Jump to content

Nandala Mafabi

Bisangiddwa ku Wikipedia


Nandala Mafabi Nathan Jame

Nathan Nandala Mafabi Munnayuganda omubazi w'ebitabo, Munnamateeka, era munnabyabufuzi. Akiikirira abantu b'essaza lya Budadiri West mu Disitulikiti y'e Sironko mu Paalamenti ya

Uganda[1] Okuva mu Gwokutaano 2011 okutuuka mu Gwoluberyeberye 2014, ye yali Nnampala w'oludda oluvuganya Gavumenti mu Paalamenti.[2]

Obuvo bwe n'okusoma kwe

[kyusa | edit source]

Yazaalibwa ku kyalo Busamaga, mu Disitulikiti y'e Sironko nga 17 Ogwoluberyeberye 1966.

Oluvannyuma lw'okusomera mu Pulayimale ku byalo gy'ava yeetatta ku Mbale Secondary School gye yatuulira S4.

Eddaala lya Haaya (S6) yalisomera ku Busoga College Mwiri mu Disitulikiti y'e Jinja. Yatikkirwa Diguli ye esooka mu Makerere University mu mwaka gwa 1988 nga yatikkirwa Diguli ya Bachelor of Statistics and Economics degree. Yayongerako Dipuloma mu busomesa eya Postgraduate Diploma in Education mu 1989, era e Makerere.[3] Mu 1993, yatikkirwa Dipuloma eya Income Tax Administration okuva mu Uganda Management Institute mu Kampala.

Mu 1993, yayita ebigezo bya certified public accountant examination e Kenya n'e Uganda. Mu 1995, yawandiisibwa okubeera mu kibiina kyaAssociation of Chartered Certified Accountants era mmemba.

Mu 1997, yaddayo mu Makerere University, era mu 2000 n'atikkirwa Diguli eyookubiri eya Master of Arts in Economics oluvannyuma gye yayongerezaako ey'amateeka eyitibwa Bachelor of Laws mu 2006.[1]

Emirimu gye

[kyusa | edit source]

Mu 1988, yaweebwa omulimu okukokola ng'omusolooza w'emisolo mu kitongole ekiwooza ky'emisolo mu Uganda ekya Uganda Revenue Authority (URA), n'aweereza mu kifo ekyo okutuuka mu 1993. okuva mu 1993 okutuuka mu 1994, yali akaola nga 'revenue officer'. Oluvannyuma yalinnyisibwa okufuuka 'senior revenue officer' mu 1995, n'aweereza mu kifo ekyo okutuusa mu 1996. Mu 1997 yali akaola nga 'principal revenue officer' mu URA. Okuva mu 1998 okutuuka mu 2000, yali akola nga 'senior principal revenue officer' era nga Omubalirizi w'enitabo ow'omunda ow'ekiseera mu URA. Okuva mu 2000 okutuuka mu 2001, yali akola nga 'financial management consultant'.[1]

Mu 2001, yayingira ebyobufuzi bya Uganda ebirimu okulonda n'avuganya ku ky'omubaka mu Paalamenti ow'essaza lya Budadiri West. Yawangula era n'addamu okulondebwa mu kifo kye kimu mu 2011. Okuva mu2006 okutuuka mu 2011, Mafabi ye yali Ssentebe w'akakiiko ka Public Accounts Committee mu Paalamenti. Okuva mu 2001 okutuuka mu 2006, yaweereza nga Ssentebe w'akakiiko ka Committee on the Economy. Okuva mu 2008, abadde aweereza nga Ssentebe wa Bugisu Cooperative Union. Okuva mu 2011 okutuuka mu 2020, ye yali Nnampala w'oludda oluvuganya Gavummenti mu Paalamenti.[1][2]

Nathan Nandala Mafabi era ye Mumyuka wa Ssentebe w'ekibiina kyaParliamentary Network on the World Bank & International Monetary Fund.

Ebirala ebimukwatako

[kyusa | edit source]

Mafabi mufumbo. Wa nzikiriza y'Ekkanisa ya Uganda. Ali mu kibiina ky'ebyobufuzi ekya Forum for Democratic Change era ye ssaabawandiisi waakyo.[3]

Laba na bino

[kyusa | edit source]

Ebijuliziddwamu

[kyusa | edit source]

 

Ebijuliziddwamu okuva ebweru

[kyusa | edit source]
  1. 1.0 1.1 1.2 1.3 "Archive copy". Archived from the original on 2016-03-04. Retrieved 2021-08-30.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link) Cite error: Invalid <ref> tag; name "About" defined multiple times with different content
  2. 2.0 2.1 http://ugandaradionetwork.com.dedi3883.your-server.de/a/story.php?s=33937 Cite error: Invalid <ref> tag; name "Leader" defined multiple times with different content
  3. 3.0 3.1 "Archive copy". Archived from the original on 2016-03-04. Retrieved 2021-08-30.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link) Cite error: Invalid <ref> tag; name "Man" defined multiple times with different content