Jump to content

Kiryowa Kiwanuka

Bisangiddwa ku Wikipedia

 

Kiryowa Kiwanuka Nsumikambi Mugambe, amanyiddwa ennyo nga Kiryowa Kiwanuka, munnamateeka, musuubuzi era munnabyabufuzi Munnayuganda akola nga Minisita w’ebyokwerinda n’abaazirwanako mu kabineti ya Uganda . [1] Yalondebwa ku kifo ekyo nga 26 May 2026, n'adda mu bigere bya Jacob Marksons Oboth. Emabegako yaliko Ssaabawolereza wa Uganda wakati wa 6 June 2021 ne May 25 2026. [2] [3] [4]

Obuto bwe n’okusoma

[kyusa | kolera mu edit source]

Kiwanuka yazaalibwa mu Uganda awo nga mu 1972. Kitaawe omugenzi Jimmy Mugambe Kiwanuka yali munnamateeka Munnayuganda. Jjajjaawe omugenzi azaala kitaawe, Jolly Joe Kiwanuka yali munnabyabufuzi Munnayuganda eyatemulwa nnakyemalira Idi Amin ku ntandikwa y’emyaka gya 1970. [5]

Kiryowa obuto bwe yabumala mu Nairobi ,Kenya amaka gye gaabeeranga mu buwanganguse obw'ebyobufuzi, nga tannadda Uganda mu 1980. Yasomera mu ssomero lya Budo Junior School mu ssomero lye erya pulayimale. Oluvannyuma yakyuka n’agenda mu Kings College Budo ku misomo gye egy'omutendera gwa siniya eyokuna (O-level) .Ku misomo gye egya siniya eyomukaaga ( A-Level), yasomera mu ssomero lya Makerere College School . Mu 1993, yaweebwa ekifo ku yunivasite y’e Makerere, yunivasite ya gavumenti esinga obukadde mu Uganda era esinga obunene, okusoma amateeka. [5]

Kiryowa Kiwanuka yatikkirwa okuva ku yunivasite y’e Makerere, ne ddiguli esooka ey'amateeka . Oluvannyuma yagenda mu kitongole kya Law Development Center, n'afuna Dipulooma emusobozesa okutandika okuwoza emisango (Diploma in Legal Practice) . Yaweebwa ekifo okuba omu ku bannamateeka ba kkooti ya Uganda enkulu mu 1997. Oluvannyuma, yattikkirwa Yunivasite ya Dundee ddiguli eyokubiri ey'amateeka mu mateeka g'ebyamafuta n'enkola mu Scotland. [6]

Nga tannalondebwa mu kifo kyalimu mu kiseera kino, Kiwanuka yali akolagana era omu ku batandisi aba K and K Advocates & Solicitors Uganda, kkampuni y'amateeka ey’obwannannyini mu Kampala. [5] Nga 8 Ogwomukaaga 2021, yaweebwa ekifo ky'obwa Ssaabawolereza wa Uganda. [7]

Kiryow mufumbo ne Sarah Kiwanuka gwe yasisinkana mu 1997. Bazadde b’abaana bana. Alina muto we, Bakadde Kiwanuka, akola emirimu gy’amateeka mu Bungereza. [5]

Obuvunaanyizibwa obulala

[kyusa | kolera mu edit source]

Kiryowa Kiwanuka aweereza ku lukiiko olufuzi olw'ekitongole kya Uganda ekitwala eby'amafuta ( Petroleum Authority of Uganda ) okuva mu 2015. N'era akola nga Ssentebe wa Kiraabu y'omupiira eya Express Football Club, kiraabu y’omupiira eya liigi ya Uganda . [6]

Ebijuliziddwa

[kyusa | kolera mu edit source]
  1. Asiimwe, George (2026-05-26). "Museveni Transfers Nankabirwa, Kiryowa; Appoints Tumukunde, Nameere in New Cabinet". ChimpReports (in American English). Retrieved 2026-05-26.
  2. "Full cabinet list: Jessica Alupo New Vice President". 8 June 2021. Retrieved 9 June 2021.
  3. "KK: Born for the bar". The Independent (in American English). Uganda. 2016-05-03. Retrieved 2021-09-04.
  4. Ssemakadde, Isaac K. (21 July 2021). "AG Kiryowa Kiwanuka is the wrong man for the wrong job". The Observer (in British English). Retrieved 2021-09-04.
  5. 1 2 3 4 "KK: Born For The Bar: Interview". The Independent. Kampala. 3 May 2016. Retrieved 9 June 2021.
  6. 1 2 "Kiryowa Kiwanuka: Partner". Kampala: K & K Advocates Uganda. 9 June 2021. Archived from the original on 23 September 2021. Retrieved 9 June 2021.
  7. Uganda Radio Network (9 June 2021). "New Cabinet: Museveni drops Kutesa, 10 ministers". The Independent. Kampala. Retrieved 9 June 2021.