Jump to content

Kiruhura

Bisangiddwa ku Wikipedia
Kiruhura District

Kiruhura, ekibuga mu Kiruhura mu Yuganda.

  • Abantu: 14.300 (2012)
Omuko guno kitundutundu. Bw'oba ng'oyagala okugugaziyako yingira awagamba nti kyusa.

Ekifo wekisangibwa

[kyusa | kolera mu edit source]

Kiruhura ekunukiriza 69 kilometres (43 mi), ku luguudo, mu bukiikakkono bw’obuvanjuba bwa Mbarara, ekibuga ekisinga obunene mu kitundu kya Ankole . [1] Kikunukiriza 265 kilometres (165 mi), ku luguudo, mu bukiikaddyo bw’amaserengeta ga Kampala, ekibuga ekikulu era ekisinga obunene mu Uganda. Ensengeka z'ekibuga kino ku maapu ziri 0°12'53.0"S, 30°46'12.0"E (Latitude:-0.214709; Longitude:30.769999).

Obungi bw'antu

[kyusa | kolera mu edit source]

Mu mwaka gwa 2002, okubala abantu mu ggwanga lyonna kwalaga nti omuwendo gw’abantu mu kibuga kino gwali nga 10,240. Mu mwaka gwa 2010, ekitongole ekivunaanyizibwa ku bibalo ekya Uganda Bureau of Statistics (UBOS) kyabalirira nekitebereza nti abantu bano baali 13,500. Mu mwaka gwa 2011, UBOS yabalirira era netebereza nti omuwendo gw’abantu mu makkati g’omwaka gwali 14,000. [2] Mu mwaka gwa 2012, UBOS yateebereza nti abantu b’omu kibuga kino baali 14,300. [3] Mu mwaka gwa 2020, UBOS yabalirira netebereza nti omuwendo gw’abantu mu kibuga Kiruhura mu myaka wakati akkati gwali 6,900, nga ku bano 3,600 (ebitundu 52.2 ku 100) baali basajja ate 3,300 (ebitundu 47.8 ku buli 100) baali bakazi. [4]

  1. GFC (22 March 2016). "Distance between Mbarara, Western Region, Uganda and Kiruhura, Western Region, Uganda". Globefeed.com (GFC). Retrieved 22 March 2016.
  2. UBOS. "Estimated Population of Kiruhura In 2002, 2010 And 2011" (PDF). Uganda Bureau of Statistics (UBOS). Archived from the original (PDF) on 7 July 2014. Retrieved 7 June 2014.
  3. UBOS (June 2012). "Kiruhura District Local Government Statistical Abstract" (PDF). Uganda Bureau of Statistics (UBOS). Retrieved 22 March 2016.
  4. Uganda Bureau of Statistics (14 June 2020). "Estimated Population of Kiruhura Town Council As of 1 July 20120". Citypopulation.de. Retrieved 25 December 2020.