Jump to content

Julius Achon

Bisangiddwa ku Wikipedia

Template:Infobox sportsperson

Julius Achon

Julius Bua Achon (yazaalibwa 12 Ogwekkuminebiri 1976) i Munnayuganda omuddusi w'emisinde eyawummula era nga yakuguka mu misinde gya mmita 800 ne mmita 1500 . Achon yakola likodi ya mmita 800 mu misinde egy'ali gitegekeddwa egya American Collegiate nga yamaliriza n’obudde bwa 1:44.55 mu 1996 ng’omuyizi mu George Mason University . Yavuganya mu mizannyo gya Olympics gyombi mu 1996 ne 2000.

Era ye mutandisi w’ekitongole kya Achon Uganda Children’s Fund, ekisangibwa mu Portland, Oregon ekyaggulawo eddwaliro mu Bukiikakkono bwa Uganda mu 2012. Achon mu kiseera kino akola nga Member wa Palamenti ya Uganda, akiikirira Otuke mu Bukiikakkono bwa Uganda.

Emboozi y’obulamu bwa Achon ewandiikiddwa mu kitabo The Boy Who Runs, ekyawandiikibwa John Brant.

Disitulikiti za Uganda ez'akosebwa abayeekera ba Lord's Resistance Army

Obuwanguzi bwe yafunye mu mpaka z’aDistricts bwamuwa ekifo mu mpaka z’eggwanga, gye yawangulira emisinde gya mmita 1500 mu ddakiika 4:09.52, ng’alabibwako Christopher Banage Mugisha. Yawa Achon sikaala okugenda mu ssomero ery'omulembe eryali liyambibwako gavumenti mu Kampala, nga kino Achon gye yakikkiriza. [1]

Ebifunye okuva mu misinde

[kyusa | kolera mu edit source]

Mu mpaka z’ensi yonna ez’abato mu 1994, Achon yafuuka Munnayuganda eyasooka okuwangula zaabu, [1] ng’adduka mmita 1500 mu ddakiika 3:39.78. Obuwanguzi bwawerekerwa sikaala okuva mu matendekero ga Amerika agawerako era nga yalondako George Mason University. Mu 1996 yawangula mmita 800 n'engule ya NCAA, n’ateekawo likodi empya ey’amatendekero ga Amerika eya 1:44.55. Oluvannyuma lw'omwaka, yadduka mu misinde gy'akafubutuko egya mmita 1500 mu Olympics e Atlanta, [1] ng'aweereza nga kapiteeni wa ttiimu ya Uganda eya Olympics.

Achon yagenda mu maaso n’avuganya mu mizannyo gya Olympics e Sydney mu 2000, gye yatuuka ku mutendera oguddirira ogw'akamalirizo mu mmita 1500 kyokka teyeetaba mu mizannyo gya Athens oluvannyuma lwa nnyina okuttibwa aba LRA. [2]

Akabenje k’emmotoka akaliwo mu Gwokutaano 2007 kaakomya omulimu gwe ogw’okudduka. Abadde agenderera okudduka emisinde gya mmita 5000 mu mpaka z'eggwanga eza Uganda mu Gwomusanvu 2007. [3]{|Template:AchievementTable |- !colspan="6"|Representing Uganda Yuganda |- |rowspan=2|1994 |rowspan=2|World Junior Championships |rowspan=2|Lisbon, Portugal |4th |800m |1:48.85 |- |bgcolor=gold|1st |1500m |3:39.78 |- |1995 |All-Africa Games |Harare, Zimbabwe |bgcolor=cc9966 | 3rd |1500 m |3:40.83 |- |2001 |World Indoor Championships |Lisbon, Portugal |8th |1500 m |3:53.03 |- |2002 |African Championships |Radès, Tunisia |6th |1500 m |3:43.00 |}

Omulimu gw’obutendesi

[kyusa | kolera mu edit source]

