Jump to content

Lydia Jazmine

Bisangiddwa ku Wikipedia

Lydia Nabawanuka yazaalibwa Masaka mu 1991 amanyiddwa nga Lydia Jazmine ye muyimbi omukyala ow'omu Uganda.

Ebyafaayo n'okusoma

[kyusa | edit source]

Yazaalibwa Masaka mu 1991. Yasomera mu ssomero lya Victoria Nile School mu kusoma kwe okwasooka. Oluvannyuma yakyuusibwa n'atwalibwa ku ssomero lya Saint Mary's School Namaliga, mu ggombolola eye Kimenyedde, mu disitulikiti eye Mukono.[1] Yamaliriza emisomo gye egya siniya mu emu ku masomero ga siniya ag'ekitiibwa mu Uganda, Cityland College Matugga, mu Matugga, disitulikiti eye Wakiso.[1] Mu Ogwokubiri 2016, yamaliriza mu Multitech Business School mu Kampala, ekibuga ekikulu ekya Uganda era ekibuga ekisinga obunene, ng'alina diguli ya Bachelor of Business Administration and Management.[1]

Emirimu

[kyusa | edit source]

Jazmine yatandika okuyimba mu ssomero lya siniya, oluvannyuma lw'okwegatta ku bayimbi b'essomero. Oluvannyuma yeegatta ku bayimbi b'ekkanisa eya Pascua Harvest Centre ne mu Kkanisa ya Watoto. Bwe yamaliriza emisomo gye egya siniya, yeegatta ku kibinja ekiyitibwa Gertnum, gye yayimbiranga.

Oluvannyuma, ekibinja kya Radio and Weasel kyateeka omukono ku Jazmine ng'omuyimbi ow'okubiri. Ye muyimbi eyali mu luyimba "Ntunga" ne "Breath Away". Oluvannyuma yayimbiri abayimbi nga Bebe Cool ne Sheebah Karungi. Oluyimba lwe olwasooka lwali luyimba lwa babiri ne Rabadaba oluyitibwa "You Know", olwafulumizibwa awo nga mu 2014.[1]

Ebimu ku biwandiiko

[kyusa | edit source]
  • You Know
  • Nkubanja
  • Cherie
  • Tukumbe
  • Guno Omukwano
  • Meu Marido
  • Same way: yayimba ne Geosteady
  • Omuntu: yayimba ne Sheebah Karungi
  • Control: yayimba ne Spilla
  • Silent Night: yayimba ne Kiss Daniel
  • Ndaga
  • Mwagala Biriyo
  • Waiting for Your Love: ne Liloca ku Coke Studio Africa 2017
  • Drum
  • You nd Me [2]
  • Mega
  • This must be love
  • Kampala kyekyo
  • Sing for me
  • Binji binji
  • Oja kunzita
  • Tonkozesa
  • Ebintu byange
  • Wankolera
  • Nkubanja
  • Masuka
  • Kapeesa
  • I love you bae
  • Olindaki
  • Omalawo

Emirimu emirala

[kyusa | edit source]

Mu 2017, Jazmine yalondebwa okwetaba mu "Coke Studio Africa 2017", okukiikirira Uganda, omulundi ogw'okubiri ogwali guddiringana. Ku mulundi guno yakolera wamu n'omuyimbi w'omu Mozambique Liloca, era n'aweebwa omulimu gw'okufulumya ennyimba mu South Africa Sketchy Bongo. Omukolo guno ogukolebwa buli mwaka, oguvujirirwa ekitongole ekya Coca-Cola, ogubaamu okuvuganya okutali kwa ndaga okubaamu abayimbi ab'enjawulo abayimbi ab'enjawulo ku ssemazinga, okukolera awamu n'abayimbi abalina obuyivu abawano n'eki mitendera egy'ensi yonna awamu n'abakola ennyimba.

Ebyawandiikibwa

[kyusa | edit source]
  1. 1.0 1.1 1.2 1.3 Cite error: Invalid <ref> tag; no text was provided for refs named Bio
  2. You and Me

Enkolagana ez'ebweru

[kyusa | edit source]