NCBA Bank Uganda
NCBA Bank Uganda Limited (emanyiddwa ennyo NCBA Bank Uganda oba NCBU), bbanka ya bya busuubuzi mu Uganda . Y’emu ku bbanka ezaawebwa olukusa okuva mu Bank of Uganda era nga emirimu gyazo girondoolwa bbanka enkulu eya Uganda. [1]
Ebijikwatako
[kyusa | edit source]NCBA Bank Uganda bbanka era nga ekola mirimu egyekuusa ku by’ensimbi n'obusuubuzi mu Uganda ng’essira eriteeka ku kutuukiriza ebyetaago bya kampuni entono, eziri yadde yaddeko, kwossa neezo ezaakula edda. Omwaka 2023 wegwatuukira ku nkomerero nga eby’obugagga bya bbanka eno byonna awamu bibalirirwamu obuwumbi bwa siringi za Uganda 854 (obukadde bwa doola za Amerika 227.324). Bbanka eno kitundu kampuni ya NCBA Group Plc, era nga ekitebe kampuni eno kisangibwa mu kibuga Nairobi mu gwanga lya Kenya, ngojeeko amatabi mu ggwanga lya Kenya, kampuni eno era esangibwa ne mu ggwanga lya Tanzania, Rwanda ne Ivory Coast [2]
Ebyafaayo
[kyusa | edit source]Bbanka eno yatandikibwawo mu 2012 nga NC Bank Uganda era neweebwa olukusa oba layisinsi okuddukanya bbanka y’ebyobusuubuzi okuva mu Bbanka ya Uganda enkulu mu gwokuna 2012. [3] Oluvannyuma lwokufuna olukusa bwetyo yatandika okukola emirimu mu gwokutaano omwaka ogwo. [4]
Mu gwomwenda 2019, kampuni bbiri okwali eyo nnanyini NC Bank Uganda ne Commercial Bank of Africa (Uganda)zombi nga zisangibwa Kenya, zaasaba era neziweebwa aboobuyinza okugatta bizinensi zaazo era bwe zityo ne zigatta amakampuni gazo mu Uganda ne okufunamu NCBA Bank Uganda, era bbanka eno eyali eziddwa obujja neetandika emirimu nga 1 Ogwekkumi 2019, oluvanyuma lw'okufuna olukusa lwa Bank of Uganda. [5]
Mu gwomukaaga 2020, Bank of Uganda yakiriza okugatta NC Bank Uganda ne CBA Uganda era olunaku lwa 31 ogwomwenda 2020 lugenda okutuuka nga bbanka zimaze okwegatta okukola NCBA Bank Uganda. Mu budde obwo bbanka (egattiddwa) awamu yalina eby’obugagga bya buwumbi bwa siringi za Uganda 548, (bwe obukadde bwa doola za Amerika obukunukkiriza 149). [6][7] [8]
Obukulembeze
[kyusa | edit source]Ku ntandikwa Anthony Ndegwa eyali maneja wa CBA Uganda Limited yalondeddwa okubeera ssenkulu wa NCBA Bank Uganda mu gwomukaaga 2020. [8] Ku nkomerero ya 2020, Anthony Ndegwa yava mu bbanka eno era Mark Muyobo n’alondebwa okujira nga akola nga ssenkulu okutuusa lweyakakasibwa ku bukulu buno mu gwomukaaga 2022[9]
Amatabi
[kyusa | edit source]Omwezi gwokutaano 2024 wegwatuukira nga bbanka eno erina amatabi mu bifo bino wammanga; [10]
- Ettabi ly’e Nakasero: Rwenzori House, Nakasero Road, Nakasero, Kampala (lino lyettabi ekkulu)
- Ettabi ly’e Bugoloobi: Village Mall, Bugoloobi, Kampala
- Ettabi ku ssemadduuka wa Forest Mall: Forest Mall, Lugogo, Kampala.
- Ettabi ku luguudo Kafu: Twed Towers, 10 Kafu Road, Nakasero, Kampala .
- Ettabi ly'e Namanve - Ekifo kya bannamakolero e Namanve . [11]
Laba nabino;
[kyusa | edit source]- Obuwereeza bwa Bbanka mu Uganda
- Olukalala lwa banka mu Uganda
- Ebyenfuna bya Uganda
Ebiwandiiko ebikozeseddwa
[kyusa | edit source]- ↑ Bank of Uganda (31 March 2023). "List of Licensed Commercial Banks As At 31 March 2023" (PDF). Bank of Uganda. Kampala, Uganda. Retrieved 9 May 2024.
- ↑ George Obulutsa (27 September 2019). "Kenya Central Allows Merger of Lenders NIC and CBA Group". Reuters.com. Retrieved 9 May 2024.
- ↑ "Bank of Uganda Licenses Two New Banks In 2012". Bank of Uganda. Retrieved 4 May 2014.
- ↑ Nation Correspondent (April 2012). "NIC to open Uganda branch in growth drive". Daily Nation. Nairobi. Retrieved 14 August 2015.
- ↑ George Obulutsa (27 September 2019). "Kenya Central Allows Merger of Lenders NIC and CBA Group". Reuters.com. Archived from the original on 28 September 2019. Retrieved 28 September 2019.
- ↑ https://www.newvision.co.ug/news/1519513/bank-uganda-appro
- ↑ Christine Kasimiire (1 June 2020). "NC, CBA Merger To Create Shs548 Billion Bank". Daily Monitor. Kampala. Retrieved 2 June 2020.
- ↑ 8.0 8.1
{{cite web}}
: Empty citation (help)Ali Twaha (23 June 2020). Cite error: Invalid<ref>
tag; name "9R" defined multiple times with different content - ↑ https://ug.ncbagroup.com/meet-the-team/
- ↑ NCBA Bank Uganda (May 2024). "Branches of NCBA Bank Uganda Limited". NCBA Bank Uganda Limited. Kampala, Uganda. Retrieved 25 May 2024.
- ↑ Javira Ssebwami (24 May 2024). "NCBA Bank opens new branch in Namanve Industrial Business Park". PML Daily. Kampala, Uganda. Retrieved 25 May 2024.