Kayinga Muddu Yisito
Kayinga Muddu Yisito munnayuganda era ayagala eby'enkulakulana ebyawamu, mulwanirizi w'ebintu n'eddembe ly'abantu n'ebitundu mwebawangaalira okutwaliza awamu .[1] Ye Direkita omukulu ow'ekibiina kya COTFONE (Community Transformation Foundation Network), omukubiriza w'eggwanga NAYD (Network of African Youth for Development) era n'ekibiina kya Africa ABC4All (A Better Community For All, ye mutandiisi era omukubiriza w'ekibiina kya YR (Youngsters Revolution).[2] Kayinga yalondebwa era naatekebwa ku lukalala lw'abalwanirirzi b'eddembe abalina okuna engule eza 2022 EU Human Rights Defenders Award olw'okubeera ow'enkizo mu situla eddoboozi ly'abatuuze b'ekitundu ky'eMasaka abaali bagenda okukosebwa olw'enkulakulana eya pulojekiti y'amafuta eya East African Crude Oil Pipeline-EACOP.[3][4][5]
Emirimu
[kyusa | edit source]Kayinga y'akiikirira ekibiina ky'abannamateeka ekya Civil Society Organization (CSOs ) mu Disitulikiti y'e Lwengo, mu Uganda era Ambasada w'e Ssaza mu kakuyege eyamanyibwa nga Millennium Candle Campaign (MCC ) mu kumanyisa abantu ku nsonga z'amawanga amagatte n'ebigenddererwa eby'enkulakulana ebya “United Nations’ Millennium Development Goals,mu 2015”. Kayinga era akola nga eyebuuzibwako omukugu ku by'enkulakulana mu bibuga n'ebibiina ebyeby'obugagga ebya Community Welfare Services (COWESER-Uganda) era n'ekibiina ky'abaana ekya Children’s Sure House (CSH).[1]
Kayinga ye mukubiriza w'ekitongole ekya Community Transformation Network (COTFONE), ekitongole ekyali kiyamba abantu abaali baakosebwa omudumu gw'amafuta ogwa East African Crude Oil Pipeline (EACOP) okuliyirirwa.[6]
Okulondebwa n'engule
[kyusa | edit source]Yalondebwa mu mwaka gwa 2022 ng'omulwanirizi w'eddembe ly'abantu eyaEU Human Rights Defenders Award.[7]
Era laba
[kyusa | edit source]Ebijuliziddwamu
[kyusa | edit source]- ↑ 1.0 1.1 https://profiles.tigweb.org/MUDDU
- ↑ https://www.cotfone.org/our-team/
- ↑ http://ugandaradionetwork.com/story/two-lawyers-activist-shortlisted-for-prestigious-human-rights-defenders-award
- ↑ https://www.independent.co.ug/crude-oil-pipeline-affected-persons-demand-revaluation-of-assets/
- ↑ https://observer.ug/news/headlines/72274-oil-pipeline-masaka-residents-cry-foul-demand-better-compensation
- ↑ https://www.independent.co.ug/gunmen-run-away-with-documents-related-to-masaka-crude-pipeline-claims/
- ↑ https://www.independent.co.ug/lawyer-eron-kiiza-shortlisted-for-prestigious-eu-human-rights-defenders-award/