Jump to content

Jowaash Mayanja Nkangi

Bisangiddwa ku Wikipedia

 

Jehoash Ssibakyalyawo Mayanja Nkangi oba Joash Mayanja Nkangi (22 ogw'omunaana 1932 – 6 ogw'okusatu 2017)[1] yali mu munnamateeka, omukozi wa gavumenti ,era munnabyabufuzi omunayuganda .[2][3] Mu biseera w'eyafiira ye yali ssentebe eyali atuukirwako ku mwanjo ku kakiiko k'ettaka . Yali yaweerezaako nga minisita mu minisitule eziwerako ku bukiiko bwa bakugu Uganda .[1][4]

Okuva 1962 okutuuka 1993, Mayanja Nkanji yaweereza nga "Katikkiro" (prime minister) wansi wa Sir Edward Muteesa II, Kabaka wa Buganda, eyafuga okuva 1939 okutuusa 1969.Mu 1993, Obwakabaka bwa Buganda bwali budizibwawo , yali wankizo mu kubteekawo obwakabaka obuliwo leero obukulemberwa , Ronald Muwenda Mutebi II.[5][6]

Ebimukwatako n'obuyigirize

[kyusa | edit source]

Yazaalibwa nga 22 ogw'omunaana 1932 omwami Isaya Sibakyalwayo n'omukyala Yozefina Nantale mu eyali disitulikiti y'e Masaka ebiseera ebyo , wabula nga kati eri kitundu ku disitulikiti y'e Kalungu eri abazadde, Isaya Sibakyalwayo ne Yozefina Nantale.[2][3][7][1][4] Yasomera Kaabungo Masaka Primary School okuva 1937 okutuuka 1946, Kako Junior School okuva 1944 okutuuka 1946,ne King's College Budo mu ssomero lya sekendule okuva 1947 okutuuka 1949.[2] Mu 1950, Yeegatta ku Makerere University, nadda ku constituent college of the University of London, natikkirwa ne Bachelor of Arts mu 1953.[1][4]

Mu 1954, yaweebwa ekifo ku Keble College , Oxford ku sikaala era nafuna diguli eyookubiri Master of Arts in politics, philosophy and economics mu 1960.Era yaweebwa satifukeeti nga omuwolereza oluvannyuma lwokwegezaangamu ku Lincoln's Inn of Courts mu United Kingdom.[2][8]

Obuto bwe

[kyusa | edit source]

Ng'ali ku Oxford, Nkangi yasoma amateeka ku Lincoln's Inn of Courts mu London, olwo nakomawo mu Uganda mu 1960 gye yagezesezanga amateeka ge. Yegatta mu by'obufuzi by'ameefuga ga Uganda . Yakola ekibiina ky'ebyobufuzi kye yayita "United Party"; oluvannyuma ekyayitibwa "United National Party" (UNP). Mu 1962, yasuulawo UNP ne yeegatta ku Kibiina ky'eby'obufuzi ki Kabaka Yekka (KY) . Yalondebwa okukiikirira Masaka East Constituency mu Palamenti ya Uganda , mu gw'okutaano 1962. Ameefuga ga 9 Octoba 1962, Nkangi yaweereza nga minisita mu minisitule y'eby'ensimbi . Era nga minisita w'eby'obusuubuzi n'amakolero . Nga 17 ogw'omunaana 1964, Nkangi, ku myaka 33 era omuwuulu yalondebwa Lukiiko okuba Katikkiro .[8] Okutunulako emabega ,Nkangi agamba entandika ye enzikakkamu oba olyawo y'eyamutuusa awo ." Kabaka yali tammanyi ng'omuntu ."[8]

Obuzibubwatandiika mu ntandiikwa ya 1966. Nga 15 ogw'okuna 1966, Ssemateeka wa Uganda owa 1962 yaggyibwawo wakati mu lutuula lwa palamenti Milton Obote, eyali ssabaminisita nga yeetoloddwa ba amagye ga Uganda . lukiiko lwa Buganda (parliament) yateesa okuggya Buganda ku gavumenti eyawakati; Ne balangirira Buganda okwekutula mu Uganda .Okwali okuddibwamu , Obote yalagira Idi Amin, eyali omuduumizi w'eggye ebiseera ebyo okulumba olubiri e Mengo. Obulumbaganyi bwajja nga 24 ogw'okutaano 1966. Muteesa ne Nkangi bombiriri ne bagenda mu United Kingdom. Nkangi yayita Nairobi, mu Kenya. Mu 1967, Obote yawera Obwakabakaera nassaawo ssemateeka omuggya .[1][4][8]

Obuwanganguse

[kyusa | edit source]