Mu 2003, John Cook, eyatendeka Achon mu George Mason, yamuwa ekifo ky'omutendesi omuyambi [1] mu Alberto Salazar 's Nike Oregon Project, ng'atendeka abaddusi abakugu nga Galen Rupp, eyavuganya mu Olympics za Beijing . Mu 2010, okusala ku mbalirira mu kkampuni ya Nike kyategeeza nti Achon yafiirwa omulimu kyokka mu kifo ky’ekyo n’atandika okukola emirimu egy’ekiseera mu dduuka lya Nike ku kampusi. [1]

Ekitongole kya Achon Uganda Children's Fund

[kyusa | kolera mu edit source]

Achon yatandika okulabirira abaana bamulekwa abakosebwa olw’olutalo lw’omunda mu Uganda mu 2003 bwe yazuula bamulekwa 11 nga basula wansi wa bbaasi. Yabatwala mu maka ga bazadde be okumpi ne Lira, kitaawe gye yakkiriza okubalsigaza, ng'olwo Achon asindika ssente okuva e Portugal, gye yali abeera n’okutendekebwa. Kyali kyetaagisa doola 100 zokka buli mwezi okubaliisa bonna. [1]

Mu 2007, Achon yasisinkana Jim Fee mu kibuga Portland mu ssaza ly’e Oregon; awamu ne basalawo okutandikawo ekitongole ky'owannakyewa ekya Achon Uganda Children's Fund, [4] nga Fee akola nga omuwabuzi atasasulwa. [1] Ekigendererwa ky’ekitongole kino kwe kutumbula okufuna obujjanjabi, amazzi amayonjo n’ebyenjigiriza. [4] Fee ne Achon baatandika okusonda ssente okuzimba eddwaaliro mu Awake [1] okujjanjaba abatuuze abatawaanyizibwa omusujja n’endwadde endala. [5] Eddwaaliro lya Kristina Health Centre (KHC) nga lya bbulwa mu nnyina lyaggulwawo mu Gwomunaana 2012 era likozesa abakozi 12. [6] Fee yafa mu 2013 olw’ebisago bye yafuna mu kabenje k’obugaali; leero mukyala we Angela aweereza nga Dayilekita omukulu owa AUCF, ng’awagirwa abakozi bonna bannakyewa n’olukiiko olufuzi.

Okuva mu Gwomunaana 2018, eddwaaliro lino lijjanjaba abalwadde abasoba mu 300 buli mwezi, nga lijjanjaba obuvune n’endwadde ez’enjawulo. KHC era ekola okubunyisa amawulire mu bantu, nga esomesa abatuuze b’omu kitundu ku buyonjo n’ebyobulamu. Ekibiina kino era kikyagenda mu maaso n’okulabirira abaana abasigaddewo abatannaba kusumuka okuva mu mpeereza ya bamulekwa. [1] Okugatta ku ekyo, "AUCF" y'egatta ku kibiina kya Australia ekya Love Mercy okuwagira enteekateeka y'ensimbi entonotono emanyiddwa nga "Cents For Seeds".

Mu Paalamenti

[kyusa | kolera mu edit source]

Achon yalondeddwa mu Palamenti ya Uganda, ng’akiikirira Otuke mu kulonda kwa bonna okwa 2016 mu Uganda . Yaddamu okulondebwa mu kalulu ka bonna aka 2021 mu Uganda .

Ebijuliziddwamu

[kyusa | kolera mu edit source]
  1. 1 2 3 4 5 6 7 8 9 Kahn, Jennifer (November 2012) Cite error: Invalid <ref> tag; name "RWUK2012" defined multiple times with different content
  2. Hultine, Hannah (6 August 2008).
  3. http://www.washingtontimes.com/news/2007/jul/1/paralympic-athletes-prepare-for-upcoming-games/
  4. 1 2 Meyer, Cheryl (10 April 2012).
  5. Binder, Doug (25 March 2011).
  6. Odongo, Jacinta (21 October 2012).

Ebijuliziddwamu eby’ebweru

[kyusa | kolera mu edit source]

Template:Footer World Junior Champions men's 1500 metresLua error: Invalid configuration file.