Jump to content

Margaret Rwabushaija

Bisangiddwa ku Wikipedia

Margaret Rwabushaija (yazaalibwa nga 12 Ogwomunaana 1956) mmemba wa Paalamenti ya Uganda[1][2] era Akiikirira Abakozi ku mutendera gwe Gwanga era Omusomesa.[3][4] She is an Munnabyabufuzi ey'esimbawo ku lulwe.[3]

Ebikwaata ku misomo gye

[kyusa | edit source]

Mu mwaka gwa 1969, yamaliriza emisomo gye ejya Primary Leaving Examinations okuva mu Namukozi Primary School era oluvanyuma ne yegatta ku Namasagali College okusoma Uganda Certificate of Education mu mwaka gwa 1975.[3] Mu mwaka gwe gumu (1975), yamaliriza Certificate ye ey'ebyenjigiriza mu East Africa okuva mu somero lya Kamuli Parents Secondary School era ne yegatta ku Yunivasitte y'e Makerere okusoma diguli ye eya Bachelor degree in arts mu mwaka gwa 1979.[3] Mu mwaka gwe gumu (1979), yakomawo ku Yunivasitte y' e Makerere okusoma Dipulooma mu by'Enjigiriza.[3] Mu mwaka gwa 2001, yattikibwa Postgraduate Dipulooma mu Management okuva mu ttendekero lya Uganda Management Institute.[3] Margaret yadayo ku ttendekero lya Uganda Management Institute mu mwaka gwa 2008 okusoma Masters of Management Studies.[3]

Emirimu

[kyusa | edit source]

Wakati wa 2009 - 2015, yaweereza nga omumyuuka wa ssentebe w'abasomesa ku Kitante Hill School, ne Lubiri Secondary School( mu 1998 - 2008).[3] Yasomesa mu ma somero ag'enjyawulo nga Mengo Senior School (1981-1983), City High School(1984 -1997), ne Kitante Hill School (1979 -1980).[3]

Eby'obufuzi

[kyusa | edit source]

Okuva mu mwaka gwa 2016 okutuusa 2021, ye yaliMmemba wa Paalamenti mu Paalamenti ya Uganda ey'ekumi.

Yaweereza ku Professional Body nga mmemba omujjuvu mu Uganda National Teachers Union, Commonwealth Teachers Group ne Forum for East African Teachers Union.[3] Era yaweereza nga Mmemba ku Kakiiko k'ebyenjigiriza n'emizannyo.[3][5]

Obulamu bwe

[kyusa | edit source]

Mufumbo.[3] Ayagala okusoma n'ebyemizannyo mu biseera bye eby'eddembe.[3]

Laba na bino

[kyusa | edit source]

Ebijuliziddwa wa bweru wa Wikipediya

[kyusa | edit source]

Ebijuliziddwa

[kyusa | edit source]
  1. "Archive copy". Archived from the original on 2018-12-14. Retrieved 2024-04-12.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  2. https://www.pmldaily.com/news/2020/03/workers-mps-meet-trade-unions-leaders-over-new-market-bill.html
  3. 3.00 3.01 3.02 3.03 3.04 3.05 3.06 3.07 3.08 3.09 3.10 3.11 3.12 https://www.parliament.go.ug/mp_database/profile.php?mid=377
  4. https://www.independent.co.ug/tag/margaret-rwabushaija/
  5. "Archive copy". Archived from the original on 2021-11-27. Retrieved 2024-04-12.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)