Namba enzibuwavu(Complex numbers)

Bisangiddwa ku Wikipedia

Gakuweebwa Charles Muwanga !!Namba enzibuwavu (Complex Numbers)

Singa oteeka wamu namba zennyini ne namba ez’omuteeberezo(imaginaery ), ofuna eyitibwa namba enzibuwavu (Complex Number). Eky’okulabirako: 3 + 2i 27.2 – 11.05i


Namba enzibuwavu ebaako ekitundu kya namba yennyini n’ekya namba ey’omuteeberezo "e" naye nga buli kitundu kiyinza okuba zeero.

N’olwekyo namba kennyini eyinza okuba namba enzibuwavu n’ekitundu kyennyini ekya 0. 7i eba namba enzibuwavu kubanga yenkanankana 0 + 7i.

N’olwekyo namba enzibuwavu ebaamu namba kennyini ne namba ey’omuteeberezo n’emigattiko gyazo gyonna.

Eky’okulabirako:  laga omulandira gwa kyebiriga ogwa -9?

Eky’okuddamu: = √(9 × -1) = √(9) × √(-1) = 3 × √(-1) = 3i

Kino si kikulu! Omurandira gwa kyebiriga ogwa -9 guba mulandira gwa kyebiriga ogwa +9 nga okubisizzaamu emirundi i.

Okutwalira awamu: √(-x) = i√x

kasita tuba nga akanyukuta ka “i” ako akatono tukataddewo okutujjukiza nti tukyetaaga okukubisaamu ne √-1 tuba tusigala ku mulamwa.

Nga tweyambisa akanyukuta i, era tusobola okutuuka ku mulamwa omupya. Eky’okulabirako: Balanguza x2 = -1

Singa tuba tukozesa namba kennyini tewali kye tusobola kukolawo, kyokk kati okubaako kye tukolawo.

Ansa eri x = √-1 = i