Kampala Speke Hotel
Kampala Speke Hotel yeemu ku wooteeri enguundiivu mu kibuga Kampala, mu ggwanga Uganda.[1]
Endagiriro
[kyusa | edit source]Wooteeri eno eri mu kibuga Kampala wakati, ku kibanja nnamba 7-9 ku luguudo Nile Avenue, ku lusozi Nakasero. Wooteeri eno eriraniganye ne Grand Imperial Hotel wamu ne Sheraton Kampala Hotel . Ekifo kino kiri kumpi ne bbanka, zi ssemadduuka ne ofiisi ezenjawulo era nga kiri mu kampala wakati Ku maapu ensengeka za Kampala Speke Hotel ze zino:0°18'55.0"N, 32°34'58.0"E (Obusimba:0.315278; Obukiika:32.582778). [2]
Byolina okumanya ku woteeri eno
[kyusa | edit source]Wooteeri ya Speke yabbulwa mu muvumbuzi John Hanning Speke, Omuzungu eyasooka okuzuula ensibuko y'omugga Nile . Eno yemu ku wooteeri ezisinga obukadde mu Uganda kuba yazimbibwa mu myaka gya 1920 nga Uganda likyali ttwale lya Bungereza. Wooteeri eno ezze eddaabirizibwa emirundi egiwera naye nga okutwaliza awamu Speke ekyasigazza endabika yaayo nga bweyali mu biseera byabafuzi bamatwale. Wooteeri eno erina ebisenge amakumi ataano ebisulwamu, ebirabi by'emmere ebiwerako ebifumba ebika by'emmere ebyenjawulo nga ey'Abayitale wamu n’Abayindi kuno kwossa ebbaala erimu ebika by'omwenge ebyenjawulo [3]
Obwannannyini
[kyusa | edit source]Wooteeri eno mmemba yamakampuni aga Ruparelia Group era nga mu Kampala mulimu wooteri endala ezigwa mu ttuluba lino . Wooteeri za Ruparelia Group endala mulimu:[4]
- Speke Resort and Conference Center – Munyonyo, Kampala
- Munyonyo Commonwealth Resort – Munyonyo mu Kampala
- Kabira Country Club – Bukoto, Kampala
- Ebiyumba by’ebibira – Kampala
- Bukoto Heights- Kampala
- Dolphin Suites – Kampala
Laba ne;
[kyusa | edit source]Ebiwandiiko ebijuliziddwa
[kyusa | edit source]Emitimbagano emirala
[kyusa | edit source]- ↑ https://www.spekehotel.com/
- ↑ https://www.google.com/maps/place/0%C2%B018'55.0%22N+32%C2%B034'58.0%22E/@0.3152713,32.5827151,19z/data=!4m2!3m1!1s0x0:0x0
- ↑ https://web.archive.org/web/20140715035730/http://www.hotels-uganda.org/en/index.php/members/kampala/6-members/central-kampala/103-speke-hotel
- ↑ https://www.spyuganda.com/ruparelia-group-tops-list-of-20-hotels-approved-for-common-wealth-parliamentary-conference-2019/