Jump to content

Manjeri Kyebakutika

Bisangiddwa ku Wikipedia
Kyebakutika Manjeri

 

Manjeri Kyebakutika mubaka wa Paalamenti ya Uganda ey'omulundi ogw'ekkumi n' ogumu era munaby'abufuzi akikirira Ekibuga kya Jinja mu Busoga.[1][2] Ali wansi wekibiina ki National Unity Platform (NUP).[3][4]

Eby'obufuzi

[kyusa | edit source]

Manjeri yalondebwa ekwegatta ku Paalamenti y'omulundi ogwe kkumi n'ogumu nga omubaka akyikirira Ekibuga kye Jinja mu Paalamenti.[2] Manjeri yateekebwaawo nga omumumyuka w'akwasisa empisa mu Paalamenti ya Uganda eye kkumi n'emu.[5][6][7] Yakwatibwa olw'okwambala akakofira akamyufu aka NUP bweyali nga ayogerako eri banamawulire oluvanyuma lw'omukolo ogwokujaguza amattikira ga Kyabazinga agasooka mulubiri lwe mu Jinja.[4][8][9] Nga amaze okukwattibwa, Manjeri yawaabira Poliisi ya Uganda olw'okumutulugunya nebamuletera obuvune mukifuba ne mumugongo.[10]

Emirimu gye emirala

[kyusa | edit source]

Manjeri yategeeza Paalamenti ya Uganda ku butali butebenkevu mu Kibuga kye Jinja olw'akasattiro akaaletebwa ab'ebijambiya abaali batiisatiisa okutta abantu kyoka poliisi yali tetekawo basirikale okuziyiza obulumbaganyi buno.[1][11][12] Yasaba gavumenti edize ettwale lya Busoga n'obwa Kyabazinga ebintu byabwe omuli ettaka, ebibira, ofisi enkulu eza Disitulikiti, n'ebintu byabwe byonna ebikozesebwa ebitongole bya gavumenti.[13] Yeemulugunya eri gavumenti olw'obutafuula yunivaasite ya Busoga etendekero eryawaggulu erivunanyizibwa gavumenti.[13] Manjeri yagabira abantu baakikirira mu Paalamenti ya Uganda emmere n'ebiyambako mu kunaaba engalo.[14] Yawayo ensonga mu Paalamenti ya Uganda ekwata kubukambwe obukozesebwa abakozi ba Umeme e Jinja omuli okukuba abantu, okukozesa omukka ogubalagala okugumbulula abantu mu bikwekweto byabwe ku nkozesa y'amasanyalaze enkyaamu mu Kibuga e Jinja.[15]

Laba nabino

[kyusa | edit source]
  1. List of members of the eleventh Parliament of Uganda
  2. Sauda Kauma
  3. Parliament of Uganda
  4. Jinja
  5. National Unity Platform (NUP)

Ebijuliziddwamu

[kyusa | edit source]
  1. 1.0 1.1 {{cite web}}: Empty citation (help) Cite error: Invalid <ref> tag; name ":0" defined multiple times with different content
  2. 2.0 2.1 {{cite web}}: Empty citation (help) Cite error: Invalid <ref> tag; name ":1" defined multiple times with different content
  3. https://www.monitor.co.ug/uganda/magazines/people-power/how-bobi-wine-navigated-people-power-dp-block-interests-to-set-up-parliament-leadership-3435064
  4. 4.0 4.1 {{cite web}}: Empty citation (help) Cite error: Invalid <ref> tag; name ":2" defined multiple times with different content
  5. https://www.newvision.co.ug/articledetails/104382
  6. https://observer.ug/news/headlines/69952-mpuuga-appointed-leader-of-opposition
  7. https://www.kfm.co.ug/news/nup-names-shadow-cabinet-matthias-mpuuga-appointed-lop.html
  8. https://www.independent.co.ug/jinja-nup-woman-coordinator-arrested-for-wearing-red-beret/
  9. https://observer.ug/news/headlines/66550-nup-jinja-coordinator-arrested-over-wearing-red-beret
  10. https://www.independent.co.ug/nup-coordinator-accuses-police-of-torture/
  11. https://parliamentwatch.ug/news-amp-updates/govt-to-brief-parliament-on-state-of-security/
  12. https://chimpreports.com/mps-task-government-as-machete-gangs-spread/
  13. 13.0 13.1 https://observer.ug/news/headlines/71189-busoga-mps-demand-return-of-kingdom-property
  14. https://redpepper.co.ug/2021/07/covid-19-crisis-jinja-city-woman-mp-kyebakutika-donates-food-hand-washing-kits/
  15. https://www.parliament.go.ug/news/5282/mps-condemn-brutality-umeme-staff