Mpanga Central Forest Reserve

Bisangiddwa ku Wikipedia

Ekifo kya Mpanga Central Forest Reserve kibira eky'ebyobulambuzi mu Uganda. Kibira ekitonotono eky'emiti eminnansi nga kiri ku bwagaagavu bwa yiika 1,120.[1] Kisangibwa mu Disitulikiti y'e Mpigi, e Mpambire, mu kkiro mita 37 mu Bukiikaddyo bw'obugwanjuba bw'ekibuga Kampala. Ekifo kino ekya Mpanga Forest Resort kibadde kiddukanyizibwa kampuni ya Global Afric Safaris okuva mu 2018.

Map

Gye kisangibwa[kyusa | edit source]

Ekifo kya Mpanga Central Forest Reserve kiri mu masekkati ga Uganda, mu Disitulikiti y'e Mpigi, e Mpabire. Ku luguudo, ze kkiro mita 37 mu Bukiikaddyo bw'obugwanjuba bw'ekibuga Kampala. Kisobolo okutuukikako mu bwangu mu ssaawa nga emu ku luguudo Oluva e Kampala okudda e Masaka. Kini kifuula ekifo kya Mpanga Central Forest Reserve okubeera nga kye kibira eky'emiti egy'ekinnansi ekisinga okubeera okumpi n'ekibuga ekikulu.

Ebimu ku binyonyi ebiri mu kibira kya Mpanga

Ntuuka ntya ku kifo kya Mpanga Central Forest Reserve?[kyusa | edit source]

Engeri esooka 1

  • Kubira ku ba Global Afric Safaris ku nnamba y'essimu eno: +256782996126 okwekwata ekifo.
  • Baako eby'okweteekateeka by'osasula nga emmere n'awookusula.
  • Ku byentambula tuukirira aba Global Afic Safaris bakuteekereteekere entambula entuufu eneekutuusa mu kifo. Bw'oba osobola okwefunira entambula yo, gyangu e Mpigi ng'okuzesa oluguudo lwa Kampala-Masaka Highway ng'okozesa entambula yo ey'obwannanyini oba ey'olukale.
  • Bw'otuuka e mu kabuga k'e Mpigi, ssa ekikkowe kubanga kyenkana obeera otuuse w'olaga. Kuba ku ssimu +256782996126 okukuwa endagiriro ennyangu eri mu kkiro mita nga emu ng'ovudde ku luguudo olunene.

Weetegereze

Ssente ez'okusasula ng'oyingira ziri $1.00 / Doola ya Amerika oba eza wano ezizenkana.

Wankaaki wa Global Afric Safaris' eyakolebwa mu mabanda ku Mpanga Forest Resort ku kibira kya Mpanga.

Ebyafaayo[kyusa | edit source]

Kaali kabira katonotono akaayawulibwa ne kakuumibwa GaGavumenti ya Uganda nga ekifo ekikolebwamu okunoonyereza okw'ekinnassaayansi okuva mu mwaka 1953. Okusinziira ku baliraanye ekifo kino, kyali kifo kya famire engagga eyalina erinnya lya Mpanga. Kyabbulwa mu mutabani w'omu famire ya Mpanga

Ebisangibwamu[kyusa | edit source]

Kirimu ebika by'emiti eminnansi 500, ebika by'ebinyonyi 300, ebika by'ebiwojjolo 97, n'ebiwojjolowojjolo 112. Mulimu ebika by'enkima 3 omuli enkima enjeru, ey'omukira omumyufu n'ey'ebitanga ebyeru n'ebiddugavu. Mulimu n'obusolo obutonotono omuli, kaamuje, enkerebwe, olugave, 'pottos', ne bu 'bushabies'.

Abaliraanye ekifo kino bakyakifunako ebintu nga enku, amanda n'okunogayo eddagala ly'ekinnansi.[2]

Emirimu egikolebwayo[kyusa | edit source]

Emirimu egikolebwayo gigabanyizibwamu emirundi ebiri omuli;

Egy'ekibira

Obukubo bw'omu kibira mwe buli ng bwa ngeri nga nnya.[3]

  • Okusamba ensiko
  • Okulaba n'okunoonya obunyonyi
  • Okulaba ebisolo nga mmwe mubyenoonyeza
  • Okunoonya ebiwojjolo
  • Okutambulira mukibira
  • Okuvugira ppiki mu kibira
  • Okuwalampa olusozi
  • Okutambula okw'okubuna ekibira
  • Okukuba ensiisira

Eby'okutwaliriza ekiseera eky'eddembe

Bino bisinga kukolebwa abo abaanneetegeka kuingira kibira;

  • 'Silent Disco'
  • Okuzannya Volley Ball
  • Okuzannya emizannyo gy'oku bboodi (Board games)
  • Okwota
  • Okukuba ebifaananyi
  • Okukwata Vidiyo

Bw'omala okunyumirwa, wummulamu olyoke olye ekimere ekiteekebwateekwebwa aba Global Afric Safaris' Taza cafe

Obulandira obulala[kyusa | edit source]

www.globalafricsafris.com

Ebijulizo[kyusa | edit source]

Coordinates: 0°12′23″N 32°18′06″E / 0.2063°N 32.3016°E / 0.2063; 32.3016Coordinates: 0°12′23″N 32°18′06″E / 0.2063°N 32.3016°E / 0.2063; 32.3016{{#coordinates:}}: cannot have more than one primary tag per page