Jump to content

Mukenenya

Bisangiddwa ku Wikipedia
HIV-AIDS campaign

Omuntu nga yaakakwatibwa akawuka akaleeta obulwadde bwa Mukenenya[[1]], tasooka kulagirawo bubonero bwa muntu alina bulwadde buno gamba ng'okulwalalwala. Wabula akawuka kano bwe kagenda kakula mu mubiri katandika okutaataaganya enkola y'omubiri ekiviirako omuntu okufuna obulawadde ng'akafuba [1] wamu n'endwadde endala ezitatera kukwata muntu ng'omubiri gukola bulungi.

Obulwadde bwa mukenenya omuntu asobola okubufuna singa yeegatta nga takozesezza kapiira, omusaayi okwegatta okuyita mu bintu ebisala wamu n'omukazi okukasiiga omwana ng'azaalibwa.

Obulwadde buno busobola okutangirwa ng'abantu bakozesa obupiira, obutagabanagabana bintu bisala ng'eggirita wamu n'abasajja okujjumbira okukomolebwa. Mu baana abazaalibwa, akawuka kano kayinza okukendeezebwa nga bakozesa Aniretrovial treatnex. Tewali ddagala oba kugema kukolebwa okuwonyeza ddala obulwadde bwa mukenenya era singa omuntu abufuna, obuwangaazi bwe butera kuba bwa myaka kkumi na gumu.

Mu 2014, abantu obukadde 36.9 baali balina obulwadde bwa mukenenya ekyaviirako abantu akakadde kamu mu emitwalo abiri okufa era nga bano abasinga baali ku lukalu lwa Afrika.

Kigambibwa nti obulwadde buno bwatandikira mu buvanjuba bwa Afirika ey'omu masekkati ku nkomerero y'ekyasa ky'ekkumi n'omwenda wamu ne ku ntandikwa y'ekyasa ky'amakumi abiri.

Mukenenya yasooka kuzuulibwa kitongole kya Center for Disease Control and Prevention (CDC) ekisangibwa mu Amerika mu mwaka gwa 1981.

Obulwadde bwa mukenenya bulina embonyaabonya gye bubonyaabonyamu abantu okuli okulwala wamu n'okusosolebwa. Obulwadde buno buleeseewo okubangibwawo kw'ebitongole eby'enjawulo mu nsi wamu n'enkyukakyuka mu by'obufuzi okuva lwe bwazuulibwa mu myaka gya 1980.

  1. https://lg.wikipedia.org/wiki/Obulwadde_bw%27Akafuba