Lucy Achiro Otim

Bisangiddwa ku Wikipedia

 

Achiro Lucy Otim, era amanyikiddwa nga Lucy Achiro Otim (yazaalibwa nga 28 Mutunda 1986) mukyala Munnabyabufuzi wa Uganda era omukugu mu kikula ky'abantu.[1] Ye mukyala akiikirira Obukiikakkono bw'eSsaza ly'omu Konsitituwense y'e Aruu, mu Disitulikiti y'e Pader mu Paalamenti ey'ekkumi. Achiro talina kibiina ky'ebyabufuzi kyalimu mu Paalamenti ya Uganda.[2] Yawangula ekifo mu Paalamenti nga talina kibiina mu 2016. Okubeerawo kwe nga Omubaka mu Paalamenti kwasalibwaako Kkooti ensukulumu eya Uganda bwe yasazaamu okulondebwa kwe olw'okugyemera amateeka g'ebyokulonda kubanga akakiiko akakwasaganya eby'okulonda kalemererwa okuddamu okubala obululu oluvanyuma lw'okuwangula n'obululu bubiri, nga awangula James Nabinson Kidega ow'ekibiina kya National Resistance Movement (NRM).[3][4] Wabula, yakomawo nga Omubaka mu Paalamenti oluvanyuma lw'okulondebwa nate ng'omubaka w'oBukiikakkono bwe Aruu mu Paalamenti mu mwezi gwa Kafuumulampawu 2017 mu kalulu mweyawangulira Kidega, ku mulundi guno ng'amuwangudde n'ebitundu nkaaga mu bina ku asatu mu bibiri ku buli kikumi.[5][6]

Obuyigirize n'obuvo bwe[kyusa | edit source]

Mukyala mufumbo. Achiro yasomera ku Mary Immaculate primary school ku misomo gye egy'aPulayimale era n'akola ebigezo bye eby'akamalirizo ebya primary leaving examinations (PLE) mu 1998. Oluvanyuma yaweebwa ekifo mu ssomero lya Sacred Heart secondary school, mu Gulu, gye yatuulira ebigezo bye ebya Siniya ey'okuna ebya Uganda Certificate of Education (UCE) mu 2002. N'asomera ku Merry Land High School ku mutendera gwa A'level, era n'akola ebigezo bye ebya Uganda Advanced Certificate of Education (UACE) mu 2004. Oluvanyuma yegatta ku Yunivasite y'e Makerere era n'atikkirwa Diguli eya Bachelor's degree in social sciences mu 2008. Era oluvanyuma yayongerako Diguli ey'okubiri mu Kikula ky'abantu mu 2014 okuva mu Yunivasite y'emu.[1]

Ebyafaayo bye mirimu gye[kyusa | edit source]

Achiro aweereza nga Dilekita omukulu mu kibiina ky'abakyala n'abaana ekya women and children protection initiative okuva mu 2012 okutuusa kaakano.[1][7] Era yaweereza nga omukwanaganya w'abakyala mu kitongole kya United States Agency for International Development (USAID), Adventist Development and Relief Agency(ADRA) mu 2012.[1] Era yali mukugu mu kikula ky'abantu mu kitongole kya oxfam international mu 2009, era yali mukugu mu kikula ky'abantu n'abaana mu kitongole ky'abakyala ekya UN Women mu 2011.[1]

Achiro aweereza ng'Omubaka mu Paalamenti, akiikirira Konsitituwense y'oBukiikakonno bw'e Aruu mu Paalamenti y'a Uganda.[8] Mu Paalamenti aweereza ku kakiiko k'eddembe ly'abantu era ne ku kakiiko k'ekikula ky'abantu. Y'e Minisita ow'ekikula ky'abantu ku Kabinenti ey'ekisiikirize.[9]

Mmemba omujjuvu mu bitongole eby'obukugu bibiri. omuli eky'abaana ekiyitibwa Child protection working group of Uganda,[10] n'ekya Gender cluster eky'omu Bukiikaddyo bwa Sudan. Achiro Mmemba mu kibiina ky'abakyala ekya Uganda Women Parliamentary Association (UWOPA).[11]

Ebitakwatagana[kyusa | edit source]

Okulondebwa kwa Achiro kwasooka n'ekugaanibwa kkooti ensukkulumu mu mwezi gwa Ssebaaseka 2016 olw'okugyeemera amateeka g'akakiiko akakwasaganya eby'okulonda aka Electoral commission era n'ekalagira okulonda okupya.[12] Lucy Achiro Otim yaddamu n'alondebwa ng'Omubaka mu Paalamenti ow'oBikiikakkono bwa Konsitituwense t'e Aruu mu Disitulikiti y'e Pader oluvayuma lw'okuwangula abaali besimbyewo abataano mu kulondebwa okwategekebwa okujjuza ekifo mu mwezi gwa Mukutulansanja nga 6 nga Kkooti ensukkulumu y'eyali efuga.[13][14][15] Yagamba oluvanyuma lw'okuwangula akalulu nti tiimu ye yasanga okutiisibwatiisibwa n'okusoomozebwa mu nsonga z'assente n'ewankubadde basobola okubivvuunuka.[16]

Mu 2017, Achiro Lucy Otim yazilikira mu bisenge bya Paalamenti mu kwekalakaasa kw'aBabaka mu Paalamenti ab'oludda oluvuganya Gavumenti era yafulumizibwa w'abweru oluvanyuma lw'okuzirika.[17][18]

Laba na bino[kyusa | edit source]

Ebijuliziddwamu eby'ebweru[kyusa | edit source]

Ebijuliziddwamu[kyusa | edit source]

  1. 1.0 1.1 1.2 1.3 1.4 "Archive copy". Archived from the original on 2021-04-27. Retrieved 2022-04-01.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  2. "Archive copy". Archived from the original on 2021-04-27. Retrieved 2022-04-01.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  3. https://nbs.ug/2017/02/aruu-north-mp-loses-seat/
  4. https://www.independent.co.ug/aruu-mp-lucy-achiro-otim-thrown-parliament/
  5. https://www.newvision.co.ug/new_vision/news/1450494/aciro-retains-aruu-north-mp-seat
  6. https://www.monitor.co.ug/News/National/Achiro-Otim--Aruu-North-County-seat-NRM-DP/688334-3880846-yu6u92/index.html
  7. https://www.ec.or.ug/election/directly-elected-member-parliament-aruu-north-county-pader
  8. http://parliamentwatch.ug/lucy-achiro-retains-aruu-north-parliamentary-seat/
  9. "Archive copy". Archived from the original on 2021-05-19. Retrieved 2022-04-01.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  10. "Archive copy". Archived from the original on 2021-12-02. Retrieved 2022-04-01.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  11. "Archive copy". Archived from the original on 2021-04-18. Retrieved 2022-04-01.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  12. https://www.independent.co.ug/aruu-mp-lucy-achiro-otim-thrown-parliament/
  13. http://dispatch.ug/2017/04/07/lucy-achiro-bounces-back-parliament/
  14. https://www.newvision.co.ug/tag/lucy-achiro-otim/
  15. http://ugandaradionetwork.com/story/lucy-achiro-bounces-back-to-parliament
  16. https://www.monitor.co.ug/News/National/Achiro-Otim--Aruu-North-County-seat-NRM-DP/688334-3880846-yu6u92/index.html
  17. https://ugandaradionetwork.net/a/file.php?fileId=114467
  18. https://ugandaradionetwork.net/a/file.php?fileId=114466
  19. https://eagle.co.ug/2017/04/26/aruu-county-north-mp-sworn.html