Natasha Sinayobye
Natasha Sinayobye (yazaalibwa nga 20 Ogw'oluberyeberye). MunnaUgandan omuzannyi, omwolesi weemisono era muzinyi.[1] Ye yali omuzannyi omukulu mu kinnaUganda kya Bala Bala Sese neeyali muganzi we Michael Kasaija.[2] Yazannya nga Kaitesi Munyana mu firimu ya Beneath The Lies - The Series eyalagibwanga ku Nana Kagga TV
Obuto bwe
[kyusa | edit source]Sinayobye yakulira mu Kampala-Uganda era yasomera ku St. Noah Primary, Balikkudembe Secondary School, Aga Khan High School[3] ne APTECH. Yatandika okuyimba nga akyali muto nga yeetaba ne mu mpaka zookwolesa ebitone mu ssomero.
Omulimu gwe
[kyusa | edit source]Yamanyika mu mwaka gwa 2001 bwe yakwata ekifo ky'okubiri mu mpaka za Nnalulungi wa Uganda. Oluvannyuma ya yattikkirwa ku kya Miss MTN Uganda. Oluvannyuma[4] yatandika okwenyigira mu mirimu emirala okwali okwolesa emisono era yeegatta ku kibiina ky'aboolesi beemisono eky'amanyi mu Uganda, ekya Zipper models. Mu 2011, yalondebwa mu kifo ky'omukyala asinga obulungi mu Uganda, yalondebwa aba In2EastAfrica.[5] Azze alabikira ku lupapula olusooka olwa magaziini za African woman, elyt ne the beat. Oluvannyuma yatandika okuzina era neyeegatta ku kibinja ky'aba Obsessions mu 2002 gyeyazinira mu bifo eby'enjawulo omwali neebifo ewazannyirwa emizannyo. Yatandikawo ekibiina kya KOMBAT Entertainment Ltd.[6] Mu kibiina kino mweyakolera obulungi ennyo mu mikolo egyali giggulawoolukungaana lwa CHOGM olwalimu abakulu baamawanga 52 mu Uganda mu 2007. Mu 2009 nga ali wamu ne muganzi we beeyunga ku kibiina ky'abazannyi ekya The Ebonies. Mu 2010 yatandika okuyimba okuvaamu ssente era naafulumya ennyimba bbiri ez'amanyi okwali Butunda ne Sikiya,[7] . Vidiyo ya Butunda yawangula ekya vidiyo eyenjawulo mu mpaka za Diva Awards mu 2011.[8]
Obulamu bwe
[kyusa | edit source]Alina omwana ow'obulenzi ayitibwa Sean Mario.
Okuzannya emizannyo
[kyusa | edit source]Emizannyo
[kyusa | edit source]Omwaka | Omuzannyo | Ekifo | Notes |
---|---|---|---|
2015 | Bala Bala Sese | Maggie | Lead Role, faces the wrath of John's love |
Emizannyo gy'okuttivvi
[kyusa | edit source]Mwaka | Omuzannyo | Ekifo | Notes |
---|---|---|---|
2014 | Beneath the lies - The Series | Kaitesi Munyana | Created by Nana Kagga Macpherson |
Ebijuliziddwa
[kyusa | edit source]- ↑ "Archive copy". Archived from the original on 2016-08-17. Retrieved 2022-12-12.
{{cite web}}
: CS1 maint: archived copy as title (link) - ↑ "Archive copy". Archived from the original on 2022-12-12. Retrieved 2022-12-12.
{{cite web}}
: CS1 maint: archived copy as title (link) - ↑ http://www.newvision.co.ug/new_vision/news/1025706/natasha-school
- ↑ "Archive copy". Archived from the original on 2014-05-12. Retrieved 2022-12-12.
{{cite web}}
: CS1 maint: archived copy as title (link) - ↑ https://web.archive.org/web/20140512223605/http://www.monitor.co.ug/Magazines/Full-Woman/My-make-up-secrets/-/689842/2057362/-/item/1/-/5pbffj/-/index.html#
- ↑ https://web.archive.org/web/20120516044157/http://musicuganda.com/KOMBAT.html#
- ↑ "Archive copy". Archived from the original on 2016-03-04. Retrieved 2022-12-12.
{{cite web}}
: CS1 maint: archived copy as title (link) - ↑ https://web.archive.org/web/20140513011832/http://www.newvision.co.ug/article/fullstory.aspx?story_id=314789&catid=384&mid=53
External links
[kyusa | edit source]- Natasha Sinayobye at IMDb
- Natasha Sinayobye on Instagram