John Ssebaana Kizito

Bisangiddwa ku Wikipedia

  John Ssebaana Kizito (12 Ogwomwenda 1934[1] - 3 Ogwomusanvu 2017) yali munnayuganda omusuubuzi, omukugu mu nsonga z'ebyenfuna era munnabyabufuzi. Yali Pulezidenti w'ekibiina kya Democratic Party (DP) mu Uganda okuva mu 2005 okutuusa 2010. Kizito yali mmemba mu kakiiko ka Yunivasite aka Ndejje University. Ky'awandikibwa nti yali omu ku bantu abaali basinga obugagga mu Uganda, nga alina emizigo egiwerako mu esiteeti ne Insuwalensi.[2]

Ebimukwatako n'emisomo gye[kyusa | edit source]

Ssebaana yazaalibwa u kyalo ky'e Mpande, Disitulikiti ye Luweero, mukitundu kya Uganda eky'oumasekkati nga 12 Ogwomwenda 1934. Yasomera ku Kings College Budo era n'atikkirwa ku ssetendekero wa Makerere University. Mu 1960, yatikkirwa Diguli ey'okusatu eya Master of Arts u ssomo ly'okubaliriraokuva mu Yunivasite ya University of Oregon uu Eugene, Oregon mu ggwanga lya U.S.

Emirimu gye egy'obyobufuzi[kyusa | edit source]

Kizito emirimu gye egy'ebyobufuzi gyatandiika nga Uganda tennafuna ggwanga ly'etongodde. Yali mukozi wa Gavumenti era munnabyabufuzi mu byafaayo bya Uganda mu Gavumenti z'abakulembeze abatulugunyanga abantu ab'enjawulo, omwali Idi Amin, Milton Obote, ne mu Gavumenti ya PulezidentiYoweri Museveni mu kisinde kya National Resistance Movement.

Mu 1960, yawereza nga omukulebeze w'ekibiina. Oluvanyuma lw'okudda okuva mu U.S. mu Gwekkumi 1962, yafuuka Omukulebeze w'enkulakulana mu kibiina kya Uganda Development Corporation, kampuni eyali ekwasaganya Bizinensi ezali eza Gavumenti.[3]

Oluvanyuma lw'amefuga, yali mmemba mu Paalamenta ya East Africa, ettabi ery'omukago gwa East Africa, okuva mu 1967 okutuusa 1977. Okuva mu 1977 okutuusa 1980, yaweereza nga ssentebe wa National Insurance Corporation. Mu 1980, yalondebwa ng'omubaka mu Paalamenti akiikirira Konsitiwensi y'obukiikaddya bwa Kampala nga yawangula n'obululu 90 ku kikumi. Yali Minisita ow'ensonga z'ebweru ow'ekisiikirize wakati wa 1981 okutuusa 1985 era yakola nga omukulebeze w'ebibiina ebiwakanya Gavumenti mu 1983.

Yaweereza nga Minisita ow'ebyekittunzi okuva mu 1985 okutuusa mu 1987, Minisita ow'obyokuzimba n'enkulakulana okuva mu 1989 okutuusa mu 1991.

Yali mmemba mu kakiiko akataputa Ssemateeka ak'awandiika Ssemateeka wa Uganda owa 1995, nga akiikirira konsitituwensi y'eBuvanjuba bwa Makindye. Okuva mu 1994 okutuusa 1995, yaweereza nga Sentebe w'akakiiko akasunsula ab'essimbyewo okulondebwa.

Wakati wa 1998 ne 2006, yalondebwa emirundi ebiri nga Mmeeya wa Kampala, ekibuga kya Uganda ekikulu, nga y'adda mu bigere bya Nasser Sebaggala mu 1999 ate era n'asikizibwa Sebaggala mu 2006.

Kizito yali mukwasi wa bbendera y'ekibiina kya Democratic Party wabula yawangulwa mu kalulu k'obwa Pulezidenti aka 2006.[4]

Bye yakola mu kisaawe kya Bizinensi[kyusa | edit source]

Mu 1982, John Ssebaana Kizito, wamu ne mukozi munne, Joseph William Kiwanuka, batandikawo Kampuni ya insuwalensi eyasooka mu Uganda nga teddukanyizibwa Gavumenti eya, Statewide Insurance Company (SWICO), nga Ssebaana yakola nga Sentebe w'akakiiko akaddukanya ne Kiwanuka ng'aweereza nga Maneja ow'okuntikko.[5][6]

Ebikwata ku kufa kwe[kyusa | edit source]

Ssebaana yafa nga 3 Ogwomusanvu 2017 mu Ddwaliro lya Nakasero Hospital, mu Kampala, gyeyatwalibwa wiiki bbiri oluvanyuma lw'okusanyalala.[7]

Laba na bino[kyusa | edit source]


Ebijuliziddwamu[kyusa | edit source]

Ebijuliziddwamu eby'ebweru wa Wikipediya[kyusa | edit source]

Template:S-start Template:Succession box Template:S-endTemplate:S-start Template:Succession box Template:S-end