Katie Kibuka
Katolini Esita Ndagire Kibuka, amanyikiddwa nga Katie Kibuka (1922 – Ogwokuttaano 12, 1985) yali Munnayuganda eyalwaanirira eddembe ly'abantu mu biseera nga ekyaali wansi w'obufuzi bw'abazungu. Katie Kibuka yalwaanirira eddembe ly'abakyaala, n'awaangaaza okwaagala kw'abaana.
Obulamu
[kyusa | edit source]Yazaalibwa mu famire ey'eddiini, eyateeka nnyo essira mu kusoma,[1] Katie, omu Ganda,[2] yasomera Gayaza High School, oluvanyuma yasomesazaayo eby'efumbiro n'ebyokumba (home economics)
.[1] Bwe yagenda mu United States okusoma ebikolwa bya Young Women's Christian Association,[3] yali omu kubatandikawo Ugandan chapter, era yetaba nnyo mu Mothers' Union ne Uganda Council of Women. Mothers' Union kibiina ekilwaniririra okuyamaba famire eziri mu bweetaavu.[4] YWCA yatandikibwaawo mu 1855 era kyaali kibiina ekigatta abanatu mu kulwaanirira eddembe lya buli muntu n'eddembe ly'abakyaala.[5] Katie yali Pulezidenti mu kitongole. Omwaami we weyawula eby'emirimu, abagaalana ababbiri bagenda e Nangabo, sub-county ya Uganda. Eyo yatandikayo Nangabo Center nga essomabuvobwawamu ekungaanyirwaamu abantu abali mu bwetaavu. Center eno yagaba obuyambi n'okuwagira ekusomesa abawala era ne Katie yaddukanya essomero ly'abaana abato abatanatandika ku soma.[1] Katie yawulira nti abaana baali bamuzaamu amaanyi, nga yalina abaana bana ababbe. Katie era yaweereza nga omutaputa wa Mary Ainsworth mu mirimu gye ne ba maaama Bannayuganda.[2] Mary Ainsworth yali munnambeera za birowoozo ow'enkulaakulana (developmental psychologist) mu Uganda.[6] Katie yalina okwaagala okungi okw'abaana, ekya muleetera okufuuka omutandisi w'ekitongole kya childcare organization ewaka we. Nga ayambibwaako bbaawe eyali emubeererawo ennyo, yatandikawo essomero ly'abaana abato Abafirika mu Uganda.[7] Yali mmemba omukozi ennyo ow'entabaganya era yeetabba nnyo mu mirimu gy'ekkanisa. Yeetabba nnyo mu bitongole by'ekkanisa ye nga ayamba abo abaali mu bwetaavu. Yali mmemba ku kakiiko ka Provincial Committee ak'ekkanisa ya Uganda eya Church of Uganda era ne Missionary Board eya Church of England.[8] Katie yafa mu Goekutaano 12, 1985, oluvanyuma lwokubeera n'obulamu obweesimisa era n'okutuukiriza obulamu nga aweereza abalala.
Ebijuliziddwa
[kyusa | edit source]- ↑ 1.0 1.1 1.2 https://books.google.com/books?id=36BViNOAu3sC
- ↑ 2.0 2.1 https://books.google.com/books?id=qrxIW0ITbgkC&pg=PA134
- ↑ https://www.newvision.co.ug/new_vision/news/1058683/mary-stuart-rest-uganda
- ↑ https://www.mothersunion.org/
- ↑ "Archive copy". Archived from the original on 2018-12-10. Retrieved 2024-04-25.
{{cite web}}
: CS1 maint: archived copy as title (link) - ↑ https://www.britannica.com/biography/Mary-Salter-Ainsworth
- ↑ https://books.google.com/books?id=HwqQCwAAQBAJ&dq=katie+kibuka&pg=PA148
- ↑ https://en.wikipedia.org/wiki/JSTOR_(identifier)