Jump to content

Mabira Forest

Bisangiddwa ku Wikipedia

[1] 

A tree root arch in Mabira forest
Ekibira ekikulu Mabira

Ekibira Mabira kimanyiddwa ng'ekikola enkuba nga kiri ku bugazi bwa yiika 74 era nga kisangibwa mu disitulikiti y'eBuikwe wakati wa Lugazi ne Jjinja mu ggwanga lya Uganda. Ekibira kino kikuumibwa butiribiri olw'enkula y'emuti gyako ekyawanvuwa ne giwola okuva mu mwaka gwa 1932. Ekibira kino kisangibwamu ebika by'ebintu eby;enjawulo ebitaliiko kamogo nga ensolo empombeefu.

Enkula n'obusange bwa Mabira.

[kyusa | edit source]

Ekibira Mbira kiri mu bukiikaddyi bw'ennyanja Nalubaale ku bugazi bw'ettaka bwa yiika 74. Ekibiri kino kigenda kyeboolya mpola n'obusozi obugulumivu nga bwawuddwamu stream ez'enjawulo.Kiriko obutumbiivu wakati wa mmita 1070 okutuuka 1340 mu buwanvu. Neewankubadde ennyanja Nalubaale eri ku lusegere lw'ekibira kinoku ludda olw'obukiikakkono,ekibira kino kisinga kufukirirwa mazzi agava mu mugga kiyira[2].

Ekibira kino kyebunguliddwa ebifo by'obulimi n'obulunzi. Ekibira kino bwe kityo kiriko ebifo ebikuukuutive ebiwera 27.

wild life

Enkula y'ebitonde ebisangibwa mu Mabira.

[kyusa | edit source]

Ekibira kino kye kisingira ddala obunene mu kitundu kya savana. Era oyinza okukiyita ekibira ekikulu nga kirumbiddwa abantu olw'ensonga eziwerako. Okuviira ddala mu kyasa eky'amakumi abiri, ebika by'miti nga Mahogany n'emivule byali bingi mu kibira kino naddala mu myaka gy'ataano, naye gigenze gitemebwa olw'ettunzi ly'embaawo eryakya ebiseera ebyo. Mu myaka gy'ensanvu, n'ekinaana gavumenti yakkiriza ensuku z'amatooke n'emisiri gy'emmwanyi mu kitundu ky'ekibira kino[3].

Ekkuumiro lino. likola ng'amaka g'ebinyonyi bya bika ebisoba mu bikumi bisatu,wamu n'ebika by'ensolo ebisoba mu mwenda.zThe reserve is home to over 300 species of birds and nine species of primates.

Rubber treees

Mabira ng'ensibuko ya Rabba.

[kyusa | edit source]

Kampuni ya East African and Uganda Eploitation yeeyazika ekibira kino mu mwaka gwa 1900 era bw'etyo n'etandikawo kampuni ya Mabira Forest n'gevunaanyizibwa ku kukola Rabba. Wabula essubi lya baalina ery'okukola Rabba aweza obungi bwa mitwalo ataano buli mwezi lyagwa butaka. Kyokka nga beetaaga ensimbi nnyingi okutereeza emiti egy'enjawulo egisangibwa mu bwesedde bw'ekibira kino. Naddala ng'ate na'magoba baali bafuuna matono nyo okuva mu miti egyo. N'ekyavaamu ye kampuni okudda mu kwesiba ku Rabba w'omunsiko wamu n'emmwanyi bwe batyo eby'okulima Rabba nga bayesonyiyira ddala.[4]

Enteekateeka z'okusaanyaawo ekibira kino.

[kyusa | edit source]
deforestation

Mu mwaka gwa 2007,Kampuni ya Sugar Corporation of Uganda Limited ng'eri wamu ne gavumenti ya Uganda ne Kampuni ya Mehta Group, baalangirira enteekateeka y'okusaanyawo ebitundu kimu kya kya kusatu ku kibira kino ekigereegeranyizibwamu square meter 27 nga baagala kulimirako masamba ga bikajjo. Era bwe baty baasaba gavumenti ya Pulezidenti wa Uganda Yoweri Museveni alangirire nti ettaka eryo lya Kampuni ya SCOUL ekintu museveni n'ababaka ba palamenti kye baawagira.

Enteeteeka z'okusaanyaawo ekibira zino,zaayogeza abantu ebikankana munda mu ggwanga. Ng'eno banna byabutonde bwe batya nti ebikumi n'ebikumi by'emiti n'ensolo bingi ebigenda okukolebwako obulabe,mukoka agenda kutwala ettaka,enfuna y'abantu n'obulamu bwabwe obwa bulijjo bugenda kutaataganyizibwa,n'ebizibu bingi ebinyekuusa ku kutaataganya entambula y'amazzi,kyokka nga bo abawagira eky'okusaanyaawo ekibira bawoza kimu nti emirimu mingi egigenda okutondebwao. Ekiwandiiko kya kabinenti ktyategeeza nti enteekateeka yaakutleeta emirimu enkumi ssatu mu bitaano ekinaaleeta obuwumbi kkumi na kamu n'obutundutundu butaano obw'ensimbi za Uganda mu ggwanika lya Uganda.

Kabaka wa Buganda yawakanya enteekateeka y'okusaanyaawo Mabira era naawa n'ettaka lye basobola okulimirako ebikajjo abo abaali baagala okulima ebikajjo. N'ekkanisa ya Uganda okuva e Mukono nayo neekola bw'etyo ng'ewaayo ettaka eri abo abaali baagala okulima ebikajjo.[5]

Abantu nga basatu be battibwa mu kwekalakaasa ok'wokukuuma Mabira. Waaliwo era n'okwegugunga okw'okulwanyisa abayindi olw'ensonga nti kampuni ya Mehta nnyini yo yali muyindi. Ensamba z'ebikajjo bya SCOUL byakumwako omuliro era obubka bwayitinngana ku masimu ne ku mitimbagano nga bukubiriza abntu okusibira ekikookolo sukaali akolebwa kampuni ya SCOUL ey'e Lugazi.

Pulezidenti museveni yawagira enteekateeka z'okusaanyaawo Mabira ng'awoza nti ye tagenda kutabulwatabulwa bantu batalaba biseera bijja bya mu maaso ebya Africa we biri. Okusinziira ku ye, abaali beefuula abalwanirizi ba Mabira baali tebategeera biseera bya mu maaso by'amawanga biri mu kuteekateeka nnungamu. Mu mwaka gwa 2007,minisita wa Uganda ow,obutonde bw'ensi yalangirira nti enteekateeka z'okusaanyawo Mabira zaali zikyayimiriziddwa nti era gavumenti ya Uganda yali ekyagezaako okufunira kampuni ya Mehta ettaka eddala eritali lya Mabira.

Sources

[kyusa | edit source]
  1. https://lg.wikipedia.org/wiki/Special:ContentTranslation?from=en&to=lg&page=Mabira+Forest&targettitle=Mabira+Forest
  2. https://lg.wikipedia.org/wiki/Special:ContentTranslation?from=en&to=lg&page=Mabira+Forest&targettitle=Mabira+Forest
  3. REPORT_ON_THE_FIELD_VISIT_IN_MABIRA_CENTRAL_FOREST_RESERVE
  4. v
  5. https://www.newvision.co.ug/D/8/12/558361