Judith Babirye
Judith Babirye muyimbi wa gospel era munnabyabufuzi Munnayuganda. Musumba mukulu mu "New Life Deliverance Church", mu Makindye Division, mu bitundu by'obugwanjuba bw'obuvanjuba bwa Kampala, ekibuga ekikulu ekya Uganda.
Era yaliko omubaka omulonde mu Palamenti ng’akiikirira ekitundu ky’abakyala mu Disitulikiti y’e Buikwe mu Palamenti ey’ekkumi (2016–2021).
Obulamu bwe n’Okusoma
[kyusa | edit source]Babirye yazaalibwa Nyenga, mu Disitulikiti y’e Buikwe, mu maka ga Mwami ne Mukyala Mukooza, nga 23 September 1977. Yasomera mu ssomero lya Nalinya Lwantale Primary School mu Disitulikiti y'e Luweero . Yasomera mu Ndejje Senior School okusoma O-Level ate mu Iganga Secondary School okusoma A-Level, n'afuna Dipuloma ya High School mu 1998.
Yayingizibwa mu yunivasite y’e Makerere, yunivasite ya gavumenti esinga obukadde mu Uganda era esinga obunene, gye yatikkirwa mu 2001 n’afuna diguli esooka mu by’obulambuzi .
Ennyimba
[kyusa | edit source]Bwe yali mu Senior Two ku Ndejje Secondary School, Babirye yawangula ebivvulu by’okuyimba ennyimba mwe baaweebwa omulimu gw’okuyiiya oluyimba lw’essomero. E Iganga era yayiiya oluyimba lw’essomero n’atandika okuyimba.
Oluyimba lwe olwasooka, "Beera Nange", lwawangula engule ya gospel esinga mu mpaka za Pearl of Africa Music Awards eza 2006 . Abadde n'ennyimba ezikutteyo nga "Wambatira", "Omusaayi gwa Yesu", "Ekitibwa kyo Mukama" ne "Maama".
Obulamu bwe
[kyusa | edit source]Babirye yali mufumbo ne Niiwo nga balina omwana omuwala. Kyokka mu Ogusooka ogwa 2017, yasaba baawukane. Oluvannyuma yafumbirwa Paul Musoke Sebulime, nga 28 Ogw'omusanvu 2018, ku mukolo ogw’obuwangwa.
Ennyimba
[kyusa | edit source]Ennyimba
[kyusa | edit source]
Album z'abayimbi
[kyusa | edit source]
Awaadi n'okusiimibwa
[kyusa | edit source]- Oluyimba lw'enjiri olusinga obulungi, "Beera nange", mu mpaka za Pearl of Africa Music Awards eza 2006 .
- Album y'omwaka mu mpaka za Victoria Gospel Music Awards (VIGA),2007.
Amaka
[kyusa | edit source]Mu 2005, Judith Babirye yafumbirwa Samuel Niwo era n’azaala omwana omu omuwala circa 2006. Baayawukana mu 2009. Mu Ogusooka ogwa 2017, Babirye yasaba okwawukana.
Mu 2018 yafumbirwa Paul Musoke Ssebulime, mu kiseera ekyo omubaka akiikirira Buikwe North Constituency. Buli omu yali mu bufumbo obw'okubiri.