Mathew Nabwiso

Bisangiddwa ku Wikipedia

Ma thew Nabwiso

Ob uzaale Munayuganda

Eg gwanga Munayuganda Ob uyigirize Busoga College, Namsagali College Es somero Cyprus Institute of Marketing Om ulimu Muteesiteesi, mulungamya ate muzannyi Eb banga ly'amaze ng'akola okuva mu 1995 okutuuka leero Mu kyalawe Eleanor Nabwiso Ab aana 4 Ab azadde Frank Nabwiso (Kitaawe) Mama Christine Nabwiso (Nyina)

Mathew Nabwiso, atera okuyitibwa Matthew Nabwiso munayuganda omuzannyi wa firimu.[1] Nabwiso amanyiddwa nnyo olw'emirimu gye yakola mu firimu ya Imbabazi, Rain ne Kyaddala. Ng'ogyeeko okuzannya, muyimbi, muteesiteesi wa firimu era azifulumya.[2]

Obulamu bwe[kyusa | edit source]

Yazaalibwa ng'omwana ow'omusanvu mu famile kunkomerero y'abaana kumi noomu. Bazadde be baali babaka ba palamenti Frank Nabwiso ne Mama Christine Nabwiso abe Jinja. Yasomera e Mwiri ne Kamuli Boys ebibiina ebya pulayimale. Oluvannyuma yagenda mu Busoga College, Mwiri gye yatuulira eddaala erisooka era oluvannyuma yagenda ku Namasagali College, mu Kamuli okumaliriza eddaala erya A level. Oluvannyuma yafuna diguli esooka mu by'obusuubuzi okuva mu Cyprus Institute of Marketing.[1]

Nga tannayingira mu katemba, yali akulira bakitunzi mu kkampuni ya ICT. Kyokka, omulimu yagulekawo n'atandika okusoma ebya Katemba.

Yawasa muzanyi munne, Eleanor Nabwiso eyazannyira mu firimu ez'ebitundu ez'oku TV eyitibwa The Hostel. Bombi balina abaana bana.[3][4]

Omulimu gwe[kyusa | edit source]

Mu 2006, yakola firimu eyasookera ddala eya Battle of the Souls.[5]

Mu 2011, yeegatta ku ttiimu y'okuweereza obuzannnyo obw'ebittundu ku ttivi eyitibwa The Hostel eyalagibwanga ku NTV Uganda, eyafuuka eyettuttumu enyo.[6] Oluvannyuma lw'okumaliriza obuzannyo obwo, yatandikawo kkampuni ya firimu eyitibwa 'Nabwiso Films'.[7][8]

Mu 2013, yawangula ekirabo ky'omuzannyi asinga ku Africa Magic Viewers' Choice Awards (AMVCA), olwa filimu A Good Catholic Girl. Oluvannyuma mu 2016, yalondebwa okuzanya nga 'Dumba' mu filimu ya Rain ku AMVCA. Mu 2020, yafuna ekirabo kya Film Act Award ku Vine Awards olw'omugaso gwe yakola mu firimu ya Uganda.[9]

Okukuba ebifaananyi[kyusa | edit source]

Omwaka Firimu Omulimu gwe Ekikula [Obugambo obuli wansi]
2006 Battle of the Souls Muzannyi

Ryan

Firimu
2011 The Hostel Muzannyi

Gilo

obuzannyo obw'ekitundu ku TV
2012 Africa First: Ekitundu ekyasooka Omuzannyi

Ahmed

Firimu
2013 A Good Catholic Girl Omuzannyi

Ahmed

Firimu
2013 Imabazi Gasana Firimu
2016 Rain Mmuzannyi: Dumba, omutandisi Firimu
2018 Mpeke Town Omuzannyi

Paul

Emizannyo gya TV
2018 The Mercy of the Jungle Omuzannyi Firimu
2018 #Family(Hashtag Family) Omuteesiteesi

Muzannyi mu firimu nga Frank Mpanga

Obuzanyo bw'ekitundu
2019 Kyaddala Muzannyi

Mr. G

Buzannyo ku Tv ob'ebitundu
2020 Prickly Roses Omuteesiteesi Firimu

Ebyawandiikibwa[kyusa | edit source]

  1. 1.0 1.1 {{cite web}}: Empty citation (help)
  2. https://en.wikipedia.org/wiki/Busoga_College
  3. {{cite web}}: Empty citation (help)
  4. {{cite web}}: Empty citation (help)
  5. {{cite web}}: Empty citation (help)
  6. {{cite web}}: Empty citation (help)
  7. {{cite web}}: Empty citation (help)
  8. {{cite web}}: Empty citation (help)
  9. https://en.wikipedia.org/wiki/Busoga_College