Jump to content

Leila Kayondo

Bisangiddwa ku Wikipedia

  Leila Kayondo muyimbi mu ggwanga lya Uganda.

Obuto bwe n'obuyigirize

[kyusa | edit source]

Kayondo yayimba mu bibiina by'abayimbi mu masomero era yeenyigira mu mikolo gy'essomero ng'ali ku Seeta Boarding Primary School ne ku Naalya Secondary School Namugongo ku ddaala O-Level. Yagenda mu maaso n'ekintu kyekimu nga yeeyunze ku Greenville International School fokusoma eddaala lya A-Level. Yatikkirwa ku Uganda Christian University esangibwa e Mukono gye yafunira ddiguli esooka mu social works and social administration.

Okuyimba

[kyusa | edit source]

Kayondo yatandika olugendo lwe mu buyimbi mu Dream Gals, ekibiina ky'abayimbi abawala bokka, oluvannyuma lw'okwenyigira mu mpaka ezaayambako ekibiina ekyo okutondwawo. Ekibiina ekyo kyafulumya ennyimba ezaakwatayo omuli "weekend" ne "Wandekangawo".

Mu mwaka gwa 2009, Kayondo yava mu kibiina ekyo n'atandika okwefulumiza ennyimba yekka. Alina ennyimba z'afulumizza ne zikwatayo gamba nga "Awo", ne "Relaxing". Mu mwaka gwa 2017 yakola endagaano n'ekibiina kya Striker Entertainment, nga kino kitongole ekisangibwa mu ggwanga lya Nigeria ekifulumya ennyimba mu Uganda, n'afulumya ennyimba bbiri ezaakwatayo omuli, "Respeck" ne "Musaayi".

Ebijuliziddwa

[kyusa | edit source]