Lydia Mugambe
Lydia Mugambe, ye Kaliisoliiso wa Gavumenti okuva mu Mugulansigo 2022, munnamateeka wa Yuganda eyaweereza ng'omulamuzi mu kkooti enkulu ya Yuganda wakati wa Muzigo 2013 ne Mutunda 2020. Yalondebwa omukulembeze w'e Ggwanga Yoweri Museveni mu kkooti enkulu nga 3 Muzigo 2013. Lady Justice Mugambe Ssali oluvannyuma yalondebwa Pulezidenti Museveni nga Kaliisoliiso wa Yuganda nga 18 Mutunda 2020[1]
Ebyafaayo n'obuyigirize
[kyusa | edit source]Yamaliriza emisomo gye mu ssomero ly'amateeka mu Ssettendekero wa Makerere University, Ssettendekero esinga muYuganda obunene n'obukadde, n'afuna Diguli mu mateeka. Oluvannyuma yaweebwa dipulooma mu by'amateeka okuva mu Law Development Centre, mu Kampala, ekibuga kya Uganda ekikulu. Era yafuna Diguli ey'okubiri mu by'amateeka okuva mu University of Pretoria mu South Africa.[2]
Emirimu gye
[kyusa | edit source]Nga tannalondebwa mu kkooti enkulu, Mugambe yaweereza ng'omulamuzi mu kkooti za Uganda eza wansi.[3] Yalondebwa mu kkooti enkulu eya Uganda nga 15 Muzigo 2013. Asindikibwa mu kitongole kya kkooti ekya Civil Division.[4][5]
Mu Gatonnya wa 2017, Omulamuzi Mugambe yawa ensala ku ddwaliro lya Mulago National Referral Hospital, eryali livunaanibwa Jennifer Musimenta ne bba Micheal Mubangaizi, olw'okubula kw'omwana waabwe omuwere. Omulamuzi yasanga eddwaliro nga lirina omusango gw'obuteegendereza. Mugambe era yawa abafumbo obukadde bwa USh85 (nga mu doola ya Amerika zikunukkiriza 24,000) olw'ebyayonoonebwa.[6][7]
Omusango gutenderezebwa abatunuulizi b'amateeka n'ebibiina by'obwannakyewa mu Yuganda, ng'omusango ogulimu ensa, oguggyayo eddembe ly'abakyala n'abatalina mwasirizi. Omusango guno gwaweebwa engule ya Center for Health, Human Rights and Development (CEHURD), mu 2017.[8]
Laba na bino
[kyusa | edit source]Ebijuliziddwamu
[kyusa | edit source]- ↑ https://www.newvision.co.ug/new_vision/news/1318553/museveni-names-judges
- ↑ "Archive copy". Archived from the original on 2019-01-10. Retrieved 2022-03-19.
{{cite web}}
: CS1 maint: archived copy as title (link) - ↑ "Archive copy". Archived from the original on 2018-06-25. Retrieved 2022-03-19.
{{cite web}}
: CS1 maint: archived copy as title (link) - ↑ http://www.judiciary.go.ug/data/incourt/16/The%20Honorable%20Judges%20of%20The%20High%20Court.html
- ↑ https://www.newvision.co.ug/new_vision/news/1472125/justice-mugambe-hear-uneb-senior-results
- ↑ http://www.monitor.co.ug/OpEd/Commentary/Justice-Mugambe-s-ruling-on-lost-baby-offered-mothers/689364-3979626-k1ie5u/index.html
- ↑ http://observer.ug/news/headlines/53072-justice-mugambe-s-landmark-ruling-in-line-for-global-award.html
- ↑ "Archive copy". Archived from the original on 2018-08-28. Retrieved 2022-03-19.
{{cite web}}
: CS1 maint: archived copy as title (link)