Miss Uganda

Bisangiddwa ku Wikipedia

Miss Uganda oba Miss Uganda World muzannyo gw'obwanalulungi mu ggwanga Uganda.

Ebyafaayo[kyusa | edit source]

Empaka za Miss Uganda zaatandika mu 1967, omuwanguzi nga yeetaba mu mpaka za Miss World, wadde nga alina Miss Uganda omu yekka okutuuka ku fayinolo okuva lwe zaatandikibwawo. Minisitule y'ebyobulimi eragira Nalulungi wa Uganda n'ekigendererwa eky'okwongera okwagazisa abavubuka mu by'obulimi.

Mu 2014, Salim Saleh yalangirira mu lujjudde enkolagana wakati wa Miss Uganda Foundation, abategesi b'empaka z'omwaka, ne pulogulaamu ya Wealth Creation Saleh gy'akulira. Saleh yagamba nti, "Tuli kumpi okuteeka omukono ku ndagaano y'okutegeeragana ne Miss Uganda Foundation kubanga twagala okulonda Miss Uganda addako nga tusinziira ku by'obulimi era kino kigendereddwamu okusikiriza abavubuka mu kitongole kino.

Abalina ebitiibwa[kyusa | edit source]