John Ssenseko Kulubya

Bisangiddwa ku Wikipedia


John Ssenseko Kulubya (1934/1935 - 27 Muwakanya 2019), yali Yinginiya, omusuubuzi era munna byabufuzi mu Uganda.

Obuzaale n'okusoma[kyusa | edit source]

Yazaalibwa omugenzi Sserwano Ssenseko Wofunira Kulubya(CBE) ,omuduggavu eyasooka okubeera Meeya wa Kampala mu myaka 1959 -1961 n'omugenzi Uniya Namutebi. Yazaalibwa mu Uganda mu mwaka 1935 wewaawo ebiwaniiko ebimu biraga 1934He was born in Uganda circa 1935 (1934 according to other sources). Yasomera Budo Junior School , Kings College Budo ne Makerere College gyeyava okwegatta ku Kampala Technical School (kati erimanyiddwa nga Kyambogo Technical Institute) . Yavaayo mu 1952 nga yakugukira mu bwamakanika bwa motoka. Okwo kweyagatta okutendekebwa mu bwa yinginiya.

Ebyobugagga[kyusa | edit source]

Kulubya yalina obwanannyini ku bizimbe bingi mu Kampala nemiliraano. Yali musajja mutaka.

Ebyobufuzi[kyusa | edit source]

Yeesimbawo ku kifo kyo bwa Meeya w'eKampala mu 2006 yadde nga teyawangula.