Meddie Kaggwa
Al-Hajj Meddie Ssozi Kaggwa (15 Ogwokuna 1955 – 20 Ogwekkuminoogumu 2019) yali Munnayuganda, munnamateeka, munnabizinensi, munnabyabufuzi, nannyini bizinensi omugundiivu nga yakulirako Ekibiina ekitakabanira eddembe ly'obuntu mu Uganda ekya Uganda Human Rights Commission, okuva mu Gwokutaano, 2009 okutuuka lwe yafa nga 20 Ogwekkuminoogumu 2019.[1][2]
Ebyafaayo bye n'okusoma kwe
[kyusa | edit source]Kaggwa yazaalibwa nga 15 Ogwokuna 1955 mu kati eyitibwa Disitulikiti y'e Mpigi esangibwa mu Buganda -Uganda. Yasomera mu masomero g'e Uganda ku madaala okuli erya Pulayimale ne Siniya. Ddiguli ye esooka eyaBachelor of Laws, yagisomera mu Makerere University, nga ye Yunivaasite ya Uganda esinga obunene n'obukadde. Yayongerako Dipulooma eya Diploma in Legal Practice, nga yagisomera mu ttendekero lya Law Development Centre, mu Kampala - ekibuga kya Uganda ekikulu. Oluvannyuma yatikkirwa ddiguli ye eyookubiri mu mateeka eya Master of Laws okuva mu National University of Ireland, esangibwa mu kibuga Dublin.[3]
Emirimu
[kyusa | edit source]Kaggwa yamala emyaka egiwera 30 ng'ali mu bifo eby'obukulembeze mu byobufuzi, mu Gavumenti, n'okuddukanya bizinensi mu Uganda. Yali mmemba ku lukiiko olwabaga Ssemateeka wa Uganda eya 1995. Kaggwa era yaliko akulira ekitongole ky'amateeka ku ttendekeroly'amateeka ekkulu mu ggwanga erya Law Development Centre. Yaweerezaako nga Minisita ataganya ensonga z'ebyobufuzi mu ofiisi ya Puleezidenti.[3]
Mulukiiko olubazi lwa Ssemateeka yali akiikirira konsityuwense ya Kawempe South era oluvannyuma mu 1996 - 2001 ye yakiikirira ab'ekitundu kye kimu. Kaggwa era yakolako nga kalaani era owebyamateeka mu bbanka ya Arab Libyan Bank for Foreign Trade & Development, okuva mu 1984 okutuusa mu 1991 era n'abeerako omuwandiisi wa bboodi y'ekitongole ku Uganda ekiwoozi ky'emisolo ekyaUganda Revenue Authority okumala emyaka 5, okuva mu 1991 okutuusa mu 1996. Yali mmemba w'olukiikoolukulu olukulwmbera Makerere University okuva mu 1999 okutuusa mu 2002 era n'abeerako omumyuka wa ssentebe w'olukiiko olukulembera Kyambogo University era nga mmemba wa Senate mu Yunivasite y'emu mu 2004.[2]
Famire ye
[kyusa | edit source]Yali musajja mufumbo ng'alina abaana bataano.[4]
Okufa kwe
[kyusa | edit source]Ku makya ga nga 20 , Ogwekkuminoogumu, 2019 yafiira mu mmotoka ye bwe yali yeevuga okugenda okwetaba ku mukolo ogumu. Meddie Kaggwa eyalina emyaka 64 mu kiseera ekyo yazirirkira mu mmotoka ye n'akoona emmotoka eyamuli emukulembedde era awo we yassiza omukka gwe ogw'enkomerero. Abaali ku luguudo olwo baakoona endabirwamu y'emmotoka ye ne bagiggula ne bamuddusa mu ddwaliro lya Case Medical Centre kyokka okufuba kwabwe kwabafiira bwereere kubanga baagenda okumutuusa mu ddwaliro ng'amaze okufa.[2] Yaziikibwa nga 21 Ogwekkuminoogumu 2019, ku kyalo Lufuka mu Munisipaali y'e Mpigi, era mu Disitulikiti y'e Mpigi.[5]
Laba na bino
[kyusa | edit source]Ebijuliziddwamu
[kyusa | edit source]
Ebijulizo ebirala
[kyusa | edit source]- ↑ https://www.monitor.co.ug/News/National/UHRC-boss-Med-Kaggwa-dead/688334-5355432-h7o908z/index.html
- ↑ 2.0 2.1 2.2 https://www.newvision.co.ug/new_vision/news/1510937/life-times-med-kaggwa
- ↑ 3.0 3.1 https://nilepost.co.ug/2019/11/20/med-kaggwas-body-taken-to-mulago-hospital-for-postmortem/
- ↑ https://observer.ug/news/headlines/62685-human-rights-commission-boss-dies-after-collapsing-in-his-car
- ↑ https://www.newvision.co.ug/new_vision/news/1510987/med-kaggwa-laid-rest