Jump to content

Kalangala

Bisangiddwa ku Wikipedia

KALANGALA

[kyusa | edit source]
Kalangala
Abalambuzi ku lubalama
Omusenyu ku lubalama lwenyanja nalubaale nga bwegulabika ku biichi ya Victoria esangibwa E lutoboka mu Kalangala Town council

Eno disitulikiti ya Uganda eyakutulwa ku distilikiti ya Masaka city mu mwaka 1989. Kalangala disitulikiti esangibwa ekolebwa ebizinga kinaana mu bina byonna nga biri mu nyanja Nalubaale (Vikitoliya). kalangala esalagana ne Disitulikiti nga Mpigi ne Wakiso mu bukiikakkono, Mukono e buvanjuba, eggwannga lya Tanzaniya mu bukiikaddyo wamu ne masaka ne Rakai e bugwanjuba. Kalangala y'emu ku bitungu bya Uganda ebisinga okwettanirwa abalambuzi olw'embeera y'obudde ennunji, embalama zenyanja eziriko omusenyu omulungi, abantu abaaniriza, amasamba g'ebinazi, nebirala binji. Omuntu okusobola okutuuka mu bizinga bye kalangala oba ssese nga bwebiyitibwa mu bwakabaka bwa Buganda asobola okukozesa ekubo erya Masaka-Bukakata nalinya ekidyeri nekimusomosa amazzi okuggukira ku mwalo e Luku ku kizinga Buggala. okusaabala olugendo luno kyetagisa eddakiika 30-45 zokka era nga ebidyeeri ebisabaaza abantu ku lugendo luno ssi byakusasulira. Mu ngeri endala omuntu asobola okukozesa ekidyeri ekilala ekisaabala okuva ku mwalo e Nakiwogo mu disitulikiti y'eWakiso okutuuka ku mwalo ogwe Lutoboka era Ku kizinga Buggala. olugendo luno luwanvuko era lwakusasulira ate nga mu biseera ebisinga lukolebwa omulundi gumu olunaku. Waliwo n'amakubo amalala agasobola okukozesebwa okugeza okuva e Kasenyi oba e Kitubulu mu bitundu by'Entebbe naye nga engendo zino tezisaabaza bidduka nga mmotoka olwokuba zizinga kukozesa maato.o[1]kusinzira ku bibabalo byekitongole ki UBOS ekivunaanyizibwa ku bibalo mu Uganda ebyomwaka 2024, Distulikiti y'eKalangala erimu abantu emitwalo musanvu mu bitano mu kinaana mu mwenda (70,589) laba ebisingawo ku bibalo byabantu ebyomwaka 2024 mu alipoota eno esangibwa ku mukutu gwa UBOS omutongole. Bwoba nga oyagala okumanya ebikwata ku bukulembeze n'enzirukanya ya Disitulikiti eno genda ku mutimbagano gwayo omuto ngole nga onyiga wano

Omuko guno kitundutundu. Bw'oba ng'oyagala okugugaziyako yingira awagamba nti kyusa.
  1. https://kalangala.go.ug/lg/overview