Kahinda Otafiire

Bisangiddwa ku Wikipedia


Major General Kahinda Otafiire munnayuganda era munnabyabufuzi eyawummula emirimu gy'amagye. Mu kiseera kino ye mimisita a Uganda ow'ensonga ez'omunda,ekifo ky'aweezzaamu okuva ng'ennaku z'omwezi 9 omwezi ogw'omukaaga omwaka 2021[1].

Yasooka kuweereza nga minisita wa Uganda avunanyizibwa ku nsonga za ssemateeka era nga yalondebwa mu kifo ekyo ng'ennaku z'omwezi 27 omwezi ogw'okutaano omwaka 2011[2]. Mu ngeri y'emu Otafiire ye mubaka omulonde akiikiririra essaza lya Ruhinda mu dustulikiti ya Mitooma mu paalamenti ya Uganda.

Ebimukwatako n'obuyigirize bwe.[kyusa | edit source]

Otafiire yazaalibwa mu disitulikiti ya Mitooma ng'ennaku z'omwezi 29 omwezi ogw'ekkumineebiriomwaka ogwa 1950. Yasomerako Kitabi seminary, Kahinde Otafiire alina diguli esooka eya Bachelor of Arts in social science. Mu ngeri y'emu alina nebbaluwa mu lulimi olufalansa.

Obuweereza bwe.[kyusa | edit source]

Kahinda Qtafiire yasooka kubeera mukungu w'abavubuka okuva mu mwaka gwa 1975 okutuuka mu 1976. Olwo ate n'aweerezaako ng'omukungu ow'ensonga ez'ebweru mu miinisitule evunanyizibwa ku nsonga ez'ebweru. okuva mu mwaka gwa 1976 okutuuka mu 1980. Mu mwaka gwa 1981 yeegatta ku Yoweri Museveni nga bali mu ggye lya National Resistence Army (NRA) era muno mwe yaweerereza nga chief political commissar okuva mu mwaka gwa 1981 okutuuka mu 1984. Era wakati w'omwaka gwa 1984 ne 1986, omulimu gwe omukulu gwali gwa bwa National political comissar ne mu NRA. Wabula nga NRA tenajja mu buyinza, mu 1986, Otafiire yaweerezaako nga commissioner ku kakiiko akafuzi ak'okuntiko mu kitingole ekivunanyizibwa ku nsonga z'omunda mu ggwanga, naddala ku nsonga ezekuusa ku bukulembeze bwa NRA okuva mu mwaka gwa 1985 okutuuka mu mwaka gwa 1986.


Wakati wa 1986 ne 1988, Otafiire yaweereza ngaminisita w'eggwanga ow'ensonga ez'omunda. Wabula oluvannyuma lw'okutunuzaamu omukazi emmundu entono bwe yali ku bbaala emu mu Kampala[3]. Otafiire yawummuzibwa ku kifo kye eky'obwaminisita. Okuva mu mwaka gwa 1988 okutuuka mu mwaka gwa 1992, Otaffiire yaweereza nga omuwabuwabuzi wa pulezidenti ku by'obutebenkevu by'eggwanga. ate okuva mu mwaka 1992 okutuuka mu mwaka gwa 1994 Otafiire yaweereza nga director general of External Security Organisation (ESO).

Okuva mu 1994 okutuuka mu 1995, Otafiire yali omu ku bakiise mu lukiiko lwaa Costituency Assembly olwabaga ssemateeka wa 1995.Okuva mu mwaka gwa 1994 okutuuka mu mwaka gwa 1995. Otafiire yaweereza nga minisita avunanyizibwa ku butebenkevu bw'eggwanga. Okuva mu mwaka gwa 1996 okutuuka mu 2001 Kahinde Otafiire yaweereza nga minisita owa gavumenti ez'ebitundu. Yalondebwa ku bukiise bwa paalamenti mu mwaka gwa 1996.

Wakati w'omwaka gwa1998 ne 2001,Otafiire ye yakulira ekibinja ky'amagye ekya Uganda Military Expediton akyatwliabwa okulwana mu ggwanga lya Congo. Mu mwaka gwa 2001 yalondebwa nga minista w'eggwanga owa Region Cooperation era nga ekifo kino yakibeeramu okutuusuza ddala mu mwaka gwa 2003. Mu mwaka ogwo gwennyini ogwa 2003 Otafiire yalondebwa mu kifo ky'obwaminisita ow'ebyettaka,amazzi wamu n'obutonde bw'ensi.ekifo kye yaweererezaamu okutuuka mu mwaka gwa 2006. Otafiire era yasooka kuweereza nga minisita wa gavument ez'ebitundu nga tannaba kufuuka minisita wa byabusuubuzi n'amakolero mu mwezi ogw'okubiri omwaka 2009. yaweerereza mu kifo ekyo okutuusiza ddala mu mwezi ogw'okutaano mwaka gwa 2011[4], lwe yalondebwa okubeera minisita wa UGANDA OWA j.ustice

Ebimukwatako nga ye omuntu.[kyusa | edit source]

Kahinde Otafiire musajja mufombo era mukyala we ye Faridah Nayebale[5]. Era ayogerwako ng'omusajja anyumirwa ennyo okusoma n'okuyigisa. musajja Major General mulamba mu ggye lya Uganda erya Uganda Peoples Defence force(UPDF)

  1. https://www.newvision.co.ug/articledetails/105545
  2. https://web.archive.org/web/20141211124001/http://www.newvision.co.ug/D/8/12/755941
  3. https://www.nytimes.com/1989/06/15/world/uganda-after-its-years-of-terror-a-new-political-stability-emerges.html
  4. "Archive copy". Archived from the original on 2015-10-23. Retrieved 2021-09-04.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  5. https://en.wikipedia.org/wiki/Daily_Monitor