i-ll-engage-higher-gear-as-lop-says-ssenyonyi--4487584
- ↑ https://observer.ug/lifestyle/65485-joel-ssenyonyi-weds-febress-nagawa
- ↑ http://mbu.ug/2023/11/20/joel-ssenyonyi-welcomes-baby-hezekiah/