Kintu Musoke
Kintu Musoke, (Yazaalibwa 5 August 1938) Munnabyabufuzi era Munnayuganda alina enkolagana ey'amaanyi ne Pulezidenti Yoweri Museveni.[1] Yaweereza nga Katikkiro wa Uganda okuva nga 18 November 1994 paka 5 April 1999.[2] Oluvanyuma yalondebwa okukulira akakiiko ak'enjawulo akalwanyisa Siriimu mu Uganda.[3] Era aweereza ng'omuwi w'amagezi eri Pulezidenti wa Uganda.[4]
Obuzaale bwe n'okusoma kwe
[kyusa | edit source]Kintu Musoke yazaalibwa mu disitulikiti y'e Masaka nga bakadde be ye Yafeesi Kintu ne Eseza Nassiwa nga May 8 1938. Yasomerako ku Kabungo Native Anglican Church School ne Buwere Primary School. Yagenda ku Kings College Budo gye yatuulira Siniya ey'okuna n'eyomukaaga. Alina diguli mu by'obufuzi, endowooza z'abantu n'amawulire (Political Science, Philosophy and Journalism,) okuva mu Delhi University mu ggwanga lya Buyindi.
Emirimu gye
[kyusa | edit source]Oluvanyuma lw'okumaliriza emisomo gye egya Yunivasite mu 1963, yakomawo mu Uganda n'ayingira eby'obufuzi ng'omukunzi w'abavubuka mu kibiina ky'ebyobufuzi ekya UPC. Mu 1965, yagobwa mu kibiina kino wamu ne Bammemba baakyo abalala abaali bakkiririza mu kiwayi kya Ssaabawandiisi w'ekibiina kino John Kakonge. Yasooka ne yesonyiwa eby'obufuzi paka mu 1980, lwe yeetaba mu kutondawo ekibiina kya Uganda Patriotic Movement, oluvanyuma ekyafuuka National Resistance Movement. Mu kiseera kye eky'okukola, yakolerako empapula z'amawulire ez'enjawulo okuli Uganda Eyogera, Uganda Argus, The African Pilot ne Weekly Topic.
Laba na bino
[kyusa | edit source]- Jaberi Bidandi Ssali
- Kirunda Kivejinja
- Yoweri Museveni
- Kabineeti ya Uganda
Ebijuliziddwa
[kyusa | edit source]- ↑ "Archive copy". Archived from the original on 2022-11-28. Retrieved 2022-11-28.
{{cite web}}
: CS1 maint: archived copy as title (link) - ↑ https://en.wikipedia.org/wiki/The_New_York_Times
- ↑ https://web.archive.org/web/20150206041320/http://www.newvision.co.ug/D/8/13/468422
- ↑ https://web.archive.org/web/20150206045205/http://www.newvision.co.ug/D/8/13/646782