Ng'ali mu buwanganguse ,yasobola okufuna omulimu nga omunoonyereza mu yunivasite ya Lancaster .[1][4][8] Ng'akyali eyo yasobola okwerabirako ku bbaluwa ya Kabaka gye yawandiika olw'okwagala kwe mutabani we Ronald Muwenda Mutebi okulya namulondo. Muteesa bwe yakisa omukono nga 21 Novemba 1969, Mayanja Nkangi, mu kiti kye nga Katikkiro, ye yamubika , nga akalombolombo bwe kali. Yakomawo mu Uganda mu gwookuna okukola entegeka wamu n'okuba kalabalaba w'okulumbe lwa Kabaka mu gw'okuna 1971.[9]

Oluvannyuma lw'obuwanganguse

[kyusa | edit source]

Oluvannyuma lw'okusuula gavumenti ya Obote I mu 1971, Nkangi yakomawo mu Uganda naggulawo buggya okukola amateeka . Wadde Amin yamukettanga , yamala namwesonyiwa oluvannyuma lw'okukizuula nti Nkangi teyalina nteekateeka zonna ezinyoomola gavumenti ye.[8] Gavumenti ya Idi Amin bwe yasuulibwa mu 1979, Nkangi nakola Conservative Party (Uganda).[1][4][8]

Gavumenti ya Obote II (1980 - 1985) bwe yasuulwa bnnamagye nga bakulembeddwamu Tito Okello Lutwa, Nkangi yalondebwa nga minisita w'abakozi era nakola mu kifo ekyo okuva mu gwomusanvu 1985 okutuuka mu mwezi ogusooka 1986.[8]

Mu bukulembeze bwa National Resistance Movement obukulemberwa Yoweri Museveni, Nkangi yaweereza nga minisita w'ebyenjigiriza , minisita w'enteekateeka , minisita w'ebyenfuna ne minisita w'amateeka n'obwenkanya . Obuweereza bwe mu gavumenti ya Museveni bwava mu 1986 okutuusa 2001. Oluvannyuma lw'okuwummula emirimu gya gavumenti , yalondebwa okubeera ssentebe w'akakiiko k'ettaka era yaweereza mu kiti ekyo okuva mu 2002 okutuuka 2012.

Mu 2010, yalondebwa okubeera ssentebe w'akakiiko k'ettaka , ke yakulira okuva mu 2010 okutuuka mu 2013. Mu myaka egyaddirira , gyewandiikako ekitabo kyeyatuuma "Out of Empire into Servitude."[2]

Other considerations

[kyusa | edit source]

Mu biseera bye nga minisita w'ebyenjigiriza (1986 - 1989), yalondoola emirimu mu kutondawo kwa yunivasite ya Kyambogo . Bwe yali aweereza nga minisita w'enteekateeka (1989 - 1992), yalambula okutondawo kwa Uganda Investment Authority.

Yafa nga 6 Ogw'okusatu 2017 mu ddwaliro ly'e Nakasero Gye yali ajjanjabibwa okuva mu gw'okubiri 2017, ku myaka 85.[7] Ekyamuviirako okufa bwe bulwadde bwa pneumonia.[10] Yaziikibwa nga 10 Ogwookusatu 2017 ku kiggya kya bajjaaja be mu disitulikiti y'eKalungu . Abamu ku bamukungubagira mwalimu eyali omumyuka wa pulezidenti Edward Ssekandi, Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga, ababaka ba palamenti n'abakulembeze b'eddiini.[11]

Na bino birabe

[kyusa | edit source]

 

Ebijuliziddwamu

[kyusa | edit source]
  1. 1.0 1.1 1.2 1.3 1.4 1.5 1.6 UFSLMW (6 March 2017). Cite error: Invalid <ref> tag; name "Mem" defined multiple times with different content
  2. 2.0 2.1 2.2 2.3 2.4 NTV Uganda (7 March 2017).
  3. 3.0 3.1 Ssenyonga, Andrew (6 March 2017).
  4. 4.0 4.1 4.2 4.3 4.4 4.5 Ssenyonga, Andrew (6 March 2017).
  5. http://www.monitor.co.ug/SpecialReports/1993-Coronation--journey-that-dates-back-to-1956/688342-1934982-8xka8uz/index.html
  6. http://www.monitor.co.ug/SpecialReports/1993-Coronation--journey-that-dates-back-to-1956/688342-1934982-8xka8uz/index.html
  7. 7.0 7.1 Parliament of Uganda (10 March 2017).
  8. 8.0 8.1 8.2 8.3 8.4 8.5 8.6 8.7 Natukunda, Carol (6 March 2017).
  9. Nampewo, Angela (13 April 2015). "60 years in the life of a Kabaka".
  10. Tusingwire, Serestino (6 March 2017).
  11. Mubiru, Apollo (10 March 2017).