Joyce Kavuma
Joyce Kavuma, Munnayuganda owebyamateeka era omulamuzi ku Kooti ya Uganda. Pulezidenti Yoweri Museveni yeyamuyingiza ku kooti eyo, nga 8 omwezi Ogwokubiri 2018.[1]
Ebimukwatako n'emisomo
[kyusa | edit source]Joyce Kavuma yazaalibwa nga 18 Ogwomwenda mu mwaka gwa 1974. Nga amaliriza okusomera pulayimale mu masomero ga bulijjo, Yayingizibwa ku Mount Saint Mary's College Namagunga, eyo gyeyafunira emisomo gye ejya O-Level and A-Level .[2]
Bamutikira okuva ku Faculty of yeby'amateeka eya Yunivasitte y'eMakerere, Yunivasitte ya Gavumenti esinga obukulu n'obunene mu Uganda, ne diguli yamateeka, mu mwaka gwa 1997. Omwaaka ogwaddako, Bamutikila a Dipulooma mu kuteeka mukola amateeka(Diploma in Legal Practice) eyava mu Law Development Centre mu Kampala, ekibuga kya Uganda ekikulu. Alina diguli y'Obukugu mu byamateeka, ekwaata enyo ku International Business, eyamuweebwa Uganda Christian University, mu Mukono. Ela alina diguli y'obukugu mu kudukanya (Master's degree in Management), gyeyafuna okuva mu Uganda Management Institute, mu Kampala.[2]
Emirimu
[kyusa | edit source]Kavuma yatandika emirimu gye mu mwaka gwa 1999, nga offiisa wa mateeka mu ya office the Legal Aid Clinic eri ku Law Development Center. Omwaaka ogwaddako, yalondebwa nga Magistrate Grade One, era nebamukwaasa kkooti ya Buganda Road, mu Kampala.[2]
Bamutambuza okwetooloola egwanga, nga awereza mu Mubende, ne Mukono. Mu mwaka gwa2005, yalondebwa nga omumyuka wokulusegere owa omugenzi Laeticia Mukasa Kikonyogo (1940 - 2017), mukiseera ekyo eyali Omumyuuka wa ssabalamuzi wa Uganda, eyaweereza mukifo ekyo okutuusa mu mwaka gwa 2008.[2]
Mu mwaka gwa 2008, Yalinyisibwa eddaala ku kifo kya chief magistrate era nakyuusibwa okuda ku kkooti ye Makindye Chief Magistrates Court, jyeyaweereza okutuusa mu mwaka gwa 2011. Okuva eyo, Yakolela ku Kkkoti y'Entebbe Chief Magistrates Court wakati wa 2012 ne 2014.[2]
Yalondebwa okukola nga omumyuuka wa Registrar, ku Kkkoti enkulu ejjulilwaamu eya Uganda Court of Appeal mu mwaka gwa 2015 era ebissera bingi bamuteekanga ku kooti ye Nakawa Chief Magistrates Court.[3] In 2016 she was appointed acting assistant registrar Mediation, in the Commercial Division of the High Court.[2]
Mu Gwokubiri 2018, Justice Joyce Kavuma yalondebwa ku kkooti enkulu eya Uganda, omu ku balumuzi ekumi abalondebwa ku kkooti eyo olunaku olwo.[4] Mu Gwokusatu 2018, Bamuza ku Mbarara Circuit of the High Court.[5]
Laba ne
[kyusa | edit source]Ebijulizidwaamu
[kyusa | edit source]- ↑ https://www.softpower.ug/museveni-nominates-14-justices-to-high-court-court-of-appeal/
- ↑ 2.0 2.1 2.2 2.3 2.4 2.5 https://chimpreports.com/who-are-the-14-newly-appointed-judges/ Cite error: Invalid
<ref>
tag; name "2R" defined multiple times with different content - ↑ https://www.newvision.co.ug/new_vision/news/1422933/judicial-officers-assigned-senior-positions
- ↑ http://www.pmldaily.com/news/2018/02/madrama-gadenya-kazaarwe-appointed-to-the-high-court.html
- ↑ http://judiciary.go.ug/data/incourt/16/The%20Honorable%20Judges%20of%20The%20High%20Court.html
Ebijulizidwaamu wabweru wa Wikipediya
[kyusa | edit source]- Focusing On Museveni's 14 Judges, What Is Good & Bad About Them nga 9 Ogwokubiri 2018.