Joy Lehai Kanyarutokye

Bisangiddwa ku Wikipedia

Joy Lehai Kanyarutokye (yazaalibwa mu mwaka gwa 1946[1][2]) ye yali omunnayuganda omukyala eyasooka okwambala engule yo bwa Nalulungi wa Uganda ne bazadde be bombi banayuganda nga 28 October 1968.[1][3][4]

Obulamu bwe n'emisomo[kyusa | edit source]

Lehai yali muwala wa Dr. Norman Kanyarutokye era ye yali omuwala omukulu mu baana bataano.[1]

Yatikibbwa okuva mu Yunivasitte ya Makerere ne diguli ya Bachelor of Arts mu mwaka gwa 1970.[5][1]

Yafumbirwa Dr. Festo Higiro nga 6 Ogwomukaaga mu mwaka gwa 1970 mu kanisa ya All Saints Church mu Nakasero naye oluvanyuma ne bayawukana[1] Yali jajja wa Sharon O eyali omuzinyi mu kibiina kyamazina ekya Obsessions dance group.[1]

Emirimu[kyusa | edit source]

Yatikibwa engule y'Obwanalulungi wa Uganda ey'omwaka gwa 1968 nga 29 Mugwekumi 1968 ku Sheraton Hotel mu Kampala nga alina emyaka abiri mu ebiri (22).[1][2] Yali awera obuzito bwa 111 lbs (okutebereza kilo ataano) n'obuwanvu bwe bwali fuuti 5 ne Yinchi 4.[1] Nga14 Okwekuminogumu 1968, Lehai yavugannya mu London mu mpaka z'ensi zonna eza 1968 Miss World beauty content nga akikirira Uganda ku Lyceum Theatre.[1]

Laba ne[kyusa | edit source]

  1. Miss Uganda
  2. Stella Nantumbwe

Ebijuliziddwa[kyusa | edit source]

  1. 1.0 1.1 1.2 1.3 1.4 1.5 1.6 1.7 1.8 https://www.newvision.co.ug/articledetails/1516439
  2. 2.0 2.1 https://rodriguezmatute.home.blog/2020/02/11/miss-world-1968/
  3. https://www.newvision.co.ug/articledetails/1508229
  4. https://thepearlmagazine.com/hannah-karema-crowned-miss-uganda-2023-2024/
  5. "Archive copy" (PDF). Archived from the original (PDF) on 2023-04-09. Retrieved 2024-04-03.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)

Ebijuliziddwa wabweru wa wikipediya[kyusa | edit source]

  1. Miss Uganda Website

Template:S-start

Template:S-ach Template:S-bef Template:S-ttl Template:S-aft Template:S-end