Jump to content

Mbazzi

Bisangiddwa ku Wikipedia
ekimu ku bimera ebirimibwa e mbazzi( beatroot)

Kisangibwa mu kabondo k'eMbazzi, Ggombolola ye Muduuma,mu Ssazza ly'emawokota mu disitulikiti ye Mpigi. Okutuukayo, okwata oluguudo lwe Mityana olupya okuva e Kampala, n'okyamira e Kwata/Nkambo, olwo n'okwata ku kkono. Awo n'ogenda ppaka e Mbazzi. Waliwo kilomita 36 okuva e Kampala. Mbazzi erina abatuuze abasukka mu 1000. Abantu b'e Mbazzi balimi era balunzi. Balima kasooli, lumonde, muwogo, ebijanjaalo, enva endiirwa, ebitooke n'ebirala. Ate balunda ente, embizzi, enkoko n'ebirala.

okulunda ebyennyanja ku kyalo mbazzi

Ekyalo Mbazzi kisangibwa mu nsi Yuganda ku Ssemazinga Afirika. Ekyalo kino kiri mu Ddisituliki ye Mpigi,mu Gombolola ye Muduuma, mu muluka gwa Mituba Ebiri. Okutuukayo, okwata oluguudo lwe Mityana, n'oviiramu e Kwata, okumpi ne esiteti ya Jomayi eya Bujuuko Setelite City. Abalala bayitawo Nkambo oba ku siteegi ya Jamiiru. Olwo n'okwata ku mukono ogwa kkono bwoba ogenda Mityana. Oyingira munda awo katono, Mbazzi n'atandika. Ekyalo Mbazzi kinnene ddala kuba kiriko ebyalo ebirala nga Senene, Kaasa, Kiryamenvu, Katuulo, Kiwale.

Obulimi Bugagga

[kyusa | edit source]

Nga Yuganda kati eweza kumpi abantu miliyooni 42 Abantu bonna balina okulya n'okunywa. Eryo tteeka. Ensangi zino, ensimbi ziri mu bya bulimi-Okulima n'okulunda! Byonna bigendera wamu, olwo ne biyambagana. Ensolo zigimusa ennimiro, olwo ebimera ne byeyagala. Wabula okufuna mu bulunzi n'obulimi,oteekeddwa okubala ennyo buli ssente yonna gy'oteekamu. Obulimi olina okugifuula bizinensi ye nnyini. Omulimi w'omulembe guno asaana okubeera omukugu mu byakola. Obukugu buno bufunika oluvanyuma lwokuddingana ebyo byokola mu butuufu bwabyo. Omulimi ateekeddwa okuba omumaliririvu. Okumanya tekukoma. Mu bulimi,olina okufunayo bye wesibako. Tosobola kukola buli kimu. Olina okufuna wossa essira. Byolima ne byolunda biteekwa okuba ku mutindo. Anti ebirungi, buli omu abiyaayanira. Wateekwa okubaawo enkolagana ne balimi bano,olwo ne muwangana amagezi. Ku mulembe guno, anagaggawala yoyo analima era n'alunda.

Wikipedia mu Kyalo e Mbazzi-Ddala kisoboka

[kyusa | edit source]

Ku mulembe guno ogwa Yintaneti, ensi yafuuka kyalo kimu. Omuntu asobolera ddala okukola ebintu bingi nga yeyambisa emikutu gya yintaneti egy'enjawulo ng'asinzira wonna waali mu nsi yonna. Mu kunoonya amagezi, ffenna twenkana anti tubeera bayizi. Na bwe kityo, oba oli mu kibuga oba mu kyalo, kasita obeera ku Yintaneti,osobola okugyeyambisa okukuguka mu ebyo byoyagala. E Mbazzi, twagala tutandikeyo pulojekiti nga Bannakyalo nabo basobola okweyambisa Yintanenti okwekulakulanya mu byobulimi, mu byobulamu ate ne mu byenfuna. Bannambazzi bajja kusomesebwa okukozesa Kompyuta ate naddala mu nkulakulana yaabwe.Olwo bagenda kutandika okuwanyisiganya enkola ezisinga okuba ennungi mu bintu ebyenjawulo. Waliwo ekizimbe ekyaweereddwayo okusobola okubeera ekungaaniro lya Bannambazzi. Kati ekyetaagisa kwe kufuna Kompyuta wamu n'ebirala ebikozesebwa. Tusuubira okukozesa amasanyalaze g'enjuba. Tugenda kukola bino byonna nga tuyita mu kibiina kyaffe eky'Abalimi b'e Mbazzi.

Twagala tukozese olulimi oluganda kuba ffenna tulutegeera bulungi. Abantu ab'enjawulo bajja kuwandiikanga ku nsonga ezo waggulu mu ngeri y'okuwanyisiganya ebirowoozo. Bino bigenda kusinga kwesigamizibwa ku nkola ezigezeseddwaako mu kyalo. Oli asobola n'okuwandiika ku ebyo bye yalabako oba bye yasomako.

[kyusa | edit source]